Ezera 10:1-44 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Ezera bwe yali ngʼasaba, ngʼayatula ebibi mu lwatu, ngʼakaaba, era ngʼavunnamye mu maaso gʼennyumba ya Katonda, ekibiina ekinene ekyʼAbayisirayiri, abasajja, nʼabakyala, nʼabaana ne bakuŋŋaana gyʼali, nabo nga bakaaba nnyo nnyini.

2Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri, omu ku bazzukulu ba Eramu nʼagamba Ezera nti, “Tetubadde beesigwa eri Katonda waffe, kubanga twawasa abakazi bannaggwanga abʼoku mawanga agatwetoolodde. Naye newaakubadde nga twakola bwe tutyo, wakyaliwo essuubi eri Isirayiri.

3Noolwekyo tukole endagaano ne Katonda waffe tuve ku bakazi abo bonna nʼabaana be twabazaalamu, ngʼokuteesa kwa mukama wange nʼabo abatya ebiragiro bya Katonda waffe bwe kuli, era kikolebwe ngʼetteeka bwe litulagira.

4Golokoka kubanga obuvunaanyizibwa obwo buli mu mukono gwo era tuli beeteefuteefu okukuwagira, noolwekyo guma omwoyo okikole.”

5Awo Ezera nʼagolokoka nʼalayiza bakabona abakulu nʼAbaleevi ne Isirayiri yenna okukola nga bwe kyateesebwa. Ne balayira.

6Ezera nʼagolokoka nʼava mu maaso gʼennyumba ya Katonda nʼagenda mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu, naye nʼatalya mmere newaakubadde okunywa amazzi ngʼakyanakuwalidde obutali bwesigwa bwʼabaawaŋŋangusibwa.

7Awo ekirango ne kiyisibwa mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi nti abawaŋŋangusibwa abaakomawo bakuŋŋaanire mu Yerusaalemi.

8Era ne kigambibwa nti omuntu yenna aliba tazze mu nnaku ssatu, alifiirwa ebintu bye byonna, ate nʼagobebwa ne mu kuŋŋaaniro lya baawaŋŋangusibwa.

9Mu nnaku ssatu, abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi. Awo ku lunaku olwʼamakumi abiri olwʼomwezi ogwʼomwenda abantu bonna ne batuula mu luggya olugazi mu maaso gʼennyumba ya Katonda nga banakuwavu olwʼensonga eyo ate era nʼolwʼenkuba eyatonnya.

10Awo Ezera kabona nʼayimirira nʼabagamba nti, “Mwayonoona bwe mwawasa abakazi bannamawanga ne mwongera ku musango gwa Isirayiri.

11Kaakano mwatule ebibi byammwe eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe, mukole ebyo byʼasiima. Mweyawule ku mawanga agabeetoolodde era muleke nʼabakazi bannamawanga.”

12Awo ekibiina kyonna ne kiddamu nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti, “Oli mutuufu, tuteekwa okukola nga bwʼogambye.

13Naye abantu bangi, era nʼekiseera kya nkuba, tetuyinza kuyimirira bweru. Nʼensonga eyookubiri, omulimu guno teguyinza kukolebwa mu lunaku lumu oba mu nnaku bbiri, kubanga twonoonye nnyo nnyini mu kigambo ekyo.

14Abakulu baffe beeyimirire olukuŋŋaana lwonna, na buli muntu awamu nʼabakadde nʼabalamuzi aba buli kibuga mu bibuga byaffe eyawasa omukazi omunnaggwanga, ajje mu kiseera ekiragaane alongoose ensonga eyo, okutuusa obusungu bwa Katonda waffe lwe bulituvaako olwʼekigambo ekyo.”

15Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yozeya mutabani wa Tikuva, nga bawagirwa Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi be bokka abawakanya ekiteeso ekyo.

16Awo abaava mu buwaŋŋanguse ne bakola ngʼekiteeso bwe kyali. Ezera kabona nʼabaalondebwa ku bakulu bʼennyumba, omu mu buli nnyumba ne baawulibwa mu mannya gaabwe. Ku lunaku olwʼolubereberye olwʼomwezi ogwʼekkumi ne batuula okunoonyereza ku bigambo ebyo;

17ku lunaku olwʼolubereberye olwʼomwezi ogwʼolubereberye ne bamaliriza ensonga eyo eyʼabasajja bonna abaali bawasizza abakazi abannamawanga.

18Mu lulyo olwa bakabona, abaali bawasizza abakazi bannamawanga baali: Maaseya, ne Eryeza ne Yalibu ne Gedaliya bazzukulu ba Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda be.

19Ne bamalirira okulekayo bakazi baabwe abo, nʼomutango gwe baawaayo olwʼomusango gwali ndiga nnume.

19

20Ku bazzukulu ba Immeri:

20Kanani ne Zebadiya.

21Ku bazzukulu ba Kalimu:

21Maaseya, ne Eriya, ne Semaaya, ne Yekyeri ne Uzziya.

22Ku bazzukulu ba Pasukuli:

22Eriwenayi, ne Maaseya, ne Isimaeri, ne Nesaneri, ne Yozabadi ne Erasa.

23Ku Baleevi: Yozabadi, ne Simeeyi,

23ne Keraya (era ye Kerita), ne Pesakiya, ne Yuda ne Eryeza.

24Ku bayimbi: Sallumu, ne Teremu ne Uli.

24Eriyasibu, ne ku baakuumanga wankaaki:

25Mu Bayisirayiri abalala: ne Eriyazaali, ne Malukiya ne Benaya.

25Ku bazzukulu ba Palosi: Lamiya, ne Izziya, ne Malukiya, ne Miyamini,

26Ku bazzukulu ba Eramu: Mattaniya, ne Zekkaliya, ne Yekyeri,

26ne Abudi, ne Yeremoosi ne Eriya.

27Ku bazzukulu ba Zattu: Eriwenayi, ne Eriyasibu, ne Mattaniya,

27ne Yeremoosi, ne Zabadi, ne Aziza.

28Ku bazzukulu ba Bebayi: Yekokanani, ne Kananiya,

28ne Zabbayi ne Asulaayi.

29Ku bazzukulu ba Bani: Mesullamu, ne Malluki, ne Adaya,

29ne Yasubu, ne Seyaali ne Yeremoosi.

30Ku bazzukulu ba Pakasumowaabu: Aduna, ne Kerali, ne Benaya, ne Maaseya,

30ne Mattaniya, ne Bezaleeri, ne Binnuyi ne Manase.

31Ku bazzukulu ba Kalimu: Eryeza, ne Isusiya, ne Malukiya,

31ne Semaaya, ne Simyoni,

32ne Benyamini, ne Malluki, ne Semaliya.

32

33Ku bazzukulu ba Kasumu: Mattenayi, ne Mattata, ne Zabadi,

33ne Erifereti, ne Yeremayi, ne Manase, ne Simeeyi.

34Ku bazzukulu ba Baani: Maadayi, ne Amulaamu,

34ne Uweri,

35ne Benaya, ne Bedeya, ne Keruki,

36ne Vaniya, ne Meremoosi, ne Eriyasibu,

37ne Mattaniya, ne Mattenayi, ne Yaasu,

37

38ne Bani, ne Binnuyi, ne Simeeyi,

39ne Seremiya, ne Nasani, ne Adaya,

40ne Makunadebayi, ne Sasayi, ne Salaayi,

41ne Azaleri, ne Seremiya, ne Semaliya,

42ne Sallumu, ne Amaliya ne Yusufu.

42

43Ku bazzukulu ba Nebo: Yeyeri, ne Mattisiya, ne Zabadi,

43ne Zebina, ne Iddo, ne Yoweeri ne Benaya.

44Abo bonna baali bawasizza abakazi bannamawanga, nʼabamu ku bo nga babazaddemu abaana.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.