Ezeekyeri 46:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Omulyango ogwʼoluggya olwʼomunda olutunuulira Ebuvanjuba gunaabanga muggale ennaku mukaaga ezikolerwamu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti ne ku lunaku olwʼomwezi ogwakaboneka gunaggulwanga.

2Omulangira anaayingiriranga mu kisasi okuva ebweru, nʼayimirira awali omufuubeeto ogwʼomulyango. Bakabona banaateekateekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa nʼebiweebwayo bye olwʼemirembe. Anaasinzizanga awayingirirwa ku mulyango; nʼoluvannyuma anaafulumanga, naye oluggi teluggalwenga okutuusa akawungeezi.

3Bwe batyo nʼabantu abʼomu nsi bateekwa okusinzizanga ku luggi olwʼomulyango mu maaso ga Mukama ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka.

4Ekiweebwayo ekyokebwa omulangira kyʼanaaleetanga eri Mukama ku lunaku olwa Ssabbiiti kinaabanga abaana bʼendiga ennume mukaaga nga tebaliiko kamogo nʼendiga ennume enkulu emu eteriiko kamogo;

5nʼekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke ekinaaweebwangayo nʼendiga ennume kinaabanga kilo kkumi na mukaaga, nʼekiweebwayo ekyʼobutta ekinaaweebwangayo nʼabaana bʼendiga ennume binaabanga ebirabo, awamu ne lita nnya ezʼamafuta eza buli efa.

6Ku lunaku olwʼomwezi ogwakaboneka anaawangayo ente ennume nga nto eteriiko kamogo, nʼabaana bʼendiga mukaaga nʼendiga ennume nga nkulu, ebitaliiko kamogo;

7era anaawangayo ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke kilo kkumi na mukaaga ku lwʼente ennume, nʼekyʼemmere eyʼempeke nʼendiga ennume emu, nʼabaana bʼendiga nga bye birabo, awamu ne lita nnya ezʼamafuta eza buli efa.

8Awo omulangira bwʼanaayingiranga, anaayitanga mu kisasi kyʼomulyango, era mu kkubo lye limu eryo mwʼanaafulumiranga.”

9“ ‘Abantu abʼomu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama ku mbaga ezaalagirwa, buli anaayingiranga mu mulyango ogwʼObukiikakkono okusinza, anaafulumiranga mu mulyango ogwʼObukiikaddyo; ne buli anaayingiriranga mu mulyango ogwʼObukiikaddyo anaafulumiranga mu mulyango ogwʼObukiikakkono; tewaabenga muntu addirayo mu kkubo eryʼomulyango mwe yayingiridde, naye anaayitangamu buyisi nʼaggukira ku luuyi olwolekera lwe yayingiriddeko.

10Omulangira anaabeeranga wakati mu bo, bwe banaayingiranga, naye anaayingiranga, bwe banaafulumanga, naye anaafulumanga.’ ”

11“ ‘Ku mbaga ne mu biseera ebyalondebwa bino bye binaabanga ebiweebwayo: ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke nga kya kilo kkumi na mukaaga nʼente ennume emu ne kilo kkumi na mukaaga ezʼemmere eyʼempeke nʼendiga ennume emu, awamu nʼabaana bʼendiga ngʼomuntu bwʼanaayinzanga, ngʼokwo kwʼotadde lita nnya ezʼamafuta eza buli efa.

12Awo omulangira bwʼanaateekateekanga ekyo kyʼasiimye ku bubwe nʼakiwaayo eri Mukama, ngʼekiweebwayo ekyokebwa oba ngʼebiweebwayo olwʼemirembe, anaaggulirwangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era nnaawangayo ekiweebwayo kye ekyokebwa oba ekiweebwayo kye olwʼemirembe nga bwʼakola ku lunaku olwa Ssabbiiti. Nʼoluvannyuma ngʼamaze anaafulumanga, omulyango ne guggalwa.’ ”

13“ ‘Munaawangayo omwana gwʼendiga ogwʼomwaka ogumu ogutaliiko kamogo okuba ekiweebwayo eri Mukama buli lunaku; ekyo munaakikolanga buli nkya.

14Munaakiweerangayo nʼekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke buli nkya, ekiri kilo bbiri nʼobutundu musanvu nʼekitundu awamu ne lita ennya ezʼamafuta okunnyikiza obutta obulungi okuwangayo ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke eri Mukama ekya buli lunaku; kinaabanga ekiragiro ekitaliggwaawo.

15Noolwekyo omwana gwʼendiga nʼekiweebwayo ekyʼobutta, nʼamafuta binaaweebwangayo buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekyabulijjo.’ ”

16“ ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti; Omulangira bwʼanaagabiranga omu ku batabani be ekirabo okuva ku byʼomugabo gwe, kinaabanga busika bwa bazzukulu be; era nga bwansikirano.

17Naye omulangira bwʼanaddiranga ekirabo okuva ku byʼomugabo gwe nʼakiwa omu ku baddu be, kinaabanga kikye okutuuka ku mwaka ogwʼeddembe, nʼoluvannyuma kinaddizibwanga omulangira kubanga omugabo gunaabanga gugwe nʼabaana be bokka.

18Omulangira taatwalenga ttaka lyʼabantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaagabiranga abaana be omugabo gwabwe okuva ku butaka bwe, waleme okubaawo omuntu yenna ku bantu bange aggyibwako obutaka bwe.’ ”

19Awo omusajja nʼampisa mu mulyango ku luuyi olwʼomulyango wakati wʼebisenge ebitukuvu ebya bakabona olutunuulira Obukiikakkono, nʼandaga ekifo ku luuyi olusembayo Ebugwanjuba.

20Nʼaŋŋamba nti, “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olwʼomusango nʼekiweebwayo olwʼekibi, era gye banaafumbiranga emigaati egyʼekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke, baleme okubifulumya mu luggya olwʼebweru okutukuza abantu.”

21Nʼoluvannyuma omusajja nʼantwala mu luggya olwʼebweru, nʼannambuza ensonda ennya ezʼoluggya, mu buli nsonda ne ndabamu oluggya olulala.

22Mu nsonda ennya ezʼoluggya mwalimu empya entonotono obuwanvu mita amakumi abiri mu emu nʼobugazi mita kkumi na ttaano ne desimoolo musanvu, era nga za kigera kimu.

23Munda okwetooloola empya mwalimu ebifo ebyʼokuweesezaamu nga mulimu nʼebyoto wansi wʼembu enjuuyi zonna.

24Nʼaŋŋamba nti, “Gano ge mafumbiro abaweereza gye banaafumbiranga sssaddaaka abantu ze banaawangayo mu yeekaalu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>