1Bano be bantu abʼomu ssaza, abanyagibwa Kabaka Nebukadduneeza owʼe Babulooni ne batwalibwa e Babulooni, abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda buli muntu mu kibuga kyʼewaabwe.
2Abaabakulembera baali Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya[3], ne Seraya, ne Leeraya, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misupaali, ne Biguvaayi, ne Lekumu, ne Baana.
2Omuwendo gwʼabantu ba Isirayiri gwali:
3bazzukulu ba Palosi — enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172),
4bazzukulu ba Sefatiya — bisatu mu nsavu mu babiri (372),
5bazzukulu ba Ala — lusanvu mu nsavu mu bataano (775),
6bazzukulu ba Pakasumowaabu abʼolunnyiriri olwa Yesuwa ne Yowaabu — enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri (2,812),
7bazzukulu ba Eramu — lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
8bazzukulu ba Zattu — lwenda mu ana mu bataano (945),
9bazzukulu ba Zakkayi — lusanvu mu nkaaga (760),
10bazzukulu ba Bani — lukaaga mu ana mu babiri (642),
11bazzukulu ba Bebayi — lukaaga mu abiri mu basatu (623),
12bazzukulu ba Azugaadi — lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri (1,222),
13bazzukulu ba Adonikamu — lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666),
14bazzukulu ba Biguvaayi — enkumi bbiri mu amakumi ataano mu mukaaga (2,056),
15bazzukulu ba Adini — ebikumi bina mu ataano mu bana (454),
16bazzukulu ba Ateri ate era bazzukulu ba Keezeekiya — kyenda mu munaana (98),
17bazzukulu ba Bezayi — ebikumi bisatu mu amakumi abiri mu basatu (323),
18bazzukulu ba Yola — kikumi mu kumi na babiri (112),
19bazzukulu ba Kasumu — ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),
20bazzukulu ba Gibbali — kyenda mu bataano (95),
21abazzukulu abʼe Besirekemu — kikumi mu abiri mu basatu (123),
22abazzukulu abʼe Netofa — amakumi ataano mu mukaaga (56),
23abazzukulu abʼe Anasosi — kikumi abiri mu munaana (128),
24abazzukulu abʼe Azumavesi — amakumi ana mu babiri (42),
25ⓒ abazzukulu abʼe Kiriaswalimu, nʼe Kefira nʼe Beerosi — lusanvu mu ana mu basatu (743),
26abazzukulu abʼe Laama nʼe Geba — lukaaga mu abiri mu omu (621),
27abazzukulu abʼe Mikumasi — kikumi mu abiri mu babiri (122),
28abazzukulu abʼe Beseri nʼe Ayi — ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),
29abazzukulu abʼe Nebo — amakumi ataano mu babiri (52),
30abazzukulu abʼe Magubisi — kikumi ataano mu mukaaga (156),
31abazzukulu abʼe Eramu omulala — lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
32abazzukulu abʼe Kalimu — ebikumi bisatu mu amakumi abiri (320),
33abazzukulu abʼe Loodi, nʼe Kadidi, nʼe Ono — lusanvu mu abiri mu bataano (725),
34abazzukulu abʼe Yeriko — ebikumi bisatu mu amakumi ana mu bataano (345),
35nʼabazzukulu abʼe Sena — enkumi ssatu mu lukaaga mu amakumi asatu (3,630),
36Bano be bakabona: — bazzukulu ba Yedaya abʼennyumba ya Yesuwa — lwenda mu nsavu mu basatu (973), —
37bazzukulu ba Immeri — lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052),
37—
38bazzukulu ba Pasukuli — lukumi mu bibiri mu amakumi ana mu musanvu (1,247),
38—
39bazzukulu ba Kalimu — lukumi mu kumi na musanvu (1,017).
40Ne bano be Baleevi: bazzukulu ba Yesuwa ne Kadumyeri abʼolunnyiriri olwa Kadaviya — nsavu mu bana (74).
41Bano be bayimbi: bazzukulu ba Asafu[4] — kikumi mu amakumi abiri mu munaana (128).
42Bano be baakuumanga[5] enzigi za yeekaalu: — bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi lukumi mu amakumi asatu mu mwenda (139).
43Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano, bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi,
44bazzukulu ba Kerosi, bazzukulu ba Siyaka, bazzukulu ba Padoni,
44
45bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Akkubu,
45
46bazzukulu ba Kagabu, bazzukulu ba Samulaayi, bazzukulu ba Kanani,
46
47bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali, bazzukulu ba Leyaya,
47
48bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda, bazzukulu ba Gazzamu,
48
49bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya, bazzukulu ba Besayi,
49
50bazzukulu ba Asuna, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,
50
51bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,
51
52bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,
52
53bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,
53
54bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.
55Bazzukulu bʼabaweereza ba Sulemaani baali: bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Kassoferesi, bazzukulu ba Peruda,
56bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,
56
57bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri,
57bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu ne bazzukulu ba Ami.
58Omuwendo ogwʼabaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu bʼabaweereza ba Sulemaani gwali — ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri (392).
59Ne bano be baava mu bibuga ebyʼe Terumeera, nʼe Terukalusa, nʼe Kerubu, nʼe Yaddani, nʼe Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga nti bava mu nnyumba ya Isirayiri.
60Baali bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda nʼomuwendo gwabwe gwali — lukaaga mu amakumi ataano mu babiri (652).
61Ne mu bakabona mwalimu bazzukulu ba Kabaya, ne bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, nʼatuumibwa erinnya eryo.
62Ate waaliwo abalala abaanoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa naye ne batagalaba, era ne batabalibwa mu bakabona kubanga kyagambibwa nti si balongoofu.
63ⓓ Omukulembeze nʼabalagira baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo, okuggyako nga waliwo kabona alina Ulimu ne Sumimu.
64Bonna awamu baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaga (42,360),
65okwo nga kwʼotadde abaddu nʼabaddu abakazi abaali kasanvu mu bisatu mu amakumi asatu mu musanvu (7,337), nʼabayimbi[6] abasajja nʼabakazi abaali ebikumi bibiri (200).
66Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), nʼennyumbu ebikumi bibiri mu amakumi ana mu ttaano (245),
67nʼeŋŋamira ebikumi bina mu amakumi asatu mu ttaano (435), nʼendogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).
68Awo abakulu bʼennyumba zʼabajjajjaabwe bwe baatuuka ku kifo ennyumba ya Mukama we yali mu Yerusaalemi, ne bawaayo ebiweebwayo nga beeyagalidde, olwʼokuddaabiriza ennyumba ya Katonda.
69Ne bawaayo mu ggwanika ngʼobusobozi bwabwe bwe bwali; ne bawaayo kilo bitaano eza zaabu (500), ne tani ssatu (3), nʼebyambalo bya bakabona kikumi (100) mu ggwanika.
70ⓔ Awo bakabona, nʼAbaleevi, nʼabayimbi, nʼabaakuumanga enzigi za yeekaalu, nʼabakozi ba yeekaalu ne baddayo mu bibuga byabwe, awamu nʼabamu ku bantu abalala, nʼAbayisirayiri abalala bonna ne baddayo mu bibuga byabwe.