1Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,
2“Omwana wʼomuntu, tunuulira olusozi Seyiri owe obunnabbi,
3oyogere nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga, olusozi Seyiri, era ndikugolererako omukono gwange ne nkufuula amatongo.
4Ndifuula ebibuga byo okuba ebifulukwa era olifuuka matongo, omanye nga nze Mukama.’
5“ ‘Kubanga wasiba ekiruyi ekyʼedda nʼowaayo Abayisirayiri okuttibwa mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro ebyʼokubonerezebwa kwabwe okwenkomerero,
6nga bwe ndi omulamu, kyendiva mbawaayo muttiŋŋane era okuttiŋŋana kulibalondoola, bwʼayogera Mukama Katonda. Kubanga temwakyawa kuyiwa musaayi, okuyiwa omusaayi kyekuliva kubalondoola.
7Ndifuula olusozi Seyiri okuba amatongo, ne nsalako abo bonna abajja nʼabagenda.
8Ndijjuza ensozi zo abafu, nʼabattiddwa ekitala baligwa ku busozi bwo, ne mu biwonvu byo, ne mu migga gyo.
9Ndikufuula matongo emirembe gyonna, so tewaliba alibeera mu bibuga byo, olyoke omanye nga nze Mukama.
10“ ‘Mwalowooza nga amawanga ga Yuda ne Isirayiri gammwe, era ne mulowooza okugeetwalira. Naye nze ndi Mukama waabwe,
11era nga bwe ndi omulamu, bwʼayogera Mukama Katonda nti, ndibabonereza olwʼobusungu nʼobuggya bye mwabalaga nga mubakyawa, balyoke bammanye, mmwe bwe ndibasalira omusango.
12Oluvannyuma olimanya nga nze Mukama mpulidde byonna ebyʼobunyoomi bye wayogera eri ensozi za Isirayiri. Nagamba nti, “Bafuuse matongo, era baweereddwayo gye tuli okubamalawo.”
13Wanneewanirako, nʼoteekuma, kyokka ne nkuwulira.
14Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ensi yonna bwʼeriba esanyuka, gwe ndikufuula matongo.
15Olwʼokuba nga wasanyuka, omugabo gwʼennyumba ya Isirayiri bwe gwafuuka amatongo nange bwe ntyo bwe ndikukola. Ggwe olusozi Seyiri ne Edomu yonna mulifuuka matongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.’ ”