Ezeekyeri 37:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Omukono gwa Mukama gwali ku nze, Mwoyo wa Mukama nʼanfulumya, nʼandeeta wakati mu kiwonvu ekyali kijjudde amagumba.

2Nʼagannaambuza, ne ndaba amagumba mangi, amakalu ennyo wansi mu kiwonvu.

3Nʼambuuza nti, “Omwana wʼomuntu, amagumba gano gayinza okuba amalamu?”

3Ne nziramu nti, “Ggwe Ayi Mukama Katonda, ggwe wekka gwʼomanyi.”

4Awo nʼaŋŋamba nti, “Wa obunnabbi ku magumba gano, oyogere nti, ‘Mmwe amagumba amakalu, muwulire ekigambo kya Mukama!

5Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda eri amagumba gano nti, Laba ndibateekamu omukka ne mufuuka abalamu.

6Ndibateekako ebinywa nʼennyama ne mbabikkako nʼolususu; ndibateekamu omukka, ne mufuuka abalamu. Olwo mulimanya nga nze Mukama.’ ”

7Awo ne njogera nga bwe nalagirwa. Awo bwe nnali nga njogera, ne waba eddoboozi, ngʼebintu ebikubagana, amagumba ne geegatta, buli limu ku linnaalyo.

8Ne ntunula, ebinywa nʼennyama ne birabika ku go, nʼolususu ne luddako, naye temwali mukka.

9Awo nʼaŋŋamba nti, “Wa obunnabbi eri omukka; yogera omwana wʼomuntu, ogambe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ggwe omukka vva eri empewo ennya, oyingire mu battibwa, babe balamu.’ ”

10Ne mpa obunnabbi nga bwe yandagira, omukka ne gubayingiramu ne balamuka, ne bayimirira, era ne baba eggye ddene nnyo.

11Awo nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, amagumba gano ye nnyumba yonna eya Isirayiri. Boogera nti, ‘Amagumba gaffe gaakala era nʼessuubi lyaffe lyaggwaawo, twasalibwako.’

12Kyonoova owa obunnabbi gye bali nʼoyogera nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Mmwe abantu bange, ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza, era ndibakomyawo mu nsi ya Isirayiri.

13Kale mulimanya nga nze Mukama, era nga nammwe muli bantu bange, bwe ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza.

14Ndibateekamu Omwoyo wange era muliba balamu; ndibateeka mu nsi yammwe mmwe ne mutuula omwo, mulyoke mumanye nga nze Mukama nkyogedde, era nkikoze, bwʼayogera Mukama Katonda.’ ”

15Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,

16“Omwana wʼomuntu ddira omuggo owandiikeko nti, ‘Guno gwa Yuda nʼAbayisirayiri abakolagana nabo.’ Oddire nʼomuggo omulala owandiikeko nti, ‘Guno muggo gwa Efulayimu owa Yusufu nʼennyumba ya Isirayiri yonna, bwe bakolagana.’

17Bagatte bafuuke omuggo gumu, bafuuke omuntu omu mu mukono gwo.”

18“Awo abantu bo bwe bakubuuzanga nti, ‘Amakulu ga bino kye ki?’

19Obategeezanga nti, Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, ‘Ndiddira omuggo gwa Yusufu oguli mu mukono gwa Efulayimu, nʼebika bya Isirayiri nʼabo bwe bakolagana, ne mbigatta ku muggo gwa Yuda, bafuuke omuntu omu mu mukono gwange.

20Balage emiggo gyʼowandiiseeko,

21obagambe nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ndiggya Abayisirayiri mu mawanga gye baagenda. Ndibakuŋŋaanya okuva wonna, ne mbakomyawo mu nsi yaabwe.

22Ndibafuula eggwanga limu mu nsi, ku nsozi za Isirayiri. Balifugibwa kabaka omu, tebaliddayo kubeera mawanga abiri, wadde okwawulibwa mu bwakabaka obubiri.

23Tebaliddayo kweyonoonyesa ne bakatonda abalala, ebintu ebikole obukozi nʼemikono ebyʼekivve, wadde okweyonoonyesa mu bibi byabwe. Ndibawonya okuva mu bifo byonna gye beeyonoonyesa, ndibafuula abalongoofu, muliba bantu bange, nange ndiba Katonda wammwe.” ’ ”

24“ ‘Omuweereza wange Dawudi alibeera kabaka waabwe, era bonna baliba nʼomusumba omu. Baligoberera amateeka gange, babeere beegendereza okukwata ebiragiro byange.

25Balibeera mu nsi gye nawa omuweereza wange Yakobo, ensi bajjajjammwe mwe baabeeranga. Bo nʼabaana baabwe, balibeera omwo ennaku zonna, era Dawudi omuweereza wange alibeera mulangira waabwe emirembe gyonna.

26Ndikola endagaano yange ebawa emirembe, eriba ndagaano eyʼolubeerera. Ndibanyweza ne mbaaza, era nditeeka ekifo kyange ekyʼokubeeramu wakati mu bo emirembe gyonna.

27Ekifo kyange ekyʼokubeeramu kinaabeeranga mu bo. Nnaabeeranga Katonda waabwe nabo banaabeeranga bantu bange.

28Amawanga galimanya nga nze Mukama Katonda, nze ntukuza Isirayiri; ekifo kyange ekyʼokubeeramu kiri mu bo emirembe gyonna.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>