Ezeekyeri 30:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,

2“Omwana wʼomuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti,

2Mwekaabireko mwogere nti, “Zibasanze ku lunaku olwo”

3kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Mukama luli kumpi, olunaku olwʼebire eri bannaggwanga.

4Ekitala kirirumba Misiri, nʼennaku eribeera mu Buwesiyopya. Bwe balifiira mu Misiri, obugagga bwe bulitwalibwa nʼemisingi gyayo girimenyebwa.’

5 Obuwesiyopya, ne Puuti[4], ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu nʼabantu bonna abʼensi eyʼendagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.”

6Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Abawagira Misiri baligwa, nʼamaanyi ge yeewaana nago galimuggwa. Okuva ku mulongooti ogwʼe Sevene baligwa nʼekitala,” bwʼayogera Mukama Katonda.

7“Balirekebwawo wakati mu nsi endala eza lekebwawo, nʼebibuga byabwe biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo.

8Olwo balimanya nga nze Mukama bwe ndikuma ku Misiri omuliro, nʼababeezi baayo bonna balibetentebwa.”

9“Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.”

10Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Ndimalawo ebibinja byʼAbamisiri nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni.

11Ye nʼeggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga, balireetebwa okuzikiriza ensi. Baligyayo ebitala byabwe ne bajjuza ensi eyʼe Misiri emirambo.

12Ndikaza emigga gya Kiyira, ne ntunda ensi eri abantu ababi; nga nkozesa bannaggwanga, ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu.

12Nze Mukama nkyogedde.”

13Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Ndizikiriza bakatonda baabwe ne nzikiriza bakatonda abakole nʼemikono mu Noofu. Temulibaamu mulangira mu nsi eyʼe Misiri nate, era ensi yonna ndigireetako entiisa.

14Ndifuula Pasulo okuba amatongo, ne Zowani ndikikumako omuliro ne mbonereza nʼabʼomu No.

15Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, ekigo kya Misiri ekyʼamaanyi, era ndimalawo nʼebibinja bya No.

16Ndikuma omuliro ku Misiri, ne Sini baliba mu bubalagaze bungi, ne No balitwalibwa omuyaga, ne Noofu baliba mu kubonaabona okwʼolubeerera.

17Abavubuka abʼe Aveni nʼabʼe Pibesesi baligwa nʼekitala, nʼebibuga biriwambibwa.

18Enzikiza eriba ku Tapaneesi emisana, bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri, era nʼamaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu. Alibikkibwa nʼebire era nʼebyalo bye biriwambibwa.

19Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri, bategeere nga nze Mukama.”

20Awo mu mwaka ogwʼekkumi nʼogumu, mu mwezi ogwʼolubereberye ku lunaku olwʼomusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,

21“Omwana wʼomuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, nʼokugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala.

22Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogwʼamaanyi nʼogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe.

23Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi.

24Ndinyweza emikono gya kabaka wʼe Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka wʼe Babulooni, ngʼomuntu afumitiddwa anaatera okufa.

25Ndinyweza emikono gya kabaka wʼe Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka wʼe Babulooni, nʼakigololera ku nsi yʼe Misiri.

26Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>