1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nʼaŋŋamba nti,
2“Omwana wʼomuntu tunuuliza amaaso go eri Googi owʼomu nsi ya Magoogi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali, owe obunnabbi gyʼali,
3oyogere nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali.
4Ndikwetoolooza, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndibakulembera nʼeggye lyo lyonna, ne mbalaasi nʼabeebagala embalaasi, bonna nga bambadde ebyokulwanyisa mu kibinja ekinene ekirina engabo ennene nʼentono, nga bakutte nʼebitala.
5
6era ne Gomeri nʼeggye lye lyonna, nʼennyumba ya Togaluma okuva mu bukiikakkono obwʼewala ddala nʼeggye lyabwe lyonna, amawanga mangi nga gali wamu nammwe.
7“ ‘Weeteeketeeke beera bulindaala ggwe nʼekibinja kyonna ekikwetoolodde; obaduumire.
8Oluvannyuma olwʼennaku ennyingi mulikuŋŋaanyizibwa era mu myaka egyʼoluvannyuma mulirumba ensi eyaakava mu lutalo, ensi abantu mwe baakuŋŋanyizibwa okuva mu mawanga amangi ku nsozi za Isirayiri ezalekebwawo. Abantu baayo baggyibwa mu mawanga, kaakano bonna batudde mirembe.
9Ggwe nʼeggye lyo lyonna nʼamawanga agali awamu naawe, muliyambuka mubalumbe, era mulibalumba ngʼomuyaga, era muliba ngʼekire ekibisse ku nsi.
10“ ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo ebirowoozo biribajjira ne muteesa okukola akabi.
11Muligamba nti, “Ndirumba ensi eyʼebyalo ebitaliiko nkomera, ndirumba eggwanga erijjudde emirembe era eriteeteeseteese, bonna nga babeera mu bigango okutali nkomera newaakubadde ebyuma ebyʼamaanyi.
12Ndibba ne nnyaga ne nnumba ebifo ebyazika, kaakano ebibeeramu abantu, abantu abaakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga agʼenjawulo gye babeera, abalina obugagga bwʼente nʼebintu ebirala, ababeera wakati mu nsi.”
13Seeba ne Dedani nʼabasuubuzi abʼe Talusiisi nʼabʼebyalo bye bonna balibabuuza nti, “Muzze kunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwale effeeza yaffe ne zaabu yaffe, nʼebisolo byaffe nʼebintu byaffe ebirala, mutwale omunyago omunene?”
14“Noolwekyo omwana wʼomuntu kyonoova owa obunnabbi, nʼogamba Googi nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo abantu bange Isirayiri bwe baliba ngʼabatudde mirembe, temulikiraba?
15Olijja okuva mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe nʼamawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, enkuyanja yʼabantu, era eggye eddene.
16Mulitabaala abantu bange Isirayiri ngʼekire ekibikka ku nsi. Era mu nnaku ezʼoluvannyuma ndikulinnyisa nʼolumba ensi yange, ggwe Googi, amawanga gamanye. Era ndyolesa obutukuvu bwange mu maaso gaabwe.
17“ ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Si mmwe be nayogerako edda nga mpita mu baddu bange bannabbi ba Isirayiri, abaawa obunnabbi mu biro ebyo okumala ebbanga, nga ŋŋenda kubasindika mubalumbe?
18Naye ku lunaku olwo, Googi bwʼalirumba ensi ya Isirayiri, ndiraga obusungu bwange, bwʼayogera Mukama Katonda.
19Mu buggya bwange ne mu busungu bwange nnangirira nga njogera nti walibaawo musisi owʼamaanyi mu nsi ya Isirayiri;
20nʼebyennyanja ebiri mu nnyanja, nʼennyonyi ezʼomu bbanga, nʼensolo enkambwe ezʼomu nsiko, ne buli kyewalulira ku ttaka, nʼabantu bonna abali ku nsi balikankana olwʼokujja kwange. Ensozi zirisuulibwa nʼebbanga liribulunguka, ne buli bbugwe aligwa ku ttaka.
21Nditumira Googi ekitala okuva mu nsozi zange zonna, bwʼayogera Mukama Katonda, era buli muntu alirwana ne muganda we.
22Ndibabonereza ne kawumpuli nʼokuyiwa omusaayi, era nditonnyesa amatondo agʼenkuba amanene nga mulimu omuzira nʼomuliro ku ye, nʼeggye lye ne ku mawanga amangi agaamwegattako.
23Olwo ndyolesa obukulu bwange nʼobutukuvu bwange, era ndyeraga eri amawanga mangi, ne balyoka bamanya nga Nze Mukama Katonda.’ ”