Ezeekyeri 41:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1Awo omusajja nʼantwala ebweru wa yeekaalu Awatukuvu nʼapima empagi ezʼawayingirirwa mu kifo ekitukuvu, obugazi mita ssatu buli luuyi.

2Awayingirirwa waali obugazi mita ttaano, nʼobugazi bwʼempagi ezo ku luuyi olwʼomunda zaali mita bbiri nʼekitundu eruuyi nʼeruuyi. Nʼapima ebweru wa yeekaalu Awatukuvu nga wali mita amakumi abiri obuwanvu, nʼobugazi mita kkumi.

3Oluvannyuma nʼayingira munda wa yeekaalu Awatukuvu wʼAwatukuvu, nʼapima empagi eziri awayingirirwa, buli emu obugazi mita emu. Omulyango gwali mita ssatu obugazi, nʼebisenge ebyayitangamu eruuyi nʼeruuyi ku mulyango oguyingirirwamu mu Watukuvu wʼAwatukuvu byali mita ssatu nʼekitundu obugazi.

4Nʼapima Awatukuvu wʼAwatukuvu nga wali mita kkumi obuwanvu, nʼobugazi mita kkumi. Nʼaŋŋamba nti, “Kino kye kifo ekiyitibwa Awatukuvu wʼAwatukuvu.”

5Nʼapima ekisenge ekya yeekaalu, ngʼomubiri gwakyo guli mita ssatu, na buli kisenge ekyʼebbali okwebungulula yeekaalu obugazi nga kiri mita bbiri.

6Ebisenge ebyʼebbali byali emyaliiro esatu, buli kimu nga kiri waggulu wa kinnaakyo, ku buli mwaliiro kwaliko ebisenge amakumi asatu. Waaliwo empagi ezawaniriranga ebisenge ebyo naye ngʼempagi ezo teziyingira mu kisenge ekya yeekaalu.

7Ebisenge ebyʼebbali okwebungulula yeekaalu byagendanga nga byeyongera okugaziwa buli mwaliiro ogweyongerangayo waggulu, era amadaala gaazo agalinnyirwako gaava wansi okutuuka ku mwaliiro ogusembayo nga guyita ku mwaliiro ogwa wakati.

8Ne ndaba nga yeekaalu eriko ekifo ekyagulumira okugyebungulula nga kye kikola omusingi ogwʼebisenge ebyʼebbali. Obuwanvu kyali ngʼobuwanvu obwʼoluti, zʼemita empanvu ssatu.

9Waaliwo ekisenge ekyebunguludde ebisenge ebyʼebbali. Omubiri gwʼekisenge ekyo gwali mita bbiri nʼekitundu. Waaliwo ekibangirizi wakati wʼebisenge ebyʼebbali ebya yeekaalu nʼekisenge ekyebunguludde ebisenge ebyʼebbali ebya yeekaalu. Waaliwo nʼekibangirizi wakati wa bbugwe nʼekisenge ekyebunguludde ebisenge ebyʼebbali ebya yeekaalu.

10Ekibangirizi ekyo kyali mita kkumi obugazi.

11Waaliwo emiryango egyayingiranga mu bisenge ebyʼebbali okuva mu kibangirizi ekiri wakati wʼekisenge ekyebunguludde ebisenge ebyʼebbali nʼebisenge ebyo. Emiryango egyo gyali ku luuyi olwʼObukiikakkono, ne ku luuyi olwʼObukiikaddyo. Ekibangirizi ekyo kyali mita bbiri nʼekitundu obugazi.

12Ekizimbe ekyali mu luggya emanju wa yeekaalu, lwe luuyi olwʼebugwanjuba kyali obugazi mita amakumi asatu mu ttaano, nʼomubiri gwʼekisenge ekyʼekizimbe ekyo gwali mita bbiri nʼekitundu okwebungulula, nʼobuwanvu bwakyo mita amakumi ana mu ttaano.

13Oluvannyuma omusajja nʼapima yeekaalu, ngʼobuwanvu eri mita amakumi ataano, nʼoluggya lwa yeekaalu nʼekizimbe nʼebisenge byakwo byali obuwanvu mita amakumi ataano.

14Obugazi bwʼoluggya lwa yeekaalu ku luuyi olwʼebuvanjuba ngʼogasseeko emiryango wa yeekaalu waali mita amakumi ataano.

15Nʼapima obuwanvu obwʼekizimbe ekyali mu maaso gʼoluggya emanju wa yeekaalu, okwo nga kwʼogasse embalaza oluuyi nʼoluuyi nga wali mita amakumi ataano. Ekifo Awatukuvu ebweru, nʼekifo Awatukuvu munda nʼekisasi mu maaso gʼoluggya

16nʼawayingirirwa, nʼamadirisa amafunda nʼembalaza okugeetooloola gonsatule, okwolekera omulyango byonna byabikkibwako embaawo, ne wansi, nʼekisenge okutuuka ku madirisa, nʼamadirisa byabikkibwako.

17Mu bbanga eryali waggulu wʼomulyango okutuuka mu wakuŋŋaanirwa munda, ne ku bisenge mu bifo ebitali bimu okwetooloola Awatukuvu munda, ne ku bisenge mu bifo ebitali bimu okwetooloola Awatukuvu munda nʼebweru,

18yakolebwa ne bakerubi nʼenkindu, ngʼolukindu luteekeddwa wakati wa bakerubi kinnababirye. Ne buli kerubi yalina ebyenyi bibiri

19ekyenyi kyʼomusajja nga kyolekedde olukindu ku luuyi olumu nʼekyenyi kyʼempologoma ento nga kyolekedde olukindu oluuyi olulala. Ebyo byakolebwa okwetooloola eyeekaalu yonna.

20Okuva wansi okutuuka mu kibangirizi ekiri waggulu wʼomulyango waaliwo bakerubi nʼenkindu ebyawoolebwa ebweru ku kisenge kyʼAwatukuvu.

21Omulyango ogwʼAwatukuvu ebweru gwali gwa nsonda nnya era nʼogwo ogwali mu maaso gʼEkifo Ekitukuvu Ennyo gwali gugufaanana

22Ekyoto kyabajjibwa mu muti ngʼobugulumivu kiri mita emu nʼekitundu, obuwanvu nʼobugazi mita emu, eruuyi nʼeruuyi. Ensonda zaakyo nʼobuwanvu bwakyo nʼebisenge byakyo byali bya miti. Omusajja nʼaŋŋamba nti, “Eno ye mmeeza ebeera mu maaso ga Mukama.”

23Awatukuvu nʼAwatukuvu wʼAwatukuvu byalina enzigi za mpayi bbiri bbiri.

24Buli luggi lwalina empayi bbiri, buli mwango nga gulina enzigi bbiri.

25Era ku nzigi ezo ezʼAwatukuvu kwali kwoleddwako ebifaananyi bya bakerubi nʼebyʼenkindu nga biri ebyayolebwa ku bisenge. Waaliwo nʼakasasi akaakolebwa mu muti akali ku kisasi.

26Ku bisenge ebyʼebbali ebyʼekisasi kwaliko amadirisa amawanvuyirivu nga mafunda agaali gooleddwako ebifaananyi ebyʼenkindu ku buli luuyi. Nʼebisenge ebyʼebbali ebya yeekaalu byalina obusasi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>