1Awo omusajja nʼankulemberamu nʼantwala mu luggya ebweru ku luuyi olwʼObukiikakkono, nʼantwala mu bisenge ebyʼekizimbe ekyayolekera oluggya lwa yeekaalu era ekyayolekera bbugwe ku luuyi olwʼObukiikakkono.
2Ekizimbe ekyo ekyaliko omuzigo ogwolekedde Obukiikakkono, kyali mita amakumi ataano obuwanvu, nʼobugazi mita amakumi abiri mu ttaano.
3Ekizimbe ekyo kyalina ennyumba bbiri. Ennyumba emu yali eyolekera oluggya olwʼomunda oluli mita kkumi obugazi. Ennyumba endala nʼeyolekera oluggya olwʼebweru. Ennyumba zombi zazimbibwa nga za kalina ssatu, nga zoolekaganye.
4Wakati wʼennyumba ezo ebbiri, waaliwo olukuubo mita ttaano obugazi, nʼobuwanvu mita amakumi ataano. Enzigi ezʼennyumba eyolekera oluggya olwʼomunda zaayolekera Obukiikakkono.
5Ebisenge ebya waggulu byali bifunda okusinga ebibiri wansi, kubanga olubalaza olwa waggulu lwatwala ekifo kinene okusinga ku myaliiro egya wansi nʼegya wakati mu kizimbe.
6Oluggya lwalina empagi naye ebisenge ebyali ku mwaliiro ogwokusatu tebyalimu mpagi, noolwekyo byali bitono okusinga ebyali ku mwaliiro ogwa wansi ne ku mwaliiro ogwa wakati.
7Waaliwo ekisenge ekyʼebweru ekyali kigatta ennyumba zombi ezʼekizimbe, obuwanvu mita amakumi abiri mu ttaano.
8Olubu lwʼebisenge olwʼennyumba eri ku luuyi oluliraanye oluggya olwʼebweru obuwanvu bwali mita amakumi abiri mu ttaano, ate nʼolubu lwʼebisenge olwʼennyumba ku luuyi olusinga okuliraana yeekaalu obuwanvu bwali mita amakumi ataano.
9Ebisenge ebya wansi byaliko omulyango ku luuyi olwʼebuvanjuba ogufuluma mu luggya olwʼebweru.
10Ku luuyi olwʼObukiikaddyo obwa yeekaalu, waliwo ekizimbe ekyalina ennyumba bbiri ezaali wakati wʼoluggya olwa yeekaalu, ne bbugwe.
11Waaliwo olukuubo wakati wʼennyumba zombi. Zaafaanana ngʼennyumba ezʼoku luuyi olwʼObukiikakkono, ngʼobuwanvu nʼobugazi bwazo, nʼemiryango nga bya bipimo ebyenkanankana nʼebyʼObukiikakkono.
12Emiryango gyʼebisenge ebyʼObukiikaddyo gyali gifaanana nʼemiryango gyʼebisenge ebyʼObukiikakkono. Ekizimbe kyaliko omuzigo ogwolekedde Obukiikaddyo, nga bwʼoguyingiriramu oyolekera emiryango gyʼennyumba ennene eyʼekizimbe. Waaliwo omulyango omulala ku luuyi olwʼebuvanjuba olukuubo lwʼekizimbe ekyʼennyumba zombi we lukoma.
13Awo nʼaŋŋamba nti, “Ebisenge ebyʼennyumba eyolekedde yeekaalu ebyʼomu Bukiikakkono nʼebyʼennyumba eyolekedde yeekaalu ebyʼomu Bukiikaddyo, byʼebisenge bya bakabona. Bakabona abaweereza mu maaso ga Mukama gye banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo; era eyo gye banaatekanga ebiweebwayo ebitukuvu ennyo, nʼekiweebwayo ekyʼobutta nʼebiweebwayo olwʼekibi, nʼebiweebwayo olwʼomusango, kubanga ekifo kitukuvu.
14Bakabona bwe bayingirangamu, tebaafulumenga kulaga mu luggya olwʼebweru, okuggyako nga baggyemu ebyambalo ebyʼobuweereza bwabwe, kubanga byambalo bitukuvu. Banaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ebifo awali abantu.”
15Bwe yamala okupima munda wa yeekaalu, nʼankulembera nʼampisa mu mulyango ogwʼEbuvanjuba, nʼapima ekitundu ekyetoolodde wonna.
16Nʼapima oluuyi olwʼebuvanjuba nʼoluti olugera, nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano.
17Nʼapima oluuyi olwʼObukiikakkono nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano.
18Nʼoluvannyuma nʼapima oluuyi olwʼObukiikaddyo nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano.
19Nʼoluvannyuma nʼakyuka nʼapima oluuyi olwʼebugwanjuba, nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano.
20Nʼapima enjuuyi ennya zonna. Yeekaalu yalina bbugwe okugyebungulula, mita ebikumi bibiri mu ataano obuwanvu, nʼobugazi mita ebikumi bibiri mu ataano, nga kye kyawula awatukuvu nʼawabulijjo.