Ezeekyeri 45:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1“ ‘Bwe muligabana ensi ngʼomugabo gwammwe, musalangako ekitundu ekya Mukama ku nsi eyo, kyʼekifo ekitukuvu, obuwanvu mayilo munaana, nʼobugazi mayilo mukaaga era ekifo kyonna kinaabanga kitukuvu.

2Ku ttaka eryo kunaasalibwangako ekifo ekyʼAwatukuvu ekyenkana mita ebikumi bibiri mu nkaaga buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi, nʼoluggya okukyetooloola luliba lwa mita amakumi abiri mu mukaaga.

3Mu kifo ekitukuvu olipima ekigera obuwanvu mayilo munaana, nʼobugazi mayilo ssatu, era omwo mwe muliba awatukuvu, Ekifo Ekitukuvu Ennyo.

4Ekyo kye kiriba ekifo ekitukuvu ekya bakabona abaweereza mu watukuvu, era abasemberera Mukama okumuweereza. Kye kiriba ekifo ekyʼennyumba zaabwe nʼekigo ekitukuvu ekyʼAwatukuvu.

5Ekifo ekirala obuwanvu mayilo musanvu nʼobugazi mayilo ssatu kye kiriba ekyʼAbaleevi, abaweereza mu yeekaalu, era baliba nʼebisenge amakumi abiri ebyʼokubeeramu ngʼebyo bye bikola ebibuga byabwe.’

6“ ‘Muteekeddwa okuwa ekibuga obutaka bwakyo: obugazi mayilo emu nʼekitundu, nʼobuwanvu mayilo musanvu okuliraana ekifo ekyʼomugabo omutukuvu, era kiriba kya nnyumba yonna eya Isirayiri.’

7“ ‘Omulangira alifuna ettaka ku nsalo eri wakati wʼomugabo omutukuvu nʼettaka eryʼekibuga, ku luuyi olwʼEbugwanjuba ne ku luuyi olwʼebuvanjuba, mu buwanvu nga buva Ebugwanjuba ne butuuka Ebuvanjuba okuliraana nʼomugabo ogwʼekika ekimu.

8Ettaka eryo lye linaabanga omugabo gwe mu Isirayiri so nʼabalangira tebaajoogenga bantu bange naye balikkiriza ennyumba ya Isirayiri okufuna omugabo mu nsi ngʼebika byabwe bwe biri.’

9“ ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti; Kye mukoze kimala, mmwe abalangira ba Isirayiri! Temukuluusanya abantu bange nʼokubanyigiriza, mutuukirize ebyʼensonga era ebituufu. Temubagobaganya, bwʼayogera Mukama Katonda.

10Munaakozesanga minzaani entuufu okupima ebikalu era nʼebitali bikalu ebiyiika.

11Efa nʼensuwa binaabanga bya kigera kimu, ensuwa ngʼegyamu ekyʼekimu ekyʼekkumi ekyʼekomeri, nʼefa ngʼegyamu ekyʼekimu ekyʼekkumi ekyʼekomeri, ngʼekomeri kye kigera ekikozesebwa.

12Sekeri eriba gera amakumi abiri, era sekeri amakumi abiri nʼogattako sekeri amakumi abiri mu ttaano, nʼoyongerako sekeri kkumi na ttaano, nʼewera maane emu, ekyo kye kiriba ekigera kyammwe.’ ”

13“ ‘Kino kye kirabo ekyʼenjawulo kye muliwaayo: kilo biri nʼobutundu musanvu nʼekitundu ezʼeŋŋaano, ne kilo bbiri nʼobutundu bubiri nʼekitundu eza sayiri.

14Omugabo ogwʼamafuta, ogupimibbwa nʼensuwa, guliba lita bbiri nʼobutundu bubiri.

15Era muliwaayo endiga emu okuva mu kisibo ekimu, buli kisibo nga kirimu endiga ebikumi bibiri, ezirundibwa ku malundiro amagimu aga Isirayiri. Ebyo bye biriba ebiweebwayo ebyʼobutta nʼebiweebwayo ebyokebwa, nʼebiweebwayo olwʼemirembe, okubatangiriranga, bwʼayogera Mukama Katonda.

16Abantu bonna abʼomu nsi banaawangayo ekirabo ekyo eri omulangira mu Isirayiri.

17Omulangira anavunaanyizibwanga okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, nʼebiweebwayo ebyʼobutta, nʼebiweebwayo ebyʼokunywa ku mbaga ezʼemyezi egyakaboneka nʼeza Ssabbiiti, ne ku mbaga zonna ezaalagirwa ezʼennyumba ya Isirayiri; yʼanaagabulanga ebiweebwayo olwʼebibi, nʼebiweebwayo ebyʼobutta, nʼebiweebwayo ebyokebwa, nʼebiweebwayo olwʼemirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isirayiri.’ ”

18“ ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Mu mwezi ogwʼolubereberye ku lunaku olwʼolubereberye mu mwezi, oliddira ente ennume nga nto eteriiko kamogo, nʼogiwaayo okutukuza awatukuvu.

19Kabona anaddiranga ku musaayi ogwʼekiweebwayo olwʼekibi nʼagumansira ku mifuubeeto gyʼenzigi za yeekaalu, ne ku nsonda ennya ezʼekyoto ne ku mifuubeeto egyʼomulyango ogwʼoluggya olwʼomunda.

20Bwe mutyo bwe munaakolanga ku lunaku olwʼomusanvu olwʼomwezi ku lwʼomuntu yenna aliba ayonoonye mu butali bugenderevu nʼoyo aliba ayonoonye olwʼobutamanya; bwe mutyo bwe munaatangiriranga eyeekaalu.’ ”

21“ ‘Mu mwezi ogwʼolubereberye ku lunaku olwʼekkumi nʼennya mukwatenga Okuyitako, era ku mbaga eyo munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu.

22Ku lunaku olwo omulangira alireeta ku lulwe ne ku lwʼabantu bonna abʼomu nsi ente ennume nga nto okuba ekiweebwayo olwʼekibi.

23Buli lunaku mu nnaku omusanvu ezʼembaga, anaawangayo ente ennume nga nto musanvu nʼendiga ennume musanvu nga teziriiko kamogo, okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.

24Anaagabanga nʼekiweebwayo ekyʼobutta, kilo mwenda ku lwa buli nte nto ennume, nʼefa ku lwa buli ndiga ennume, ne lita nnya ezʼamafuta buli efa.’ ”

25“ ‘Mu mwezi ogwʼomusanvu, ku lunaku olwʼekkumi nʼettaano mu mwezi, anaateekwa okugabanga ebiweebwayo olwʼekibi, nʼebiweebwayo ebyokebwa, nʼebiweebwayo ebyʼobutta nʼamafuta okumala ennaku musanvu ezʼembaga.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>