1“Omwana wʼomuntu, yogera obunnabbi eri ensozi za Isirayiri, ogambe nti, Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama.
2Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, omulabe yayogera nti, ‘Otyo, ensozi ezʼedda kaakano zaffe.’
3Kyemwava muwa obunnabbi ne mwogera nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Kubanga baabacocca ne babayigganya enjuuyi zonna amawanga amalala ne gabeetwalira, era ne mufuuka ekyʼokwogerwako era ne baboogerako ebyʼobulimba,
4kyemunaava muwulira ekigambo kya Mukama Katonda mmwe ensozi za Isirayiri: Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti eri ensozi nʼobusozi, nʼeri enzizi nʼebiwonvu, nʼeri ebifulukwa nʼebibuga ebyafuuka amatongo ebyanyagibwa ne bifuuka ebyʼokusekererwa eri amawanga gonna okwetooloola
5Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti; Njogerera mu busungu bwange obungi eri amawanga amalala nʼeri Edomu yonna, abajjula okusanyuka nʼettima mu mitima gyabwe, ne baddira ensi yange ne bagifuula eyaabwe banyage obugagga bwayo.’
6Kyonoova owa obunnabbi eri ensi ya Isirayiri nʼoyogera eri ensozi nʼobusozi, nʼeri enzizi nʼebiwonvu nti, bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Njogera nga nzijudde obuggya nʼobusungu kubanga mwasekererwa nnyo amawanga.
7Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndayira nti amawanga agabeetoolodde nago galisekererwa.
8“ ‘Naye mmwe ensozi za Isirayiri mulireeta amatabi gammwe ne mubalira abantu bange Isirayiri ebibala byammwe kubanga banaatera okudda ewaabwe.
9Mbalumirwa era ndibatunuulira nʼekisa, era abalimi balikabala ettaka lyammwe ne basigamu ensigo,
10era ndibaaza mmwe, ennyumba yonna eya Isirayiri. Ebibuga birituulwamu, nʼebyali ebifulukwa biriddaabirizibwa.
11Ndyaza abantu nʼensolo, era abantu balyeyongera nʼensolo ne zeeyongera. Ndibazzaayo mu bifo byammwe ebyʼedda, era ndibakolera ebirungi ebisingawo ku bye nabakolera, mulyoke mumanye nga nze Mukama.
12Ndikkiriza abantu bange, Isirayiri babatambulireko, era balibeddiza, nammwe muliba mugabo gwabwe nga temukyaddamu kubaggyako baana baabwe.
13“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Kubanga abantu baboogerako nti, ‘Musaanyaawo abantu ne mumalawo ezzadde lye ggwanga lyammwe,
14kyemuliva mutaddayo kusaanyaawo bantu newaakubadde okubamalako ezzadde lyʼeggwanga lyo, bwʼayogera Mukama Katonda.
15Toliwulira nate okusekererwa kwa mawanga newaakubadde okunyoomebwa wadde eggwanga lyo okugwa, bwʼayogera Mukama Katonda.’ ”
16Nate ekigambo kya Mukama ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,
17“Omwana wʼomuntu, abantu ba Isirayiri bwe baaberanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olwʼempisa zaabwe nʼebikolwa byabwe, era nʼebikolwa byabwe byali ngʼobutali bulongoofu obwʼomukazi mu biseera bye.
18Olwʼomusaayi gwe baayiwa mu nsi, ate nʼolwʼokusinza bakatonda abalala kwe beeyonoonyesa, kyennava mbayiwako ekiruyi kyange.
19Naye mbasaasaanyiza mu mawanga, ne basaasaana mu nsi. Era nabasalira omusango ngʼempisa zaabwe nʼebikolwa byabwe bwe byali.
20Buli gye baagendanga mu mawanga baaswazanga erinnya lyange ettukuvu, kubanga kyayogerwanga nti, ‘Bano bantu ba Mukama, naye baagobebwa mu nsi ye.’
21Nafaayo ku linnya lyange ettukuvu, ennyumba ya Isirayiri lye yaswaza mu mawanga gye baagenda.”
22“Kale nno gamba ennyumba ya Isirayiri nti, Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, ‘Ggwe ennyumba ya Isirayiri bino sibikola ku lulwo, naye ku lwʼerinnya lyange ettukuvu lye mwavumisa mu mawanga gye mwagenda.
23Ndiraga obutukuvu bwʼerinnya lyange ekkulu, eryavumisibwa mu mawanga, erinnya lye mwavumisa mu bo, era amawanga galimanya nga nze Mukama, bwʼayogera Mukama Katonda, bwe ndyolesa obutukuvu bwange mu mmwe mu maaso gaabwe.’ ”
24“ ‘Ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi zonna ne mbakomyawo mu nsi yammwe.
25Ndibamaansirako amazzi amayonjo, era ndibaggyako obutali bulongoofu bwammwe bwonna nʼokuva ku bakatonda abalala bonna, ne mbafuula abalongoofu.
26Ndibawa omutima omuggya era ne nteeka nʼomwoyo omuggya mu mmwe. Ndibaggyamu omutima ogwʼejjinja ne mbawa omutima ogwʼennyama.
27Era ndibawa Omwoyo wange alibakubiriza okugoberera ebiragiro byange nʼokukuuma obulungi amateeka gange.
28Mulibeera mu nsi gye nawa bajjajjammwe, nammwe mulibeera bantu bange, nange ne mbeera Katonda wammwe.
29Ndibalokola mu butali bulongoofu bwammwe bwonna, era nditumya emmere eyʼempeke ne ngyaza nnyo muleme okulumwa enjala.
30Ndyaza ebibala ebyʼoku miti nʼebimera ebyʼomu nnimiro, nga temukyasekererwa nate mu mawanga olwʼenjala.
31Olwo mulijjukira amakubo gammwe amabi nʼebikolwa byammwe ebitali birungi, era mulyetamwa olwʼebibi byammwe nʼolwʼebikolwa byammwe ebyʼemizizo.
32Mukimanye ngʼebyo sibikola ku lwammwe, bwʼayogera Mukama Katonda. Muswale olwʼebikolwa byammwe, mmwe ennyumba ya Isirayiri.’ ”
33“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, ‘Ku lunaku lwe ndibanaalizaako ebibi byammwe byonna, abantu balidda mu bibuga byammwe nʼebifulukwa biriddaabirizibwa.
34Ensi eyazika eririmibwa, ereme kuba nga bwe yali mu maaso gaabo bonna abaagiyitangamu.
35Balyogera nti, “Ensi eno eyali ezise, kaakano efuuse ngʼennimiro Adeni, nʼebifulukwa nʼebibuga ebyali bifuuse amatongo, kaakano mulimu ababibeeramu, era biriko ne bbugwe.
36Olwo nʼamawanga agaasigalawo agabeetoolodde galimanya nga nze Mukama, naddaabiriza ebyayonoonebwa, ne nnimiro nʼebyali bizise. Nze Mukama nkyogedde, era ndikituukiriza.” ’ ”
37“Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Nate ndiwuliriza ennyumba ya Isirayiri ne mbakolera kino, era ndyaza abantu baabwe babeere bangi ngʼekisibo kyʼendiga.
38Balyala ngʼebisibo ebyʼendiga ezʼokuweebwayo e Yerusaalemi ku mbaga ezaalagirwa, era nʼebibuga ebyali amatongo ndibijjuza ebibinja byʼabantu. Kale balimanya nga nze Mukama.’ ”