Ezeekyeri 8:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Awo mu mwaka ogwʼomukaaga, mu mwezi ogwʼomukaaga ku lunaku olwokutaano, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange nʼabakadde ba Yuda, nga batudde mu maaso gange omukono gwa Mukama Katonda ne gunzikako.

2Bwe natunula ne ndaba ekifaananyi kyʼomuntu, okuva mu kiwato kye okukka wansi ngali ngʼomuliro, nʼokuva mu kiwato kye okwambuka ngʼayakaayakana ngʼekyuma ekyaka omuliro.

3Nʼagolola ekyalabika ngʼomukono nʼakwata enviiri zange. Omwoyo nʼansitula wakati wʼensi nʼeggulu mu kwolesebwa kwa Katonda nʼantwala e Yerusaalemi ku mulyango ogwʼoluggi olutunuulira Obukiikakkono olwʼoluggya olwʼomunda ogutunuulira Obukiikakkono, awaali bakatonda abalala abaleetera Katonda obuggya.

4Era awo we waali ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri, ngʼokwolesebwa kwe nalaba mu kyererezi.

5Awo nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, yimusa amaaso eri Obukiikakkono.” Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba mu mulyango ogwʼObukiikakkono ogwʼoluggi lwʼekyoto ne ndaba ekifaananyi ekyʼobuggya.

6Nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, olaba kye bakola, ebigambo ebyʼekivve ennyumba ya Isirayiri byekolera wano, nga bangobera wala nʼekifo kyange ekitukuvu? Naye oliraba ebintu ebyʼekivve ebisingawo.”

7Awo nʼantwala ku mulyango ogwʼoluggya. Ne ndaba ekituli mu bbugwe.

8Nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, kaakano sima mu bbugwe”. Ne nsima mu bbugwe, ne ndabayo omulyango.

9Awo nʼaŋŋamba nti, “Yingira olabe ebikolwa ebitali bya butuukirivu nʼebyʼekivve bye bakola eyo.”

10Ne nnyingira ne ndaba, era ku bisenge ne ndabako ebyekulula ebya buli kika kyonna, nʼensolo ezʼemizizo ne bakatonda abalala bonna abʼennyumba ya Isirayiri.

11Abakadde nsanvu abʼennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, ne Yaazaniya mutabani wa Safani, ngʼayimiridde wakati mu bo. Buli omu ku bo yali akute ekyoterezo mu mukono gwe, ngʼekire ekyʼakaloosa akʼobubaane kinyooka okuva mu byo.

12Nʼaŋŋamba nti, “Omwana wʼomuntu, olabye abakadde bʼennyumba ya Isirayiri bye bakola mu nzikiza, buli omu ngʼali mu ssabo lya katonda we? Bagamba nti, ‘Mukama tatulaba, era Mukama yeerabira ensi.’ ”

13Nʼaddamu nʼaŋŋamba nti, “Oliraba ebintu ebyʼekivve ebisinga nʼebyo.”

14Awo nʼantwala ku mulyango ogwʼoluggi olwʼObukiikakkono ogwʼennyumba ya Mukama, ne ndaba abakazi abatudde eyo nga bakaabira katonda waabwe Tammuzi.

15Nʼaŋŋamba nti, “Ebyo obirabye, omwana wʼomuntu? Oliraba ebyʼekivve ebisinga nʼebyo.”

16Awo nʼantwala mu luggya olwʼomunda olwʼennyumba ya Mukama, awo ku mulyango gwa yeekaalu ya Mukama wakati wʼekisasi nʼekyoto, nga waliwo abasajja ngʼamakumi abiri mu bataano, nga bakubye amabega eyeekaalu ya Mukama, nga batunudde Ebuvanjuba, ne bagwa bugazi nga basinza enjuba nga batunudde Ebuvanjuba.

17Nʼambuuza nti, “Ebyo obirabye, omwana wʼomuntu? Kintu kitono ennyumba ya Yuda okukola ebintu ebyʼekivve bye baakola wano? Kibagwanira okujjuza ensi nʼebikolwa ebyʼobukambwe ne bongeranga okunyiiza? Laba basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe!

18Kyendiva mbabonereza nʼobusungu; siribakwatirwa kisa newaakubadde okubasonyiwa, era ne bwe balindekaanira siribawuliriza.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>