Ezeekyeri 43:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Awo omusajja nʼantwala ku mulyango ogwolekera Obuvanjuba,

2ne ndaba ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri nga kiva Ebuvanjuba, nʼeddoboozi lye lyali ngʼokuwuuma okwʼamazzi amangi, nʼensi nʼemasamasa olwʼekitiibwa kye.

3Okwolesebwa kwe nalaba kwali nga kuli kwe nalaba bwe najja okuzikiriza ekibuga, era ngʼokwolesebwa kwe nalaba ku lubalama lwʼomugga Kebali; ne nvuunama.

4Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu yeekaalu nga kiyita mu luggi olwolekera Obuvanjuba,

5Omwoyo nʼansitula, nʼandeeta mu luggya olwʼomunda, nʼekitiibwa kya Mukama ne kijjula yeekaalu.

6Awo omusajja ngʼayimiridde okunninaana, ne mpulira omuntu ayogera nange ngʼasinziira munda mu yeekaalu;

7nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, kino kye kifo ekyʼentebe eyʼobwakabaka bwange, era ekifo ekyʼebigere byange mwe nnaabeeranga wakati mu bantu ba Isirayiri emirembe gyonna. Ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo kuvvoola linnya lyange ettukuvu, bo newaakubadde bakabaka baabwe, nga basinza emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu.

8Bwe baliraanya omulyango gwabwe okumpi nʼogwange, era nʼemifuubeeto gyabwe okumpi nʼegyange, ekisenge ekyereere nga kye kyawula nze nabo, bavvoola erinnya lyange ettukuvu nʼemizizo gyabwe. Kyennava mbazikiriza nʼobusungu bwange.

9Kaakano baggyewo ebyʼobugwagwa byabwe, nʼokusinza emirambo gya bakabaka baabwe, era babiteeke wala nange, nange naabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.

10“Omwana wʼomuntu, abantu ba Isirayiri bannyonnyole endabika ya yeekaalu, bakwatibwe ensonyi olwʼebibi byabwe.

11Bwe balikwatirwa ensonyi olwʼebyo byonna bye baakola olibategeeza eyeekaalu bwʼefaanana, okutegekebwa kwayo, awafulumirwa nʼawayingirirwa, nʼekifaananyi kyayo yonna, era nʼebiragiro byamu nʼamateeka gaamu. Obiwandiikire mu maaso gaabwe babeere beesigwa okukuuma ebiragiro byamu.

12“Etteeka lya yeekaalu lye lino: Ekifo kyonna ekyetoolodde ku ntikko eyʼolusozi kinaabeeranga kitukuvu nnyo. Era eryo lye tteeka erya yeekaalu.

13“Bino bye bipimo byʼekyoto: Entobo yaakyo eriba okukka sentimita amakumi ataano mu munaana nʼobugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, nʼomugo gwakyo ku kamwa kaakyo okwetooloola guliba gwa sentimita amakumi abiri mu bbiri. Obugulumivu bwʼekyoto buliba:

14okuva ku ntobo wansi okutuuka ku mugo ogwa wansi, waliba obugulumivu mita emu ne desimoolo kkumi na mukaaga, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, ate okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene, obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana.

15Entobo eyʼekyoto eriba obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, nʼokuva ku ntobo eyʼekyoto okwambuka waliba amayembe ana.

16Entobo eyʼekyoto eriba ya nsonda nnya, nga zenkanankana, obuwanvu mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga, nʼobugazi mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga.

17Omugo ogwa waggulu guliba gwa nsonda nnya ezenkanankana obuwanvu mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri nʼobugazi mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri, nʼomugo ogugwetooloola guliba obugazi sentimita amakumi abiri mu mwenda, nʼentobo yaagwo eriba sentimita ataano mu munaana okugwetooloola. Amadaala agʼekyoto galitunuulira Ebuvanjuba.”

18Nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti; Bino bye biriba ebiragiro bye munaagobereranga nga muwaayo ebiweebwayo ebyokebwa nʼokumansira omusaayi ku Kyoto, nga kiwedde okuzimbibwa.

19Muliwaayo ente ennume ento ngʼekiweebwayo olwʼekibi eri bakabona Abaleevi abʼennyumba ya Zadooki, abampeereza bwʼayogera Mukama Katonda.

20Oliddira omusaayi ogumu okuva mu nte eyo nʼoguteeka ku mayembe ana agʼekyoto, ne ku nsonda ennya ezʼomugo ogwa waggulu ne ku mugo ogwa kamwa kaakyo okwetooloola, ne mutukuza ekyoto era ne mu kitangirira.

21Muliddira ente ennume eyʼekiweebwayo olwʼekibi, ne mugyokera mu kifo ekyalondebwa ekya yeekaalu ebweru wʼAwatukuvu.

22“Ku lunaku olwokubiri muliwaayo embuzi ennume eteriiko kamogo okuba ekiweebwayo olwʼekibi, nʼekyoto kiritukuzibwa mu ngeri yʼemu nga bwe kyatukuzibwa nʼente ennume.

23Bwe mulimala okukitukuza, muliwaayo akalume kʼente akato, nʼendiga ennume okuva mu kisibo nga teriiko kamogo.

24Mulizireeta mu maaso ga Mukama, bakabona ne bamansira omunnyo ku nnyama yaazo, ne baziwaayo ngʼebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.

25“Mulimala ennaku musanvu nga muwayo embuzi ennume emu buli lunaku ngʼekiweebwayo olwʼekibi. Era muliwaayo nʼente ennume nʼendiga ennume, byombi nga tebiriiko kamogo.

26Balimala ennaku musanvu nga batangirira ekyoto era nga bakitukuza; bwe batyo ne bakiwaayo eri Katonda.

27Oluvannyuma lwʼennaku ezo, okutandika nʼolunaku olwʼomunaana, bakabona baliwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, nʼebiweebwayo byammwe olwʼemirembe ku kyoto. Kale ndibasembeza, bwʼayogera Mukama Katonda.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>