1Ku ntandikwa eyʼomwaka ogwʼamakumi abiri mu etaano nga tuli mu buwaŋŋanguse, ku lunaku lwʼomwezi ogwʼekkumi, oluvannyuma lwʼemyaka kkumi nʼena ngʼekibuga kigudde, omukono gwa Mukama ne gunzikako ku lunaku olwo lwennyini, nʼantwalayo.
2Mu kwolesebwa, Katonda nʼantwala mu nsi ya Isirayiri nʼanteeka ku luuyi olwʼObukiikaddyo obwʼolusozi oluwanvu ennyo okwali ebizimbe ebyali ngʼekibuga.
3Nʼantwala eyo, ne ndaba omusajja, ngʼalabika ngʼayakolebwa mu kikomo, ngʼayimiridde mu mulyango ngʼakutte omuguwa ogwa linena nʼoluti olupima.
4Omusajja nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, tunula nʼamaaso go owulire nʼamatu go osseeyo omwoyo ku buli kye nnaakulaga, kyovudde oleetebwa wano. Byonna byʼonoolaba obitegeeze ennyumba ya Isirayiri.”
5Ne ndaba bbugwe okwetooloola ekifo kya yeekaalu. Obuwanvu bwʼoluti olupima olwali mu mukono gwʼomusajja lwali emikono mukaaga, nga mita ssatu. Buli mukono gwali nga kitundu kya mita. Nʼapima bbugwe ngʼomubiri gwayo mita ssatu, nʼobugulumivu bwayo mita ssatu.
6Oluvannyuma nʼalaga ku mulyango ogutunuulira Ebuvanjuba, nʼalinnya amadaala nʼapima omuziziko ogusooka ogwʼomu mulyango, nga guli oluti lumu, ze mita ssatu.
7Nʼobusenge obwʼabakuumi bwali mita ssatu obuwanvu, nʼobugazi mita ssatu, ngʼebbanga eryawula obusenge obwo liri mita bbiri nʼekitundu. Waaliwo nʼomuziziko ogwokubiri. Nʼomuziziko ogwo gwali mita ssatu mu bugulumivu. Mu maaso gʼomuziziko ogwo waaliwo ekisasi okutunuulira yeekaalu.
8Awo nʼapima ekisasi ekyʼoku mulyango
9nga kiri mita nnya obugulumivu. Waaliwo empagi bbiri ku nsonda yʼekisasi, nʼomubiri ogwʼempagi ezo gwali mita emu. Ekisasi ekyʼoku mulyango kyayolekera yeekaalu.
10Munda mu mulyango ogwʼEbuvanjuba mwalimu obusenge obwʼabakuumi busatu ku njuyi zombi, bwʼonsatule nga bwenkanankana obunene, nga nʼebbanga wakati waabwo lyenkanankana obunene.
11Nʼapima obugazi obwʼawayingirirwa mu mulyango nga buli mita ttaano nʼobugulumivu bwawo nga buli mita mukaaga nʼekitundu.
12Mu maaso ga buli kasenge waaliwo ekisenge obuwanvu kitundu kya mita, nʼobusenge nga buli mita ssatu eruuyi ne mita ssatu eruuyi.
13Nʼoluvannyuma nʼapima obugazi bwʼakasolya akʼekibangirizi okuva ku kasenge akamu okutuuka ku kakoolekedde; okuva ku ntikko yʼempagi okutuuka ku yʼempagi eyookubiri waali mita kkumi na bbiri nʼekitundu.
14Waaliwo embu bbiri ezʼobusenge. Nʼapima ekibangirizi okuva ku kasenge akasooka akʼolubu olumu okutuuka ku kasenge akasembayo akʼolubu olwo. Nʼoluvannyuma nʼapima nʼekibangirizi okuva ku kasenge akasooka akʼolubu olulala okutuuka ku kasenge akasembayo akʼolubu olwo olulala, wonna awamu nʼafuna mita kkumi na ttaano buli lubu. Ekipimo ekyo tekitwaliramu kisasi.
15Nʼokuva ku bwenyi bwʼomulyango awayingirirwa okutuuka ekisasi kyagwo we kikoma waali mita amakumi abiri mu ttaano.
16Era obusenge bwaliko amabanga amafunda okuva wansi okutuuka waggulu mu bisenge byabwo, okwetooloola obusenge bwonna; ate nʼekisasi nakyo kyalina amabanga agafaanagana nga gali agʼobusenge obwʼabakuumi. Ku bisenge kwali kwoleddwako ebifaananyi ebyʼenkindu.
17Awo omusajja nʼandeeta mu luggya olwʼebweru; ne ndaba ebisenge ebimu nʼolubalaza ebyazimbibwa, ebisenge ebyo ebyazimbibwa ku lubalaza mu bbugwe okwetooloola oluggya lwonna, byali amakumi asatu.
18Olubalaza lwakolebwa okwetooloola bbugwe. Obugazi bwʼolubalaza lwali lwenkanankana nʼobuwanvu bwʼomulyango, era ngʼolubalaza lwolekedde oluggya. Olubalaza olwo lwe luyitibwa olubalaza olwa wansi.
19Nʼoluvannyuma nʼapima ekibangirizi okuva omulyango ogwʼEbuvanjuba we gukoma okutuuka ebweru owʼoluggya olwʼomunda, ze mita amakumi ataano. Waaliwo nʼomulyango ogwʼObukiikakkono. Nʼekibangirizi okuva ku mulyango ogwo we gukoma okutuuka ebweru wʼoluggya olwʼomunda nakyo kyali mita amakumi ataano.
20Awo nʼapima obuwanvu nʼobugazi obwʼomulyango ogwʼObukiikakkono ogufuluma mu luggya olwʼebweru.
21Obusenge bwagwo obwʼabakuumi, busatu oluuyi nʼoluuyi, nʼebbanga wakati waabwo, nʼekisasi kyagwo, byalina ebipimo bye bimu ngʼomulyango ogusooka. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, nʼobugazi mita kkumi na bbiri nʼekitundu.
22Amabanga gaagwo amafunda, nʼekisasi kyagwo, nʼebifaananyi ebyʼenkindu ebyagwo byalina ebipimo bye bimu ngʼebyʼomulyango ogwʼEbuvanjuba. Amadaala musanvu ge galinnyibwanga okutuuka ku mulyango ogwʼObukiikakkono. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero yʼomulyango ogwo.
23Waaliwo omulyango ogwʼoluggya olwʼomunda ogwatunuulira omulyango ogwʼObukiikakkono, nga ogwali Ebuvanjuba. Nʼapima okuva ku mulyango ogwʼoluggya olwʼomunda okutuuka ku mulyango ogwʼObukiikakkono mita amakumi ataano.
24Awo nʼankulembera nʼantwala ku luuyi olwʼObukiikaddyo ne ndaba omulyango ogwʼObukiikaddyo, nʼapima empagi zaagwo nʼekisasi kyagwo, ngʼebigera byabyo byenkanankana nʼebirala.
25Omulyango nʼekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola wonna, ngʼamabanga agʼebirala. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, ngʼobugazi mita kkumi na bbiri nʼekitundu.
26Amadaala musanvu ge gaalinnyibwangako okugutuukako. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero yaagwo. Gwaliko nʼebifaananyi ebyʼenkindu ebyayolebwa eruuyi nʼeruuyi ku bisenge byagwo.
27Waaliwo nʼomulyango ogwʼoluggya olwʼomunda ogwatunuulira omulyango ogwʼObukiikaddyo. Nʼapima okuva ku mulyango ogwo okutuuka ku mulyango ogwʼObukiikaddyo; zaali mita amakumi ataano.
28Awo nʼantwala mu luggya olwʼomunda nga tuyita mu mulyango ogwʼObukiikaddyo ogwʼoluggya olwʼomunda, nʼapima, nga gulina ebipimo bye bimu ngʼemirala gyonna.
29Obusenge bwagwo obwʼabakuumi, nʼamabanga gaagwo, nʼekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ngʼebirala. Omulyango nʼekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, nʼobugazi mita kkumi na bbiri nʼekitundu.
30Ebisasi ebyʼemiryango ebyetoolodde oluggya olwʼomunda buli kimu kyali obugazi mita kkumi na bbiri nʼekitundu, nʼobugulumivu mita bbiri nʼekitundu.
31Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olwʼebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa nʼebifaananyi ebyʼenkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi ekyʼoku mulyango ogwʼObukiikaddyo ogwʼoluggya olwʼomunda.
32Oluvannyuma nʼantwala mu luggya olwʼomunda ku mulyango ogwʼEbuvanjuba ogwʼoluggya olwʼomunda, nʼapima omulyango ogwo, nga gulina ebipimo bye bimu ngʼemirala.
33Obusenge bwagwo nʼamabanga gaagwo nʼekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ngʼebirala. Omulyango nʼekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu nʼobugazi mita kkumi na bbiri nʼekitundu.
34Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olwʼebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa nʼebifaananyi ebyʼenkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi ekyʼoku mulyango ogwʼEbuvanjuba ogwʼoluggya olwʼomunda.
35Nʼantwala ku mulyango ogwʼObukiikakkono ogwʼoluggya olwʼomunda nʼalupima ngʼebipimo bye bimu ngʼemiryango emirala.
36Obusenge bwagwo obwʼabakuumi nʼamabanga gaagwo, nʼekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ngʼebirala. Omulyango nʼekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, nʼobugazi mita kkumi na bbiri nʼekitundu.
37Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olwʼebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa nʼebifaananyi ebyʼenkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi ekyʼoku mulyango ogwʼObukiikakkono ogwʼoluggya olwʼomunda.
38Waaliwo ekisenge nʼoluggi lwakyo ekyaliraana ekisasi ku buli mulyango ogwʼoluggya olwʼomunda. Omwo ebiweebwayo ebyokebwa mwe byayozebwanga.
39Mu kisasi ekyʼemiryango mwalimu emmeeza bbiri oluuyi olumu nʼendala bbiri oluuyi olulala kwe battiranga ebiweebwayo ebyokebwa, nʼebiweebwayo olwʼebibi, nʼebiweebwayo olwʼomusango.
40Era ebweru wʼekisasi ku mulyango, okumpi nʼamadaala awayingirirwa ku mulyango oguli mu bukiikakkono waaliwo emmeeza bbiri ne ku luuyi olulala olwʼamadaala waliwo emmeza bbiri.
41Ne kitegeeza nga waaliwo emmeeza nnya ku luuyi olumu olwʼomunda, nʼemmeeza endala nnya ku luuyi olulala ngʼoyimiridde mu mulyango, awamu zʼemmeeza munaana, kwe battiranga ssaddaaka.
42Era waaliwo nʼemmeeza endala nnya ezʼamayinja amateme ezʼebiweebwayo ebyokebwa, buli emu yali desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita obuwanvu, obugazi desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita nʼobugulumivu kitundu kya mita. Okwo kwe baateekanga ebiso ebibaaga ebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo ebirala.
43Era waaliwo nʼewuuma ezʼengalo bbiri, obuwanvu bwazo sentimita mwenda, ezaawanikibwa ku bisenge okwetooloola. Ku mmeeza kwe baatekanga ennyama eyʼebiweebwayo.
44Mu luggya olwʼomunda waaliyo ebisenge bibiri ebyʼabayimbi, ekimu ku luuyi olwʼomulyango ogwʼObukiikakkono ekyolekera Obukiikaddyo, nʼekirala ku luuyi olwʼomulyango ogwʼObukiikaddyo okutunuulira Obukiikakkono.
45Nʼaŋŋamba nti, “Ekisenge ekyolekera Obukiikaddyo, kya bakabona abavunaanyizibwa yeekaalu,
46nʼekisenge ekyolekera Obukiikakkono kya bakabona abavunaanyizibwa ekyoto. Abo be batabani ba Zadooki, era be Baleevi bokka abasobola okusemberera Mukama okumuweereza.”
47Nʼapima oluggya, nga luli mita amakumi ataano obuwanvu, nʼobugazi mita amakumi ataano, nga kya nsonda nnya ezenkanankana, nʼekyoto kyali mu maaso ga yeekaalu.
48Nʼantwala ku kisasi kya yeekaalu nʼapima empagi ezʼekisasi ezaali eruuyi nʼeruuyi olwʼekisasi. Ne ndaba nga ku mukono ogwa ddyo empagi emu epima mita bbiri nʼekitundu ku luuyi olwʼebweru ate ngʼempagi eyookubiri ku mukono ogwa kkono erina ebipimo ebyenkanankana na luli. Oluuyi olwʼomunda olwʼempagi emu lwapima mita emu nʼekitundu, nʼoluuyi olwʼomunda olwʼempagi eyookubiri nga nalwo lupima mita emu nʼekitundu. Okuva ku mpagi we zitandikira okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita musanvu, ekitegeeza nti ekisasi kyali mita musanvu obuwanvu.
49Obugazi bwʼomulyango ngʼotaddeko nʼempagi ezʼenjuuyi zombi bwali mita kkumi. Okuva ku mpagi okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita ttaano nʼekitundu. Amadaala kkumi ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi. Waaliwo nʼempagi endala bbiri eruuyi nʼeruuyi ezaaliraana empagi eziwanirira ekisasi.