Ezeekyeri 32:1-32 LGCB2014 - Bible AI

1Awo mu mwaka ogwʼekkumi nʼebiri, mu mwezi ogwʼekkumi nʼebiri ku lunaku olwʼolubereberye, ekigambo kya Mukama ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,

2“Omwana wʼomuntu, tandika okukungubagira Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri, omutegeeze nti:

2‘Oli ngʼempologoma mu mawanga, ngʼogusota wakati mu nnyanja, ngʼowaguza mu migga gyo, era ngʼotabangula amazzi, nʼosiikuula nʼemigga.’ ”

3“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, ‘Ndikusuulako akatimba kange, ne nkusindikira ekibiina kyʼabantu ekinene, era balikuvuba nʼakatimba kange.

4Ndikusuula ku lukalu, ne nkuleka ku ttale, era ebinyonyi byonna ebyʼomu bbanga birikukkako, nʼensolo enkambwe zonna ezʼomu nsi zirikulya ne zikkusibwa.

5Ndisaasaanya ennyama eyʼomubiri gwo ku nsozi, era ndijjuza ebiwonvu amagumba go.

6Nditotobaza ensi nʼomusaayi gwo okutuukira ddala ku nsozi, era ndijjuza zonna ennyama eyʼomubiri gwo.

7Bwe ndikusaanyaawo, ndibikka eggulu ne nfuula emmunyeenye zaakwo okubaako ekizikiza;

8Ndibikka omusana nʼekire, era nʼomwezi tegulireeta kitangaala kyagwo. Ebitangaala byonna ebyʼomu ggulu, ndibifuula enzikiza; era nʼensi yo yonna ndigireetako enzikiza,’ ”

8bwʼayogera Mukama Katonda.

9“Ndyeraliikiriza emitima gyʼamawanga amangi, bwe ndikuzikiriza mu mawanga, ne mu nsi zʼotomanyangako.

10Amawanga mangi galijjula entiisa era bakabaka baabwe balisasamala, ngʼobagalulira ekitala mu maaso gaabwe. Ku lunaku olwʼokugwa kwo, buli omu ku bo alikankana, era buli muntu aligezaako okuwonya obulamu bwe.”

11Kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Ekitala kya kabaka wʼe Babulooni kirikutabaala.

12Nditta enkuyanja yʼabantu bo nʼekitala ekyʼabasajja abalwanyi abazira, abasingirayo ddala obukambwe mu mawanga gonna. Balimalawo amalala ga Misiri, nʼenkuyanja yʼabantu be bonna balizikirizibwa.

13Ndizikiriza amagana ge gonna agʼente okuva awali amazzi amangi, era tewaliba nʼomu alirinnyayo okubatabangula newaakubadde ente okulinnyirirayo.

14Nʼoluvannyuma nditeesa amazzi ge, nʼenzizi ze ne nzifuula ngʼamafuta,”

14bwʼayogera Mukama Katonda.

15Bwe ndizisa ensi eyʼe Misiri, ne ngiggyamu buli kantu akalimu, ne nzita bonna ababeeramu, balimanya nga nze Mukama.

16“Weewaawo kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga. Abawala bannaggwanga balikungubagira Misiri nʼenkuyanja yʼabantu be bonna,” bwʼayogera Mukama Katonda.

17Mu mwaka ogwʼekkumi nʼebiri, ku lunaku olwʼekkumi nʼettaano mu mwezi ogwo, ekigambo kya Mukama ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,

18“Omwana wʼomuntu, kaabirako ku nkuyanja yʼabantu bʼe Misiri, obasindike emagombe ye nʼabawala bannaggwanga abaayatiikirira, nʼabo abakka mu bunnya.

19Babuuze nti, ‘Olowooza gwʼosinga okwagalibwa? Ggenda oteekebwe nʼabatali bakomole.’

20Baligwa mu abo abattiddwa ekitala, era nʼekitala kisowoddwa, leka atwalibwe nʼenkuyanja yʼabantu be.

21Okuva emagombe abakulembeze abʼamaanyi balyogera ku Misiri ne be yeekobaana nabo nti, ‘baserengese, era bagalamidde awali abatali bakomole, abattibwa nʼekitala.’ ”

22“Asuli ali eyo nʼeggye lye lyonna; yeetooloddwa amalaalo agʼabattibwa nʼekitala.

23Amalaalo ge gali wansi mu bunnya, nʼemirambo gyʼeggye lye gyetoolodde amalaalo ge. Abo bonna abaaleeta entiisa mu nsi eyʼabalamu battiddwa, bagudde nʼekitala.”

24“Eramu naye ali eyo, nʼenkuyanja yʼabantu be bonna beetoolodde amalaalo ge. Bonna baafa, battibwa nʼekitala. Bonna abaaleeta entiisa mu nsi eyʼabalamu bakka emagombe nga si bakomole, be bagenda wansi mu bunnya nga balina nʼensonyi.

25Bamwalidde ekitanda wakati mu battibwa nʼenkuyanja yʼabantu be bonna okwetooloola amalaalo ge. Bonna tebaali bakomole, era battibwa nʼekitala kubanga baatiisatiisanga ensi eyʼabalamu. Bajudde ensonyi wamu nʼabo abakka emagombe, era bagalamidde wakati mu abo abattiddwa.”

26“Meseki ne Tubali nabo gye bali nʼenkuyanja yʼabantu baabwe era beetoolodde amalaalo gaabwe. Bonna tebaali bakomole, era battibwa nʼekitala kubanga baatiisatiisanga ensi eyʼabalamu.

27Tebaliziikibwa ngʼabakungu, naye baliziikibwa ngʼabasajja abalwanyi abazira abatali bakomole, abaaserengeta emagombe nʼebyokulwanyisa byabwe, abaatikkibwa ebitala byabwe ku mitwe gyabwe. Obutali butuukirivu bwabwe bwali ku magumba gaabwe kubanga baaleeta entiisa eri abasajja abʼamaanyi mu nsi eyʼabalamu.”

28“Naawe ggwe Falaawo, olimenyebwa era olifiira wamu nʼabatali bakomole, abattibwa nʼekitala.”

29“Edomu naye ali eyo, bakabaka be nʼabalangira be, newaakubadde nga baamaanyi, emirambo gyabwe gigalamidde nʼegya bali abattibwa nʼekitala. Bagalamidde nʼabatali bakomole mu bunnya.”

30“Abalangira bonna abʼomu bukiikakkono nʼAbasidoni bonna nabo bali eyo; baaziikibwa mu nsonyi nʼabattibwa newaakubadde nga baakola ebyʼentiisa nga be balina obuyinza. Bagalamidde nga si bakomole wamu nʼabattibwa nʼekitala, nga balina ensonyi nʼabo abakka emagombe.”

31“Era Falaawo, bwʼalibalaba, alyekubagiza olwʼeggye lye eryattibwa nʼekitala, bwʼayogera Mukama Katonda.

32Newaakubadde nga namukozesa okutiisatiisa ensi eyʼabalamu Falaawo nʼenkuyanja yʼabantu be baligalamira mu batali bakomole, nʼabattibwa nʼekitala,” bwʼayogera Mukama Katonda.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>