1
2
3Omuntu yenna mu mmwe abantu be, Katonda we abeere naye, agende e Yerusaalemi mu Yuda addaabirize yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri, Katonda ali mu Yerusaalemi.
4Na buli Muyisirayiri eyasigalawo gyʼali, abantu abo baabeeramu, banaamuwa ffeeza ne zaabu, nʼebintu nʼebisolo ebirundibwa, obutasaako ebiweebwayo bye bawaayo ku bwabwe ebya yeekaalu ya Katonda eri mu Yerusaalemi.’ ”
5Awo abakulu bʼennyumba za Yuda ne Benyamini, ne bakabona, nʼAbaleevi, na buli muntu Katonda gwe yakubiriza, ne beeteekateeka okwambuka okugenda okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama eri mu Yerusaalemi
6Baliraanwa baabwe bonna ne babawa ebintu ebya ffeeza ne zaabu, nʼebintu ebirala nʼebisolo ebirundibwa, nʼebirabo ebyʼomuwendo omungi, okwo nga kwe kuli ebiweebwayo bye baawaayo nga beeyagalidde.
7Ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, Nebukadduneeza bye yanyaga mu Yerusaalemi nʼabiteeka mu ssabo lya bakatonda be, Kabaka Kuulo, nʼabiggyayo.
8Kuulo kabaka wʼe Buperusi nʼabikwasa Misuledasi omuwanika, eyabikwasa Sesubazzali omulangira wa Yuda.
9Guno gwe gwali omuwendo gwabyo:
10
11Byonna awamu ebintu ebya zaabu ne ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina (5,400). Sesubazzali nʼagenda nabyo byonna e Yerusaalemi okuva e Babulooni mu buwaŋŋanguse.