Ezeekyeri 48:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1“Gano ge mannya gʼebika: Ku nsalo eyʼObukiikakkono, okuva ku nnyanja nʼokuyita mu kkubo Agekusulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi nʼokutuuka Kazalemaani ekiri ku nsalo yʼe Ddamasiko ku luuyi olwʼObukiikakkono okuliraana Kamasi, okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Ddaani.

2“Nʼokuliraana Ddaani okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba guliba mugabo gwa Aseri.

3“Nʼokuliraana Aseri okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba guliba mugabo gwa Nafutaali.

4“Nʼokuliraana Nafutaali okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba guliba mugabo gwa Manase.

5“Nʼokuliraana Manase okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba guliba mugabo gwa Efulayimu.

6“Nʼokuliraana Efulayimu okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba guliba mugabo gwa Lewubeeni.

7“Nʼokuliraana Lewubeeni okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba guliba mugabo gwa Yuda.

8“Okuliraana Yuda okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba gwe guliba omugabo gwe muligaba ngʼekirabo ekyʼenjawulo. Obugazi guliba mayilo munaana, nʼobuwanvu okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba guliba ekipimo kye kimu, ngʼogumu ku migabo gyʼebika. Mu makkati gʼekitundu ekyo we waliba ekifo kyʼAwatukuvu.

9“Omugabo ogwʼenjawulo gwe muligabira Mukama guliba obuwanvu mayilo munaana nʼobugazi mayilo ssatu.

10Omugabo ogwo ogwawuddwako guliba gwa bakabona era guliba mayilo munaana obuwanvu ku luuyi olwʼebuvanjuba, nʼobugazi mayilo ssatu ku luuyi olwʼObukiikakkono, nʼobugazi mayilo ssatu ku luuyi olwʼebugwanjuba nʼobuwanvu mayilo munaana ku luuyi olwʼObukiikaddyo. Mu makkati gʼekitundu ekyo we waliba ekifo kyʼAwatukuvu wa Mukama.

11Ekifo ekyo kiriba kya bakabona abaatukuzibwa bazzukulu ba Zadooki, abaamperezanga nʼobwesigwa ne batawaba ngʼabaana ba Isirayiri bwe baakola, era ngʼAbaleevi abalala bwe banvaako.

12Kiriba kirabo kyabwe ekyʼenjawulo ekiggiddwa ku mugabo ogwawuddwa ku nsi, ekifo ekitukuvu ennyo okuliraana ekitundu kyʼAbaleevi.

13“Okuliraana ekitundu ekya bakabona, Abaleevi balifuna omugabo, obuwanvu mayilo munaana nʼobugazi mayilo ssatu. Obuwanvu bwonna buliba mayilo munaana nʼobugazi mayilo ssatu.

14Tebateekwa kukitunda newaakubadde okukiwaanyisa; wadde okuggyamu ebibala ebisooka ebyʼomu nsi kubanga kitukuvu eri Mukama.

15“Ekitundu ekirifikkawo ekiweza obuwanvu mayilo munaana nʼobugazi mayilo emu kiriba kifo kyabulijjo ekyʼekibuga, okuzimbamu ennyumba. Ekibuga kiriba wakati wakyo,

16era ebipimo byakyo biriba ku luuyi olwʼObukiikakkono mayilo emu nʼekitundu ne ku luuyi olwʼObukiikaddyo mayilo emu nʼekitundu, ne ku luuyi olwʼebuvanjuba mayilo emu nʼekitundu, ne ku luuyi olwʼebugwanjuba mayilo emu nʼekitundu.

17Ekifo ekiri ebbali wʼekibuga kiriba nʼebipimo byakyo; ku luuyi olwʼObukiikakkono mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olwʼObukiikaddyo mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olwʼebuvanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olwʼebugwanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga.

18Ekitundu ekirifikkawo okuliraana omugabo omutukuvu, kiriba obuwanvu mayilo ssatu ku luuyi olwʼebuvanjuba ne mayilo ssatu ku luuyi olwʼebugwanjuba, nʼebibala byamu bye biriba emmere yʼabakola mu kibuga.

19Abakola mu kibuga baliva mu bika byonna ebya Isirayiri.

20Ekifo kyonna awamu kiriba kyenkana obuwanvu nʼobugazi ze mayilo munaana buli luuyi. Ekyo kye kiriba ekirabo ekyʼenjawulo ekyʼomugabo omutukuvu, awamu nʼettaka lyʼekibuga.

21“Ekitundu ekirifikkawo ku njuyi zombi ezʼomugabo omutukuvu nʼettaka lyʼekibuga biriba bya mulangira. Okugenda mu Buvanjuba ekimu kiriba mayilo munaana ezʼomugabo omutukuvu okutuuka ku nsalo eyʼEbuvanjuba, nʼekirala okudda mu Bugwanjuba kiriba mayilo munaana okutuuka ku nsalo eyʼEbugwanjuba. Ebifo ebyo byombi okuliraana emigabo egyʼebika biriba bya mulangira. Omugabo omutukuvu, awamu nʼAwatukuvu wa yeekaalu, biriba wakati wakyo.

22Ekitundu kyʼAbaleevi nʼettaka lyʼekibuga biriba wakati mu kitundu kyʼomulangira. Ekifo kyʼomulangira kiriba wakati wʼensalo ya Yuda nʼensalo ya Benyamini.

23“Nʼebika ebirala birigabana bwe biti: Okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Benyamini.

24“Nʼokuliraana ensalo ya Benyamini okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba, guliba mugabo gwa Simyoni.

25“Nʼokuliraana ensalo ya Simyoni okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba, guliba mugabo gwa Isakaali.

26“Nʼokuliraana ensalo ya Isakaali okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba, guliba mugabo gwa Zebbulooni.

27“Nʼokuliraana ensalo ya Zebbulooni okuva ku luuyi olwʼebuvanjuba okutuuka ku luuyi olwʼebugwanjuba, guliba mugabo gwa Gaadi.

28“Nʼokuliraana ensalo ya Gaadi ku luuyi olwʼObukiikaddyo, ensalo eriba kyenkanyi okuva ku Tamali nʼetuuka ku mazzi agʼe Meribasukadeesi, nʼokutuukira ddala ku Nnyanja Ennene, ye Meditereniyaani.

29“Obwo bwe butaka bwʼoligabanya ngʼomugabo mu bika bya Isirayiri, era egyo gye giriba emigabo gyabwe,” bwʼayogera Mukama Katonda.

30“Gino gye giriba emiryango egyʼekibuga egifulumirwamu: Okuva ku luuyi olwʼObukiikakkono, obuli mayilo emu nʼekitundu obuwanvu,

31emiryango girituumibwa ngʼebika bya Isirayiri bwe biri. Era emiryango egyʼoluuyi olwo giriba esatu, omulyango ogwa Lewubeeni, nʼomulyango ogwa Yuda nʼomulyango gwa Leevi.

32“Ne ku luuyi olwʼebuvanjuba obuli mayilo emu nʼekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Yusufu, nʼomulyango ogwa Benyamini, nʼomulyango ogwa Ddaani.

33“Ne ku luuyi olwʼObukiikaddyo obuli mayilo emu nʼekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Simyoni, nʼomulyango ogwa Isakaali, nʼomulyango ogwa Zebbulooni.

34“Ne ku luuyi olwʼObugwanjuba obuli mayilo emu nʼekitundu obuwanvu, emiryango giriba esatu: omulyango ogwa Gaadi, nʼomulyango ogwa Aseri, nʼomulyango ogwa Nafutaali.”

35“Okwetooloola ekibuga waliba mayilo mukaaga obuwanvu, nʼerinnya lyʼekibuga okuva mu kiseera ekyo liriba: MUKAMA ALI OMWO.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>