1“Kaakano omwana wʼomuntu, ddira ekipande ekyʼebbumba okiteeke mu maaso go, okikubeko ekifaananyi kyʼekibuga Yerusaalemi,
2okizingize, okizimbeko bbugwe okukyetooloola, okituumeko ekifunvu, era oteekewo ensiisira okukyetooloola nʼebifunvu bye banaatomera enjuuyi zonna.
3“Oluvannyuma oddire olukalango olwʼekyuma, oluteeke okuba bbugwe owʼekyuma wakati wo nʼekibuga, okyuke okitunuulire. Kiriba mu mbeera eyʼokuzingizibwa, era naawe kizingize. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isirayiri.
4“Nʼoluvannyuma oligalamira ku lubiriizi lwo olwa kkono nʼoddira ekibi kyʼennyumba ya Isirayiri okyeteekeko. Olyetikka ekibi kyabwe ennaku zʼolimala ngʼogalamidde ku lubiriizi lwo.
5Ennaku zʼolimala ezenkanankana emyaka gye baamala nga boonoona. Noolwekyo olimala ennaku ebikumi bisatu mu kyenda nga weetisse ekibi kyʼennyumba ya Isirayiri.
6“Ekyo bwʼolikimala, oligalamira nate, ku mulundi guno ku lubiriizi lwo olwa ddyo, ne weetikka ekibi kyʼennyumba ya Yuda. Olimala ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka.
7Olikyusa amaaso go nʼotunula eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, okyogerereko ebigambo nʼomukono gwo ogutali mubikkeko,
8Ndikusiba emiguwa nʼotosobola kwekyusa okuva ku luuyi olumu okudda ku lulala, okutuusa ennaku ezʼobusibe bwo lwe ziriggwaako.
9“Ddira eŋŋaano ne sayiri, nʼobulo, nʼebijanjalo, nʼenva endiirwa endala obisse mu kibya omuterekebwa, obikozese okwefumbira omugaati. Oligulya mu nnaku ezo ebikumi ebisatu mu ekyenda zʼoliba ogalamidde ku luuyi olwʼomubiri gwo.
10Opime gulaamu ebikumi bibiri mu amakumi asatu ezʼemmere gyʼolirya buli lunaku, era gyʼoliriira mu biseera ebigere.
11Ate opime nga kitundu kya lita eyʼamazzi, oganywe mu biseera ebigere.
12Olye emmere nga bwe wandiridde keeke eya sayiri; ogifumbe nʼobusa bwʼomuntu, ngʼabantu balaba.”
13Mukama nʼaŋŋamba nti, “Mu ngeri eno abantu ba Isirayiri baliriira emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasindika.”
14Ne njogera nti, “Nedda Ayi Mukama Katonda. Sseeyonoonesanga, era okuva mu buto bwange nʼokutuusa kaakano siryanga kifu wadde ekitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe. Siryanga nnyama etali nnongoofu.”
15Nʼayogera nti, “Weewaawo, nnaakukkiriza okukozesa obusa bwʼente okufumba omugaati mu kifo kyʼobusa bwʼabantu.”
16Nʼoluvannyuma nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, ndisalako emmere eri mu Yerusaalemi. Abantu balirya emmere engere mu kutya, ne banywa amazzi amapime mu kutya,
17kubanga emmere nʼamazzi biriba bya bbula. Tebalyagala kwetunulako, era baliggwaawo olwʼekibi kyabwe.”