Ezeekyeri 9:1-11 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ne mpulira ngʼakoowoola nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti, “Muleete abakuumi bʼekibuga wano, buli omu nʼekyokulwanyisa kye mu mukono gwe.”

2Ne ndaba abasajja mukaaga nga bava ku luuyi olwʼomulyango ogwʼengulu, ogutunudde mu bukiikakkono, buli omu ngʼakutte ekissi mu ngalo ze; nga ku bo kuliko omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali gʼekyoto ekyʼekikomo.

3Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri ne kiva mu bakerubi mwe kyali, ne kidda ku mulyango gwa yeekaalu. Mukama nʼayita omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu,

4nʼamugamba nti, “Genda ngʼoyitaayita mu kibuga kyonna ekya Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi byʼabeesisiwadde era abanakuwadde olwʼebintu byonna ebyʼekivve ebikolebwa wakati mu kyo.”

5Abalala nʼabagamba, nga mpuliriza nti, “Mumugoberere muyiteeyite mu kibuga mutte, nga temusaasira newaakubadde okulaga ekisa.

6Mutte abasajja abakadde, abavubuka nʼabawala, nʼabakyala nʼabaana abato, naye temukwata ku aliko akabonero. Mutandikire mu watukuvu wange.” Ne batandikira ku bakadde abaali mu maaso ga yeekaalu.

7Nʼabagamba nti, “Eyeekaalu mugyonoone, mujjuze empya abattibwa, mugende!” Ne bafuluma ne bagenda nga batta mu kibuga kyonna.

8Bwe baali nga batta ne bandeka awo nzekka, ne nvuunama wansi, ne nkaaba nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olizikiriza ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo kyonna mu busungu bwʼofuse ku Yerusaalemi?”

9Nʼanziramu nti, “Ekibi kyʼennyumba ya Isirayiri ne Yuda kisusse nnyo; ensi ejjudde okuyiwa omusaayi, nʼekibuga kijjudde obutali bwenkanya. Boogera nti ‘Mukama yayabulira ensi, era Mukama takyalaba.’

10Kyendiva nema okubatunuulira nʼeriiso erisaasira newaakubadde okubalaga ekisa, naye ndileeta akabi ku mitwe gyabwe olwʼebikolwa byabwe ebibi.”

11Awo omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu nʼakomyawo obubaka eri Mukama nti, “Nkoze nga bwe walagidde.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>