1Awo omusajja nʼankomyawo ku mulyango ogwa yeekaalu, ne ndaba amazzi nga gava wansi wʼomulyango gwa yeekaalu ku luuyi olwʼebuvanjuba kubanga yeekaalu yali etunudde ku luuyi olwʼebuvanjuba. Amazzi gaali gakulukuta nga gava wansi ku luuyi olwa ddyo olwa yeekaalu, ku luuyi olwʼObukiikaddyo obwʼekyoto.
2Nʼanfulumiza mu mulyango gwʼObukiikakkono, nʼankulembera nʼanneetoolooza ebweru eri oluggi olwʼebweru olutunuulidde Ebuvanjuba, era laba amazzi gaali gakulukuta okuva ku luuyi olwʼObukiikaddyo.
3Awo omusajja eyalina olupimo mu mukono gwe, nʼalaga ku luuyi olwʼebuvanjuba yapima mita ebikumi bina mu ataano, nʼalyoka ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu bukongovvule.
4Nʼapima mita endala ebikumi bina mu ataano, nʼampisa mu mazzi agaali gankoma mu maviivi. Nʼapima mita endala ebikumi bina mu ataano, nʼampisa mu mazzi agaali gankoma mu kiwato.
5Nʼapima mita endala ebikumi bina mu ataano, naye kati amazzi gaali gafuuse mugga gwe nnali sisobola kusomoka kubanga amazzi gaali gatumbidde era nga mangi agawugibwamu obuwugirwa, omugga ogwali gutasoboka kusomokebwa.
6Nʼambuuza nti, “Omwana wʼomuntu, kino okiraba?”
7Awo bwe natuuka eyo, laba ne ndaba ku lubalama lwʼomugga emiti mingi nnyo eruuyi nʼeruuyi wʼomugga.
8Nʼaŋŋamba nti, “Amazzi gano gakulukuta gadda mu nsi ekyʼEbuvanjuba, ne gaserengeta mu ddungu, ne gayingira mu Nnyanja.
9Buli kiramu tekirifa yonna omugga gye guyita, era mulibeeramu ebyennyanja bingi nnyo, kubanga amazzi gano agakulukutirayo gafuula amazzi agʼomu Nnyanja eyʼOmunnyo okuba amalungi, noolwekyo omugga gye guyita, ebintu byonna binaabeeranga biramu.
10Abavubi banaayimiriranga ku lubalama lwagwo okuva mu Engedi okutuuka e Negalayimu; walibeerayo ebifo ebyokwanikamu obutimba. Buli byannyanja biriba mu bika byabyo, era nga bingi nnyo nnyini ngʼebyennyanja ebyʼomu Nnyanja Ennene, ye Meditereeniya.
11Naye ebifo ebyʼettosi nʼebisaalu tebirilongooka, birisigala nga bya munnyo.
12Emiti egyʼebibala ebya buli kika girimera eruuyi nʼeruuyi wʼomugga, nʼebikoola byagyo tebiriwotoka era tegiibulengako bibala. Buli mwezi ginaabeerangako ebibala, kubanga amazzi gaagyo agava mu Watukuvu gagifukirira. Ebibala byagyo biriba mmere, nʼebikoola byagyo biriba ddagala eriwonya.”
13Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Bwe muti bwe munaasala ensalo nga mugabanya ensi mu bika bya Isirayiri ekkumi nʼebibiri, ngʼekika kya Yusufu kiweebwa emigabo ebiri.
14Muligibagabanyizaamu mu bwenkanya, kubanga nagirayirira bajjajjammwe, era ettaka liriba mugabo gwabwe.
15“Ensalo zʼensi eyo ziriba bwe ziti:
16
17
18
19
20
21“Muligabana ensi eno ngʼebika bya Isirayiri bwe biri.
22Muligigabana ngʼomugabo wakati wammwe ne bannaggwanga abali nammwe, abazaalidde abaana mu mmwe. Mulibatwala ngʼabazaaliranwa ba Isirayiri, era baligabana omugabo mu bika bya Isirayiri.
23Era mu buli kika munnaggwanga mwʼanaabeeranga, eyo gye mulimuwa omugabo gwe,” bwʼayogera Mukama Katonda.