1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,
2“Omwana wʼomuntu, yogera ebyobunnabbi eri abasumba ba Isirayiri, obagambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isirayiri abeefaako bokka. Abasumba tebasaanye kuliisa ndiga?
3Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye temufaayo ku bisibo.
4Ennafu temuzizzaamu maanyi, so nʼendwadde temuzijjanjabye, so nʼezirumizibbwa temusibye biwundu byazo, so nʼezibuze temuzikomezzaawo, naye muzifuze nʼamaanyi.
5Kyezaava zisaasaana, kubanga tezaalina musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo enkambwe zonna ezʼomu nsiko.
6Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.
7“ ‘Noolwekyo mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama:
8Nga bwe ndi omulamu, bwʼayogera Mukama Katonda, olwʼendiga zange okufuuka omuyiggo, nʼekyokulya eri ensolo enkambwe zonna, kubanga tezirina musumba, ate era nʼabasumba ne batazinoonya, naye ne beefaako bokka, ne bataliisa ndiga zange,
9kale mmwe abasumba muwulire ekigambo kya Mukama;
10Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Nnina ensonga ku basumba, era ndibavunaana olwʼekisibo kyange. Ndibaggyako okulabirira endiga mulekeraawo okuzifuula ekyokulya. Ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe, zireme okuba ekyokulya kyabwe.
11“ ‘Era bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndinoonya endiga zange ne nzirabirira.
12Ngʼomusumba bwʼalabirira ekisibo kye ngʼezimu ku ndiga zisaasaanye okumuvaako, bwe ntyo bwe ndizirabirira. Ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olwʼebire olwʼekizikiza.
13Ndiziggya mu mawanga ne nzikuŋŋaanya mu nsi gye zaasaasaanira ne nzikomyawo mu nsi yaazo. Ndiziriisiza ku nsozi za Isirayiri okumpi ne nzizi ne mu bifo byonna ebibeerwamu mu nsi.
14Ndizirabiririra mu ddundiro eddungi ne ku ntikko zʼensozi za Isirayiri we zirirundirwa. Eyo gye zirigalamira mu ddundiro eddungi era gye ziririira omuddo omugimu ku nsozi za Isirayiri.
15Nze kennyini ndirabirira endiga zange, ne nzigalamiza wansi mirembe, bwʼayogera Mukama Katonda.
16Ndinoonya ezaabula, ne nkomyawo ezaawaba. Ndigyanjaba ezaalumizibwa, ne ŋŋumya ennafu, naye ensava era ezʼamaanyi ndizizikiriza. Ndirunda ekisibo mu bwenkanya.
17“ ‘Nammwe ekisibo kyange, bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ndisala omusango wakati wʼendiga emu ne ginnaayo ne wakati wʼendiga ennume nʼembuzi.
18Tekibamala okulya omuddo? Kale ate lwaki mulinnyirira ogusigaddewo mu ddundiro, nga nʼokunywa mwanywa amazzi amayonjo, naye ne musiikuula agaasigalawo nʼebigere byammwe!
19Olwo endiga zange zirye bye mwalinnyirira nʼokunywa zinywe amazzi ge mwasiikuula nʼebigere byammwe?
20“ ‘Mukama Katonda kyava abagamba nti, Laba, nze kennyini ndisala omusango wakati wʼendiga ensava nʼendiga enkovvu.
21Kubanga mwewaana nga muyimusa ebifuba ne musindikiriza ennafu zonna ne muzitomera nʼamayembe gammwe okutuusa lwe muzifulumya ebweru,
22Ndiwonyawo ekisibo kyange so teziriba nate muyiggo. Ndisala omusango mu bwenkanya wakati wʼendiga nʼendiga.
23Ndiziwa omusumba omu, omuweereza wange Dawudi, alizirunda; alizirabirira era aliba musumba waabwe.
24Nze Mukama ndiba Katonda waabwe, nʼomuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo. Nze Mukama njogedde.
25“ ‘Ndikola endagaano yange ezisuubiza emirembe, era ndigoba mu nsi ensolo enkambwe, zibeerenga mu ddungu era zeebakenga mu bibira mirembe nga tezirumbibwa.
26Ndiziwa omukisa wamu nʼebifo ebyetoolodde akasozi kange, era ndibatonnyeseza enkuba mu ntuuko yaayo; walibaawo enkuba eyʼomukisa,
27Emiti egyʼomu ttale girireeta ebibala byagyo, nʼettaka lirimeza ebimera byalyo, era nʼabantu balituula mirembe mu nsi yaabwe. Balimanya nga nze Mukama bwe ndimenya ebisiba ebyʼekikoligo kyabwe ne mbawonya mu mukono gwabwo abaabafuula abaddu.
28Teziriba munyago nate eri amawanga, so nʼensolo enkambwe tezirizitaagulataagula. Zirituula mirembe so tewaliba muntu nʼomu azitiisatiisa.
29Ndiziwa ensi emanyiddwa olwʼebirime byayo, zireme okulumwa enjala nate mu nsi newaakubadde okunyoomebwa amawanga.
30Era zirimanya nga nze Mukama Katonda waazo, ndi wamu nazo, era nga zo, ennyumba ya Isirayiri, bantu bange, bwʼayogera Mukama Katonda.
31Mmwe ndiga zange, endiga ezʼeddundiro lyange, muli bantu bange, era nze ndi Katonda wammwe, bwʼayogera Mukama Katonda.’ ”