Ezera 5:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo bannabbi Kaggayi ne Zekkaliya muzzukulu wa Iddo ne bategeeza Abayudaaya abaabeeranga mu Yuda ne Yerusaalemi obubaka obuva eri Katonda wa Isirayiri, Katonda waabwe.

2 Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne bagolokoka ne bagenda mu maaso nʼomulimu gwʼokuddaabiriza ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi, era ne bannabbi ba Katonda nga babayambako.

3Mu kiseera kyekimu Tattenayi owʼessaza lyʼemitala wʼomugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bagenda gye bali ne bababuuza nti, “Ani eyabawa obuyinza okuddaabiriza yeekaalu eyo nʼokuzaawo bbugwe oyo?”

4Ate era ne bababuuza nʼamannya gʼabasajja abaakolanga ku kizimbe ekyo.

5Naye Katonda waabwe nʼabeeranga wamu nʼabakulu bʼAbayudaaya, ne bataziyizibwa kugenda mu maaso nʼomulimu okutuusa ekigambo nga kivudde eri Daliyo, nʼokuddamu kwe nga kuli mu buwandiike.

6Kopi eyʼebbaluwa Tattenayi owʼessaza lyʼemitala wʼomugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bannaabwe abakungu abʼemitala wʼomugga Fulaati gye baaweereza Kabaka Daliyo,

7yalimu ebigambo bino wansi. Mirembe myereere.

7Eri Kabaka Daliyo,

8Kitugwanidde okumanyisa kabaka nga bwe twagenze mu ssaza lya Yuda ku yeekaalu ya Katonda omukulu. Abantu bagizimba nʼamayinja amanene era bateeka nʼembaawo mu bbugwe, era nʼomulimu gukolebwa nʼobunyiikivu nʼokugenda gugenda mu maaso olwʼokufuba kwabwe.

9Twabuuza abakulu nti, “Ani eyabawa obuyinza okuddaabiriza yeekaalu eyo nʼokuzzaawo bbugwe oyo?”

10Era twababuuza nʼamannya gaabwe, tusobole okukuweereza amannya gʼabakulembeze baabwe.

11Baatuddamu nti: Tuli baddu ba Katonda wʼeggulu nʼensi, era tuddaabiriza yeekaalu eyazimbibwa emyaka egyʼedda omu ku bakabaka abakulu aba Isirayiri, nʼagimala.

12 Naye olwʼokuba nga bajjajjaffe baasunguwaza Katonda wʼeggulu, yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza Omukaludaaya, kabaka wʼe Babulooni, eyazikiriza yeekaalu eno nʼatwala abantu e Babulooni.

13 Naye mu mwaka ogwʼolubereberye ogwʼobufuzi bwa Kuulo kabaka wʼe Babulooni, kabaka Kuulo oyo nʼawa ekiragiro okuddaabiriza ennyumba ya Katonda eno.

14Ebintu ebya zaabu nʼebya ffeeza ebyʼomu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yanyaga mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi nʼabitwala mu ssabo lyʼe Babulooni, Kabaka Kuulo nʼabiggyayo.

14Kabaka Kuulo nʼabikwasa omusajja erinnya lye Sesubazaali, gwe yalonda okuba owessaza,

15era nʼamugamba nti, “Twala ebintu ebyo, ogende obiteeke mu yeekaalu eri mu Yerusaalemi, era olabe ngʼennyumba ya Katonda edda mu kifo kyayo.”

16Sesubazzali oyo nʼajja nʼazimba omusingi gwʼennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi, era okuva mu kiseera ekyo nʼokutuusa kaakano omulimu gukyagenda mu maaso, tegunnagwa.

17“Noolwekyo kabaka bwʼaba ngʼasiimye, wabeewo okunoonyereza mu bitabo mu ggwanika lya kabaka eyo e Babulooni obanga ddala Kabaka Kuulo yawa ekiragiro okuddaabiriza ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi. Nʼoluvannyuma kabaka atutumire okututegeeza kyʼasazeewo ku nsonga eyo.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>