Ezeekyeri 39:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1“Omwana wʼomuntu, wa obunnabbi ku Googi oyogere nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali.

2Ndikukyusa nkukulule, era ndikuggya mu bukiikakkono obwʼewala ne nkutuma eri ensozi za Isirayiri.

3Ndiggya omutego gwo mu mukono gwo ogwa kkono; nʼobusaale bwo obungi obubadde mu mukono gwo ogwa ddyo, ndibukusuuza.

4Oligwa ku nsozi za Isirayiri ggwe nʼeggye lyo lyonna nʼamawanga agali naawe; ndibawaayo eri ensega eza buli ngeri nʼeri buli nsolo enkambwe mufuuke emmere yaazo.

5Muligwa ku ttale, kubanga nze nkyogedde, bwʼayogera Mukama Katonda.

6Ndisindika omuliro ku Magogi ne ku abo ababeera mu bifo ebirimu emirembe ku lubalama lwʼennyanja; balyoke bamanye nga nze Mukama.’ ”

7“Ndimanyisa abantu bange Isirayiri Erinnya lyange ettukuvu. Siriganya linnya lyange kuddayo kuvumibwa, era amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu mu Isirayiri.

8Ekiseera kyakyo kituuse era kirituukirira, bwʼayogera Mukama Katonda. Luno lwe lunaku lwe nayogerako.”

9“Abo ababeera mu bibuga bya Isirayiri balifuluma ne bakozesa ebyokulwanyisa ngʼenku era balibikumako omuliro, engabo entono ne ngabo ennene, emitego nʼobusaale nʼebiti ebinene nʼamafumu. Balibikozesa ngʼenku okumala emyaka musanvu.

10Tekiribeetaagisa kutyaba nku ku ttale so tebalitema nku mu bibira, kubanga ebyokulwanyisa bye balikozesa ngʼenku. Balinyaga abo abaabanyaga, ne babba abo abaababba, bwʼayogera Mukama Katonda.”

11“Ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo ekyʼokuziikamu mu Isirayiri mu kiwonvu kyʼabatambuze ku luuyi olwʼebuvanjuba ku Nnyanja eyʼOmunnyo.[6] Kiriziba ekkubo lyʼabatambuze, kubanga Googi nʼenkuyanja yʼabantu be baliziikibwa eyo. Era kiriyitibwa ekiwonvu kya Kamonugoogi.”

12“Ennyumba ya Isirayiri balimala emyezi musanvu nga babaziika, okusobola okutukuza ensi.

13Abantu bonna abʼomu nsi balibaziika, era luliba lunaku lwa kujjukiranga era lwe lunaku lwe ndigulumizibwa, bwʼayogera Mukama Katonda.”

14“Wanaabangawo abasajja abanaapangisibwanga okukola omulimu ogwʼokutukuza ensi. Abamu ku bo banaayitanga mu nsi nga bakola omulimu ogwo, nʼabalala banaaziikanga emirambo gyʼabo egirisigala kungulu. Oluvannyuma olwʼemyezi omusanvu balitandika okunoonya abaafa.

15Bwe baliba nga bayita mu nsi, omu nʼalaba eggumba lyʼomuntu, aliteeka akabonero mu kifo ekyo, okutuusa abaziika bwe baliba bayita ne balaba akabonero ne baliziika mu kiwonvu kya Kamonugoogi.

16(Era ne mu kifo ekyo eribaayo ekibuga ekiyitibwa Kamona). Bwe batyo bwe balitukuza ensi.”

17Omwana wʼomuntu, bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Koowoola buli kika kyʼennyonyi ne bisolo byonna ebikambwe obigambe nti, ‘Mukuŋŋaane, mujje okuva mu njuyi zonna eri ssaddaaka gye mbateekeddeteekedde, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isirayiri, mulye ennyama munywe nʼomusaayi.

18Mulirya ennyama eyʼabalwanyi abʼamaanyi, era mulinywa omusaayi gwʼabalangira abʼensi, ngʼabanywa ogwʼendiga ennume nʼobuliga obuto, ogwʼembuzi nʼente ziseddume, zonna ensava eʼze Basani.

19Mulirya amasavu ne mukkuta, ne munywa omusaayi ne mutamiira ku ssaddaaka yange gye mbategekera.

20Ku mmeeza yange mulirya embalaasi nʼabazeebagala, wamu nʼabalwanyi abʼamaanyi nʼabasajja abaserikale aba buli kika,’ bwʼayogera Mukama Katonda.”

21“Ndyoleka ekitiibwa kyange mu mawanga, era amawanga gonna galiraba ekibonerezo kye ndikuwa, nga nʼomukono gwange gubateekeddwaako.

22Okuva ku lunaku olwo, ennyumba ya Isirayiri balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.

23Nʼamawanga galimanya ngʼabantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse olwʼebibi byabwe, kubanga tebaali beesigwa gye ndi. Kyenava mbakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mukono gwʼabalabe baabwe, bonna ne battibwa ekitala.

24Nababonereza ngʼobutali butuukirivu bwabwe nʼebikolwa byabwe bwe byali, ne mbakisa amaaso gange.

25“Noolwekyo Mukama Katonda ayogera nti, Ndikomyawo Yakobo okuva mu buwaŋŋanguse, era ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Isirayiri yonna, era ndirwanirira erinnya lyange ettukuvu.

26Balyerabira okuswazibwa kwabwe, nʼobutali bwesigwa bwe bandaga, bwe baabeera mu nsi yaabwe emirembe, nga tebaliiko abatiisa.

27Bwe ndibakomyawo okuva mu mawanga, nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ezʼabalabe baabwe, ndyoleka obutukuvu bwange mu bo eri amawanga mangi.

28Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda, kubanga nabasindika mu buwaŋŋanguse mu mawanga, ate ne mbakuŋŋaanya eri ensi yaabwe, ne sirekaayo nʼomu.

29Siribakisa maaso gange nate, bwe ndifuka Omwoyo wange ku nnyumba ya Isirayiri,” bwʼayogera Mukama Katonda.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>