Ezera 3:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Omwezi ogwʼomusanvu bwe gwatuuka, Abayisirayiri ne bava mu bibuga gye baali, ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi nga bali bumu.

2 Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne bakabona banne, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri nʼabʼennyumba ye ne batandika okuzimba ekyoto kya Katonda wa Isirayiri, okuweerangako ebiweebwayo ebyokebwa nga bwe kyawandiikibwa, mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda.

3Newaakubadde nga baalina entiisa eyʼabamawanga agaali gabeetoolodde, basooka okuzimba ekyoto ku musingi gwakyo ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bawaayo ebyʼenkya nʼebyʼakawungeezi.

4 Era ngʼetteeka bwe liri, ne bakwata embaga eyʼensiisira ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ngʼomuwendo ogwetaagibwa buli lunaku bwe gwali.

5 Nʼoluvannyuma baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli kiseera, omwezi nga gwa kaboneka ne ku buli mbaga zonna ezaatukuzibwa eza Mukama ezaalagirwa, ate nʼekiweebwayo ekya buli muntu eyawaayo eri Mukama ekiweebwayo awatali kuwalirizibwa.

6Okuva ku lunaku olwʼolubereberye olwʼomwezi ogwʼomusanvu ne batandika okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, newaakubadde ngʼomusingi gwa yeekaalu ya Mukama gwali tegunnazimbibwa.

7Ne bawa abazimbi nʼababazzi ensimbi, ne bawa nʼabʼe Sidoni nʼabʼe Tuulo ebyokulya nʼebyokunywa nʼamafuta, okuleeta emivule okuva mu Lebanooni okugituusa ku nnyanja e Yopa, ngʼekiragiro kya Kuulo kabaka wʼe Buperusi bwe kyali.

8Awo mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri nga batuuse awali yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda baabwe bakabona nʼAbaleevi ne bonna abajja e Yerusaalemi okuva mu buwaŋŋanguse ne batandika omulimu ogwʼokuzimba, era ne beerondamu abaali abʼemyaka amakumi abiri egyʼobukulu, nʼokusingawo, okulabirira omulimu ogwʼokuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.

9Awo Yesuwa ne batabani be ne baganda be, ne Kadumyeri ne batabani be, ne bazzukulu ba Yuda, nga bayambibwako ne batabani ba Kenedadi nʼAbaleevi bonna ne bavunaanyizibwa okulabirira omulimu ogwʼokuddaabiriza ennyumba ya Mukama.

10 Awo abazimbi bwe baamala okuzimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama, bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe ne bavaayo nga bakutte amakondeere, nʼabaleevi, bazzukulu ba Asafu, nga bakutte ebitaasa, ne bayimirira mu bifo byabwe okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isirayiri bwe yateekateeka.

11 Ne bayimba ennyimba ezʼokwebaza nʼokutendereza Mukama nga boogera nti, Abantu bonna ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga batendereza Mukama, kubanga omusingi gwʼennyumba ya Mukama gwali guzimbiddwa.

11“Mulungi, nʼokwagala kwe eri Isirayiri kubeerera emirembe gyonna.”

12Naye bangi ku bakabona nʼAbaleevi abakadde, nʼAbakulu bʼebika, abaalaba yeekaalu eyasooka, ne bakaaba nnyo ngʼamaloboozi gaabwe gawulikika bwe baalaba ngʼomusingi gwa yeekaalu empya guzimbiddwa, newaakubadde ngʼabalala bangi baasanyuka nnyo nga bwe baleekaana;

13nga si kyangu okwawula amaloboozi gʼabo abaali bakaaba nʼabaali basanyuka, kubanga abantu bonna baawowogana mu ddoboozi eryʼomwanguka, era nʼamaloboozi gaabwe ne gawulirwa wala.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>