Ezera 6:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Awo kabaka Daliyo nʼawa ekiragiro okunoonyereza mu bitabo ebyabeeranga mu ggwanika e Babulooni.

2Awo omuzingo gwʼekitabo ogwawandiikibwamu ekijjukizo ne guzuulibwa mu kibuga ekikulu Yakumesa ekyʼessaza lyʼe Bumeedi nga kigamba nti:

3Mu mwaka ogwʼolubereberye ogwʼobufuzi bwa kabaka Kuulo, kabaka yateeka etteeka erikwata ku yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, nga ligamba nti, Yeekaalu eddaabirizibwe ebeere ekifo ekyʼokuweerangayo ssaddaaka, nʼemisingi gyayo giteekebwewo ginywezebwe. Eriba mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu (27), ne mita amakumi abiri mu musanvu obugazi (27),

4ngʼerina embu ssatu ezʼamayinja amanene, nʼolubu olulala nga lwa mbaawo. Omuwendo gwonna gwakusasulibwa okuva mu gwanika lya kabaka.

5Ate era nʼebintu ebya zaabu nʼebya ffeeza ebyʼomu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu e Yerusaalemi nʼabireeta e Babulooni, bizibweyo mu bifo byabyo mu yeekaalu e Yerusaalemi; mulibiteeka mu nnyumba ya Katonda.

6Kale nno, Tattenayi owʼessaza eryʼemitala wʼomugga Fulaati, ne Sesalubozenayi, nʼabakungu abeeyo mwewale okutabulatabula.

7Temuyingirira mulimu ogukolebwa ku yeekaalu ya Katonda eyo. Muleke owʼessaza lyʼAbayudaaya nʼabakulu bʼAbayudaaya bazzeewo ennyumba ya Katonda mu kifo kyayo.

8Ate era nteeka etteeka erikwata ku bye muteekwa okukolera abakulu abo abʼAbayudaaya nga bazimba yeekaalu ya Katonda: Ebirikozesebwa abasajja abo byonna, bya kusasulibwa okuva mu ggwanika lya Kabaka, ku misolo egiva emitala wʼomugga Fulaati, omulimu guleme okuyimirira.

9Bwe baliba beetaaze okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wʼeggulu, oba nte nnume ento, oba ndiga nnume, oba ndiga nnume ento, oba ŋŋaano, oba munnyo, oba wayini, oba mafuta, muteekwa okuwa bakabona abʼomu Yerusaalemi byonna nga bwe baliba basabye buli lunaku obutayosa,

10basobole okuwaayo ssaddaaka ezisiimibwa Katonda wʼeggulu, era basabire kabaka ne batabani be.

11Era nteeka etteeka, omuntu yenna bwalikyusa ekiragiro ekyo, empagi eyazimba ennyumba ye eriggyibwa ku nnyumba ye, era nʼawanikibwa ku mpagi eyo. Nʼennyumba ye erifuulibwa olubungo olwʼekikolwa ekyo.

12Katonda eyaleetera Erinnya lye okubeera mu kifo ekyo, aggyewo kabaka yenna nʼeggwanga eririyimusa omukono gwalyo okukyusa etteeka eryo oba nʼokuzikiriza eyeekaalu eyo mu Yerusaalemi.

12Nze Daliyo ntaddewo etteeka eryo. Likwatibwe butiribiri.

13Olwʼekiragiro kabaka Daliyo kye yaweereza, Tattenayi owʼessaza lyʼemitala wʼomugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne bakola bye baalagibwa nʼobunyiikivu bwonna.

14 Abakadde bʼAbayudaaya ne bagenda mu maaso nʼokuzimba era ne balaba omukisa ngʼokutegeeza kwa nnabbi Kaggayi nʼokwa nnabbi Zekkaliya muzzukulu wa Ido bwe kwali. Ne bamaliriza okuzimba yeekaalu, ngʼekiragiro kya Katonda wa Isirayiri bwe kyali, era ngʼamateeka ga Kuulo, ne Daliyo ne Alutagizerugizi bakabaka bʼe Buperusi bwe gaali.

15Awo yeekaalu eyo nʼemalirizibwa ku lunaku olwokusatu olwʼomwezi Adali, mu mwaka ogwʼomukaaga ogwʼobufuzi bwa kabaka Daliyo.

16Awo abantu ba Isirayiri, bakabona nʼAbaleevi nʼabalala abaali mu buwaŋŋanguse ne bakomawo mu ssanyu ne bakola embaga eyʼokutukuza ennyumba ya Katonda nga balina essanyu.

17Olwʼokutukuza ennyumba eyo eya Katonda, baawaayo ente ennume kikumi, nʼendiga ennume ebikumi bibiri, nʼendiga ennume ento ebikumi bina, ate nʼekiweebwayo olwʼekibi ku lwa Isirayiri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri, ngʼomuwendo bwe gwali ogwʼebika bya Isirayiri.

18Ne bateeka bakabona mu bibinja byabwe nʼAbaleevi mu biti byabwe olwʼokuweereza Katonda e Yerusaalemi, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.

19 Ku lunaku olwʼekkumi nʼennya olwʼomwezi ogwʼolubereberye, abawaŋŋaangusibwa baafumba embaga eyʼOkuyitako.

20Bakabona nʼAbaleevi baali beetukuzizza era bonna nga balongoofu okukola emikolo. Abaleevi ne batta omwana gwʼendiga ogwʼOkuyitako, ku lwa baganda baabwe bakabona, nabo bennyini.

21Awo Abayisirayiri abaava mu buwaŋŋanguse ne bagirya wamu nʼabo bonna abaali beeyawudde, nga basinza Mukama Katonda wa Isirayiri.

22Ne bamala ennaku musanvu nga balya nʼessanyu Embaga eyʼEmigaati Egitazimbulukuswa, kubanga Mukama yabajjuza essanyu bwe yakyusa omutima gwa kabaka wʼe Bwasuli, nʼabayamba mu mulimu ogwʼennyumba ya Katonda wa Isirayiri.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>