Ezeekyeri 6:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nti,

2“Omwana wʼomuntu tunuulira ensozi za Isirayiri,

3oyogere nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda eri ensozi nʼobusozi, eri emigga nʼebiwonvu, nti, Nze kennyini ndibaleetako ekitala ne nzikiriza nʼebifo byammwe ebigulumivu.

4Ebyoto byammwe birimenyebwamenyebwa, nʼebyoto kwe mwotereza obubaane birimenyebwamenyebwa; ndittira abantu bo mu maaso ga bakatonda bo abalala.

5Ndiddira emirambo gyʼAbayisirayiri ne ngiteeka mu maaso ga bakatonda baabwe abalala, era ndisaasaanya amagumba go okwetooloola ebyoto byo.

6Buli gye mubeera ebibuga biriyonoonebwa nʼebifo byammwe ebigulumivu birisaanyizibwawo, nʼebyoto byammwe ne byonoonebwa ne bimenyebwamenyebwa, ne bakatonda bammwe ne bamenyebwamenyebwa ne boonoonebwa, era nʼebyoto byammwe ebyokerwako obubaane ne bimenyebwa ne bye mukoze ne bisaanawo.

7Abantu bo balittibwa wakati mu mmwe, ne mulyoka mumanya nga nze Mukama.

8“ ‘Naye ndirekawo abamu ku mmwe, era muliba bakaawonawo nga musaasaanye mu nsi ne mu mawanga.

9Era eyo mu mawanga bakaawonawo gye mwatwalibwa mu busibe, mulinzijukira, kubanga nnumwa olwʼemitima gyabwe eginjeemedde egyegomba era egisinza bakatonda abalala. Balikyama olwʼobutali butuukirivu bwabwe, nʼolwebikolwa byabwe byonna ebigwenyufu.

10Era balimanya nga nze Mukama; saabatiisiza bwereere okubaleetako akabi kano.

11“ ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, Kuba mu ngalo zo, osambagale era okaabire waggulu oyogere nti, “Woowe”; olwʼebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu nʼebintu byonna ebyʼekkive ebyʼennyumba ya Isirayiri; abamu baligwa nʼekitala, abalala balifa enjala, nʼabalala balifa kawumpuli.

12Ali ewala alifa kawumpuli, nʼoyo ali okumpi aligwa nʼekitala, nʼoyo alisigalawo alifa enjala. Bwe ntyo bwe ndiraga obusungu bwange.

13Mulitegeera nga nze Mukama, abantu baabwe bwe balisangibwa nga bafiiridde wakati mu bakatonda baabwe be baakola nʼemikono okwetooloola ebyoto byabwe, ne ku buli lusozi oluwanvu, ne ku buli ntikko ezʼensozi, ne buli wansi wʼomuti oguliko ebikoola, nʼomwera oguliko ebikoola, ebifo gye baali nga bootereza obubaane eri bakatonda baabwe be baakola nʼemikono.

14Era ndigolola omukono gwange ku bo, ensi ne yonooneka ne tebalamu kintu okuva ku ddungu okutuuka e Dibula, ne buli gye babeera. Olwo balimanya nga nze Mukama.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>