1Awo omusajja nʼankomyawo ku mulyango ogwʼebweru ogwʼAwatukuvu ogutunuulira obuvanjuba; gwali muggale.
2Mukama nʼaŋŋamba nti, “Omulyango guno gwa kusigalanga nga muggale. Teguteekwa kugulwanga newaakubadde omuntu yenna okuguyitangamu. Gwa kusigalanga nga muggale kubanga Mukama, Katonda wa Isirayiri yaguyitamu.
3Omulangira yennyini, ye yekka anaatulanga mu mulyango nʼaliira mu maaso ga Mukama, era nnaayingiranga ngʼayita mu kkubo eryʼekisasi ekyʼomulyango, ne mu kkubo eryo mwʼanaafulumiranga.”
4Awo omusajja nʼankulembera ne tuyita mu kkubo eryʼomulyango ogwʼObukiikakkono nʼantwala mu maaso ga yeekaalu. Ne ntunula ne ndaba ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde yeekaalu ya Mukama, ne nvuunama.
5Mukama nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, tunula weetegereze, owulirize bulungi era osseeyo omwoyo eri buli kye nʼakugamba ku biragiro ebikwata ku nzirukanya ya yeekaalu ya Mukama. Tunula weetegereze bulungi awayingirirwa mu yeekaalu nʼawafulumirwa wonna awʼAwatukuvu.
6Tegeeza ennyumba ya Isirayiri enjeemu nti ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti; ebikolwa byammwe ebyʼemizizo bikome, mmwe ennyumba ya Isirayiri.’
7Ate nʼokwogera ku ebyo ebikolwa byammwe ebyʼemizizo byonna, mukkiriza bannaggwanga, abatali bakomole mu mutima newaakubadde omubiri okuyingira Awatukuvu wange, ne boonoona eyeekaalu yange nga mmwe bwe mumpeerayo emmere, amasavu nʼomusaayi ne mumenya endagaano yange.
8Mu kifo ekyʼokukola ebibagwanira ngʼebintu byange ebitukuvu bwe biri, abalala bannaggwanga be mwakwasa okuvunaanyizibwa empya zange.
9Kale Mukama Katonda kyava ayogera nti, Tewaliba munnaggwanga nʼomu atali mukomole mu mutima newaakubadde omubiri aliyingira mu Watukuvu wange, newaakubadde bannaggwanga ababeera mu Bayisirayiri wakati.”
10“Naye Abaleevi abanvaako, Isirayiri bwe yakyama, ne bagoberera bakatonda abalala, balibonerezebwa.
11Baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balabirira emiryango gya yeekaalu, era ngʼomwo mwe baweerereza; banattiranga abantu ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, era banabaweerezanga.
12Naye kubanga baabaweerereza mu maaso ga bakatonda abalala, ne baleetera ennyumba ya Isirayiri okugwa mu kibi, kyendiva mbalayirira okubabonereza olwʼekibi kyabwe, bwʼayogera Mukama Katonda.
13Tebalinsemberera kumpeereza nga bakabona newaakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, oba ebiweebwayo byange ebitukuvu ennyo; kubanga baakola ebiswaza nʼebyʼekivve.
14Naye ndibalonda okuvunaanyizibwa emirimu gya yeekaalu, nʼebyʼokukola byonna ebiteekwa okukolebwa mu yo.”
15“Naye bakabona Abaleevi ne bazzukulu ba Zadooki, abavunaanyizibwa emirimu mu watukuvu wange nʼobwesigwa, ngʼabaana ba Isirayiri banjeemedde, balisembera okumpi nange ne bampeereza, era be baliyimirira mu maaso gange okuwangayo gye ndi amasavu nʼomusaayi, bwʼayogera Mukama Katonda.
16Abo bokka be banaayingiranga mu watukuvu wange, era be banaasemberanga okumpi nʼemmeeza yange okumpeerezanga, nʼokukuumanga ebyo bye mbalagira.”
17“Bwe banaayingiranga mu miryango egyʼoluggya olwʼomunda banaayambalanga ebyambalo ebya linena; tebateekwa kwambalanga byambalo bya byoya byʼendiga, nga baweerereza mu miryango egyʼoluggya olwʼomunda ne munda wa yeekaalu.
18Baneesibanga ebitambala ku mutwe nga bya linena, nʼengoye ezʼomunda nga za linena. Tebateekwa kwambalanga kintu nʼekimu ekibatuuyanya.
19Bwe banaabanga bafuluma nga balaga mu luggya olwʼebweru eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu bisenge ebyatukuzibwa, ne bambala engoye endala balemenga okutukuza abantu nʼebyambalo byabwe.”
20“Tebateekwa kumwa mitwe gyabwe newaakubadde okuleka enviiri zaabwe okukula ennyo, naye banaazisalangako ne zisigala nga nto.
21Tewabanga kabona nʼomu anywa wayini ngʼayingidde mu luggya olwʼomunda.
22Tebateekeddwa kuwasa ba nnamwandu newaakubadde eyanoba, naye banaawasanga abawala embeerera nga ba lulyo lwa Isirayiri oba nga bannamwandu ba bakabona.
23Banaayigirizanga abantu bange enjawulo wakati wʼekitukuvu nʼekitali kitukuvu, era nga babalaga enjawulo wakati wʼekirongoofu nʼekitali kirongoofu.
24Bwe wanaabangawo enkaayana, bakabona be banaabanga abalamuzi, okusalawo ngʼebiragiro byange bwe biri. Banaakumanga amateeka gange nʼebiragiro byange ku mbaga zange zonna ezaalagirwa, era banaakumanga Ssabbiiti zange nga ntukuvu.”
25“Kabona taasembererenga mulambo aleme okweyonoonyesa, naye kitaawe bwʼanaabanga yʼafudde, oba nnyina, oba mutabani we oba muwala we, oba muganda we, oba mwannyina atafumbirwangako, kale aneeyonoonesanga.
26Oluvannyuma olwʼokwetukuza, anaalindanga ennaku musanvu ziyite.
27Awo ku lunaku lwʼanaalaganga mu luggya olwʼomunda olwa watukuvu okuweereza mu watukuvu, aneweerangayo ekiweebwayo olwʼekibi, bwʼayogera Mukama Katonda.”
28“Nze nnaabanga omugabo gwa bakabona. Temuubawenga mugabo na gumu mu Isirayiri; nze mugabo gwabwe.
29Banaalyanga ebiweebwayo ebyʼobutta, nʼebiweebwayo olwʼekibi, nʼebiweebwayo olwʼomusango, ne buli kintu mu Isirayiri ekiwonge eri Mukama kinaabanga kyabwe.
30Ebisinga obulungi ku bibala byonna ebisooka ebya buli kika nʼebirabo byonna ebyʼomuwendo binaabanga bya bakabona. Munaabawanga obutta bwammwe obwasooka okugoyebwa, omukisa gubeerenga ku nnyumba zammwe.
31Bakabona tebaalyenga kintu na kimu, oba nnyonyi oba nsolo, ebisangiddwa nga bifu olumbe lwabyo nga byataagulwa nsolo.”