Ezeekyeri 33:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nate nʼaŋŋamba nti,

2“Omwana wʼomuntu yogera eri abantu obategeeze nti, Bwe ndirumba ensi nʼekitala, abantu abʼomu nsi ne baddira omu ku bo ne bamufuula omukuumi waabwe,

3nʼalaba ekitala nga kijja eri ensi, nʼafuuwa ekkondeere ngʼalabula abantu,

4awo omuntu yenna bwʼaliwulira ekkondeere nʼatalabuka ekitala bwe kirijja ne kigyawo obulamu bwe, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.

5Kubanga yawulira ekkondeere nʼatalabuka, omusaayi gwe kyeguliva gubeera ku mutwe gwe ye. Singa yakola nga bwe yalabulwa yandiwonyezza obulamu bwe.

6Naye omukuumi bwʼalaba ekitala nga kijja nʼatafuuwa kkondeere okulabula abantu, ekitala ne kijja ne kigyawo obulamu bwʼomu ku bo, omuntu oyo aliggyibwawo olwʼobutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana omukuumi.”

7“Omwana wʼomuntu, nkufudde omukuumi owʼennyumba ya Isirayiri, Noolwekyo wulira kye nkugamba, obalabule.

8Bwe ŋŋambanga omukozi wʼebibi nti, ‘Ggwe omwonoonyi, mazima olifa,’ nʼotoyogera okumulabula okuleka ekkubo lye, omwonoonyi oyo alifa olwʼebibi bye, naye omusaayi gwe ndiguvunaana gwe.

9Naye bwʼolabulanga omwonoonyi okuleka ekkubo lye, nʼajeema, alifiira mu bibi bye, naye ggwe oliba olokodde obulamu bwo.”

10“Omwana wʼomuntu, tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Mwogera nti, ‘Okusobya kwaffe nʼokwonoona kwaffe kutuzitoowerera, era tuyongobera mu kwo, tuyinza tutya okuwona?’

11Bategeeze nti, ‘Nga bwe ndi omulamu, bwʼayogera Mukama Katonda, sisanyukira kufa kwʼabakozi ba bibi, wabula bo okukyuka ne bava mu kkubo lyabwe ebbi ne baba balamu. Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi. Lwaki mufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri?’ ”

12“Kale nno, omwana wʼomuntu kyonoova otegeeza abantu bo nti, ‘Obutuukirivu obwʼomutuukirivu tebulimuwonyesa bwʼalijeema, era nʼobutali butuukirivu bwʼatalina butuukirivu tebulimuzikiriza bwʼalikyuka nʼabuleka. Omuntu omutuukirivu, bwʼaliyonoona, taliba mulamu olwʼobutuukirivu bwe obwʼemabega.’

13Bwe ndigamba omutuukirivu nga mazima ddala aliba mulamu, naye ne yeesiga obutuukirivu bwe nʼayonoona, tewaliba ne kimu ku bikolwa ebyʼobutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa, naye mu butali butuukirivu bwe bwʼakoze omwo mwʼalifiira.

14Ate bwe ndigamba omwonoonyi nti, ‘Mazima ddala olifa,’ naye nʼakyuka okuleka ebibi bye, nʼakola ebyalagirwa era ebituufu,

15era bwʼalisasula ebbanja lye, nʼazaayo ne bye yabba, nʼatambulira mu mateeka agaleeta obulamu, nʼatayonoona, mazima ddala aliba mulamu, talifa.

16Tewaliba ne kimu ku bibi bye yakola ebirijjukirwa eri ye; aliba akoze ebyalagirwa era ebituufu, era aliba mulamu.”

17“Naye ate abantu abʼensi yo boogera nti, Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya, so nga ate ekkubo lyabwe lye litali lya bwenkanya.

18Omuntu omutuukirivu bwʼalikyuka okuva mu butuukirivu bwe nʼakola ebibi, alifa olwʼebibi bye.

19Ate omukozi wʼebibi bwʼalikyuka okuleka obutali butuukirivu bwe nʼakola ebyalagirwa era ebituufu, aliba mulamu olwʼebyo byʼakoze.

20Naye mmwe ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya’. Naye ndibasalira omusango buli muntu amakubo ge nga bwe gali.”

21Mu mwaka ogwʼekkumi nʼebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, mu mwezi ogwʼekkumi ku lunaku olwokutaano, omusajja kaawonawo nʼava e Yerusaalemi nʼajja okuntegeeza nti, “Ekibuga kiwambiddwa.

22Naye akawungeezi nga kaawonawo tannatuuka, omukono gwa Mukama gwali gunziseeko, ngʼasumuludde akamwa kange, omusajja nʼalyoka atuuka enkeera. Nnali ntandise okwogera nga si kyali kasiru.”

23Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,

24“Omwana wʼomuntu, abatuuze abʼomu matongo ago mu nsi ya Isirayiri, boogera nti, ‘Obanga Ibulayimu yali muntu omu nʼagabana ensi, naffe abangi, tuligabana.’

25Noolwekyo bategeeze nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼeggye nti, Bwe muba nga mulya ennyama erimu omusaayi, ne musinza bakatonda bammwe abalala, ne muyiwa omusaayi, musaanidde okugabana ensi?

26Mwesiga ekitala, ne mukola ebyʼekivve, buli musajja nʼayenda ku muka muliraanwa we. Kale munaayinza mutya okugabana ensi?

27“Bagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Nga bwe ndi omulamu, abaasigalawo mu bifulukwa balittibwa nʼekitala, nʼabo abaliba ku ttale balitaagulwataagulwa ensolo enkambwe, nʼabo abaliba beekwese mu biro ebinywevu ne mu mpuku balifa kawumpuli.

28Era ensi ndigifuula amatongo era etaliimu mugaso, era nʼamaanyi ge yeewaana nago galikoma, era nʼensozi za Isirayiri ziryabulirwa, ne wataba nʼomu azitambulirako.

29Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda, bwe ndifuula ensi okuba amatongo era etaliimu mugaso olwʼebikolwa ebyʼekivve bye bakoze.’ ”

30“Naawe ggwe omwana wʼomuntu, abatuuze abʼomu ggwanga lyo abatuula ku Bbugwe ne mu nzigi ezʼamayumba bagambagana nti, ‘Mujje tuwulire ekigambo ekiva eri Mukama Katonda,’

31abantu bange nga bwe batera okukola, ne bawulira byoyogera naye ne batabikola, ne boolesa okwagala kwabwe ne mimwa gyabwe, naye ngʼemitima gyabwe gigoberera amagoba gaabwe,

32laba gye bali oli ngʼomuntu ayimba oluyimba olwʼokwagala mu ddoboozi eddungi, era amanyi okukuba obulungi ennanga, kubanga bawulira ebigambo byo naye ne batabissamu nkola.”

33“Bino byonna bwe birituukirira, era bijja kutuukirira, kale balimanya nga nnabbi abadde mu bo.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>