Ezeekyeri 7:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti,

2“Omwana wʼomuntu, bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda eri ensi ya Isirayiri nti Enkomerero! Enkomerero etuuse ku nsonda ennya ezʼensi.

3Enkomerero ebatuuseeko era ndibasumulurira obusungu bwange, ne mbasalira omusango ngʼengeri zammwe bwe ziri era ndibabonereza ngʼebikolwa byammwe ebyʼekkive byonna bwe biri.

4Siribatunuulira na liiso lya kisa newaakubadde okubasonyiwa; naye ndibasasula ngʼengeri zammwe, nʼebikolwa byammwe ebyʼekkive bwe biri mu mmwe, mumanye nga nze Mukama.

5“Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, okuzikirizibwa okutali kumu kujja.

6Enkomerero etuuse, enkomerero etuuse! Ebagolokokeddeko era ejja.

7Akabi kabajjidde, mmwe abatuuze. Ekiseera kituuse era olunaku luli kumpi, olunaku olwʼokutya so si olwʼokujaguliriza ku nsozi.

8Nnaatera okubalaga obusungu bwange, nʼekiruyi kyange. Ndibasalira omusango ngʼenneeyisa yammwe bwʼeri, ne mbasasula ngʼebikolwa byammwe byonna ebyʼekkive bwe biri.

9Siribatunuulira na liiso lya kisa newaakubadde okubasonyiwa, ndibabonereza ngʼengeri zammwe bwe ziri nʼebikolwa byammwe ebyʼekkive bwe biri mu mmwe, mulyoke mumanye nga nze Mukama, era mbonereza.

10“Olunaku luuluno lutuuse. Akabi kabajjidde, obutali bwenkanya bumeze, nʼamalala gamulisizza.

11Obusungu bweyongedde ne bufuuka omuggo okubonereza obutali butuukirivu; tewaliba nʼomu alisigalawo; tewaliba nʼomu ku kibiina newaakubadde ku byobugagga byabwe, newaakubadde ekyʼomuwendo.

12Ekiseera kituuse, nʼolunaku lutuuse. Agula aleme okusanyukirira, nʼoyo atunda aleme okunakuwala, kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna.

13Atunda taliddizibwa ttaka lye yatunda, bombi bwe banaaba nga bakyali balamu, kubanga okubonerezebwa kuli ku kibiina kyonna so tekukyajulukuka. Era olwʼebibi byabwe tewaliba nʼomu aliwonya obulamu bwe.

14Ne bwe balifuuwa ekkondeere ne bateekateeka buli kimu, tewaliba nʼomu aligenda mu lutalo, kubanga obusungu bwange bubuubuukidde ku kibiina kyonna.

15“Ebweru waliyo ekitala ne munda waliyo kawumpuli nʼenjala. Abali ku ttale balifa kitala, abali mu kibuga balimalibwawo kawumpuli nʼenjala.

16Nʼabo abaliwonawo baliddukira mu nsozi, nga bakaaba nga bukaamukuukulu obwʼomu biwonvu, buli omu olwʼebibi bye.

17Emikono gyonna giriremala, nʼamaviivi gonna galiba ngʼamazzi.

18Balyambala ebibukutu, ne bakwatibwa ensisi; baliswala, nʼemitwe gyabwe girimwebwa.

19Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubalokola ku lunaku lwa Mukama olwʼobusungu bwe, era tebalikkuta newaakubadde okukkusibwa. Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.

20Ebintu byabwe ebyʼomuwendo byabaleetera amalala, era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala abʼemizizo nʼebintu ebirala ebyʼekivve, era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gye bali.

21Ndibiwaayo byonna eri bannamawanga nʼeri abakozi bʼebibi abʼomu nsi okuba omunyago era balibyonoona.

22Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira, era balyonoona ekifo kyange ekyʼomuwendo; nʼabanyazi balikiyingiramu ne bakyonoona.

23“Muteeketeeke enjegere kubanga ensi ejjudde omusango ogwʼokuyiwa omusaayi, nʼekibuga kijjudde effujjo.

24Ndireeta eggwanga erisingirayo ddala okuba ebbi, ne batwala ennyumba zaabwe, era ndikomya amalala gaabwe nʼebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.

25Entiisa bwʼerijja, balinoonya emirembe naye tebaligifuna.

26Akabi kalyeyongera ku kabi, ne ŋŋambo ne zeeyongera; balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi, naye okuyigirizibwa kwa kabona kulibula nʼokubuulirira kwʼabakadde kulyerabirwa.

27Kabaka alikaaba, nʼomulangira alijjula obuyinike, nʼemikono gyʼabantu mu ggwanga girikankana olwʼentiisa. Ndibakolako ngʼenneeyisa yaabwe bwʼeri, era ndibasalira omusango ngʼensala yaabwe bwʼeri, balyoke bamanye nga nze Mukama.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>