Ezeekyeri 31:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Mu mwaka ogwʼekkumi nʼogumu, mu mwezi ogwokusatu ku lunaku olwʼolubereberye, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,

2“Omwana wʼomuntu, tegeeza Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri nʼolufulube lwʼabantu be nti,

2‘Ani ayinza okwegeraageranya naawe mu kitiibwa?

3Tunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni, nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira; ogwali omuwanvu ennyo, nga guyitamu ne mu kasolya akʼekibira.

4Amazzi gaaguliisanga, nʼenzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya, nʼemigga gyagyo ne gigwetooloola wonna, ne giweerezanga nʼamatabi gaagyo eri emiti gyonna egyʼomu ttale.

5Kyegwava gukula ne guwanvuwa okusinga emiti gyonna egyʼomu kibira, nʼamatabi gaagwo amanene ne geeyongera obunene, nʼamatabi gaagwo amatono ne gawanvuwa ne gasaasaana olwʼobungi bwʼamazzi.

6Ebinyonyi byonna ebyʼomu bbanga ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene, nʼensolo enkambwe ezʼoku ttale ne zizaaliranga wansi wʼamatabi gaagwo, nʼamawanga gonna amakulu ne gabeeranga wansi wʼekisiikirize kyagwo.

7Gwali gwa kitalo mu bulungi bwagwo, nʼamatabi gaagwo amanene, kubanga emirandira gyagwo gyasima awali amazzi amangi.

8Emivule egyali mu nnimiro ya Katonda tegyayinza kuguvuganya, newaakubadde emiberoosi okwenkana nʼamatabi gaagwo amanene; nʼemyalamooni nga tegifaanana matabi gaagwo amatono, so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda ogugwenkana mu bulungi.

9Nagulungiya nʼamatabi amangi, emiti gyonna egyʼomu Adeni egyali mu nnimiro ya Katonda ne gigukwatirwa obuggya.’ ”

10“Mukama Katonda kyava ayogera bwʼati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya akʼekibira, ate ne guba nʼamalala olwʼobuwanvu bwagwo,

11kyendiva nguwaayo mu mukono gwʼomufuzi owʼamawanga agukole ngʼobutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye.

12Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, nʼamatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna ebyʼensi. Nʼamawanga gonna agʼoku nsi gaava wansi wʼekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo.

13Ebinyonyi byonna ebyʼomu bbanga ne bituula ku matabi agaagwa, era nʼensolo enkambwe ezʼoku ttale zonna ne zibeera mu matabi gaagwo.

14Kyewaliva walema okubaawo emiti okumpi nʼamazzi egirikula ne giwanvuwa ne gyegulumiza nʼokutuuka okuyita mu kasolya kʼekibira. Era tewalibaawo miti mirala egyafukirirwa obulungi egiriwanvuwa okutuuka awo, kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, okugenda emagombe, mu bantu abaabulijjo, nʼabo abakka mu bunnya.

15“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza nʼemigga gyagwo, nʼamazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, nʼemiti gyonna egyʼoku ttale ne gikala.

16Naleetera amawanga okukankana olwʼeddoboozi eryʼokugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe nʼabo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egyʼamaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi.

17Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, nʼamawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa nʼekitala.

18“Muti ki mu gyʼomu Adeni ogwʼenkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu nʼemiti egyʼomu Adeni nʼoserengeta emagombe, nʼogalamira eyo wamu nʼabatali bakomole, nʼabo abattibwa nʼekitala. Ono ye Falaawo nʼekibinja kye kyonna,” bwʼayogera Mukama Katonda.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>