1Awo abalabe ba Yuda ne Benyamini
2
3Naye Zerubbaberi ne Yesuwa nʼabakulu bʼebika bya Isirayiri abalala ne babaddamu nti, “Temulina mugabo naffe mu kuddaabiriza yeekaalu ya Katonda waffe. Tuligizimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ffekka, nga kabaka Kuulo kabaka wʼe Buperusi bwe yatulagira.”
4Awo abantu be baalimu ne bamalirira okulemesa abantu ba Yuda, ne babatiisatiisa okuzimba.
5Ne bagulirira abantu okubawakanya nʼokulemesa enteekateeka yaabwe, ebbanga lyonna Kuulo kabaka wʼe Buperusi lye yafuga, okutuusa Daliyo kabaka wʼe Buperusi lwe yalya obwakabaka.
6
7Awo mu biro bya Alutagizerugizi, Bisulamu ne Misuledasi ne Tabeeri ne bannaabwe abalala ne bawandiikira Alutagizerugizi ebbaluwa mu nnukuta ezʼAramayika ne mu lulimi Olwaramayika.
8Lekumu owʼessaza, ne Simusaayi omuwandiisi ne bawandiikira Alutagizerugizi ebbaluwa ekwata ku Yerusaalemi.
9Lekumu owʼessaza ne Simusaayi omuwandiisi awamu ne bannaabwe abalala, abalamuzi nʼabakungu, nʼAbaperusi, nʼAbalukevi, nʼAbababulooni, nʼAbasusanuki, nʼAbaweramu,
10nʼamawanga amalala, omukungu Osunappali be yakomyawo, nʼabateeka mu bibuga bya Samaliya ne mu bitundu ebirala ebiri emitala wʼomugga Fulaati ne bawandiika nti:
11Ebbaluwa gye baawandiikira kabaka yali egamba nti,
12Kabaka asaanye ategeere nti Abayudaaya abaava gyʼoli ne bajja gye tuli bagenze e Yerusaalemi okuddaabiriza ekibuga ekyo ekijeemu ekyʼabantu abakozi bʼebibi. Batandise okuddaabiriza emisingi nʼokuzaawo bbugwe.
13Ne nsonga endala, kabaka asaanye akimanye ngʼekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bwʼaliggwa okukola, tebalisasula misolo nate, newaakubadde okuwa empooza, era ekiriva mu ekyo bwe bwakabaka okufiirwa.
14Kale nno, olwʼokuba nga tulina obuvunaanyizibwa eri obwakabaka, ate nga tetwandiyagadde kulaba nga kabaka aswazibwa, kyetuvudde tuweereza obubaka buno eri kabaka,
15banoonye mu bitabo ebyʼokujjukiza ebya bajjajjaabo. Mu bitabo ebyo ojja kuzuula ngʼekibuga ekyo kibuga kijeemu, ekyalumya emitwe gya bakabaka nʼabaamasaza, era nga kifo ekimanyiddwa ngʼekijeemu okuva mu biro ebyʼedda. Era kyekyava kizikirizibwa.
16Tukakasa kabaka nti ekibuga kino bwe kirizimbibwa ne bbugwe waakyo nʼazzibwawo, tolibaako ne kyʼosigaza emitala wʼomugga Fulaati.
17Awo kabaka nʼabaddamu bwʼati nti:
18Ebbaluwa gye mwatuweereza esomeddwa mu maaso gange ne ngitegeera.
19Nalagira, okunoonyereza ne kukolebwa, era ne kizuulibwa ngʼekibuga ekyo, okuva edda kijeemera bakabaka
20Yerusaalemi kyalina bakabaka abʼamaanyi abaafuganga essaza lyonna eriri emitala wʼomugga Fulaati, era baaweebwanga emisolo, nʼempooza okuva mu kitundu ekyo.
21Kaakano muweereze ekiragiro eri abasajja abo bakomye omulimu ogwʼokuddaabiriza ekibuga ekyo okutuusa ate bwe ndibalagira.
22Musseeyo nnyo omwoyo okulaba nga temutenguwa mu nsonga eyo. Lwaki tukkiriza ensonga eyo okugenda mu maaso, okuleeta okufiirwa eri obwakabaka?
23Amangwago ebbaluwa eyava ewa kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne bayanguwa okugenda eri Abayudaaya e Yerusaalemi, ne babalekesaayo nʼamaanyi okugenda mu maaso.
24