Ezera 7:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Awo oluvannyuma lwʼebyo, mu biro ebyʼobufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka wʼe Buperusi, Ezera mutabani wa Seraya, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Kirukiya,

2muzzukulu wa Sallumu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Akitubu,

3muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Merayoosi,

4muzzukulu wa Zerakiya, muzzukulu wa Uzzi, muzzukulu wa Bukki,

5muzzukulu wa Abisuwa, muzzukulu wa Finekaasi, muzzukulu wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona asinga obukulu,

6nʼava e Babulooni. Yali munnyonnyozi wʼamateeka mukugu mu mateeka, Mukama Katonda wa Isirayiri ge yawa Musa. Kabaka nʼamuwa buli kintu kye yasaba kubanga omukono gwa Mukama Katonda we gwali wamu naye.

7Abamu ku bantu ba Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona, nʼAbaleevi, nʼabayimbi, nʼabaakuumanga wankaaki, nʼabaaweerezanga mu yeekaalu, ne bagenda wamu naye e Yerusaalemi mu mwaka ogwʼomusanvu ogwʼobufuzi bwa kabaka Alutagizerugizi.

8Nʼatuuka mu Yerusaalemi mu mwezi ogwokutaano ogwʼomwaka ogwʼomusanvu ogwʼobufuzi bwa kabaka oyo.

9Yasitula okuva e Babulooni ku lunaku olwʼolubereberye olwʼomwezi ogwʼolubereberye, nʼatuuka e Yerusaalemi ku lunaku olwʼolubereberye olwʼomwezi ogwokutaano, kubanga omukono gwa Katonda we omulungi gwali wamu naye.

10Ezera yali amaliridde mu mutima gwe okusoma nʼokukuuma Etteeka lya Mukama, era nʼokuyigirizanga amateeka nʼebiragiro byalyo mu Isirayiri.

11Eno ye kopi eyʼebbaluwa kabaka Alutagizerugizi gye yawa Ezera kabona era omusomesa, omusajja eyali omukugu mu nsonga ezʼamateeka nʼebiragiro bya Mukama eri Isirayiri.

12Alutagizerugizi, kabaka wa bakabaka, Eri Ezera kabona era omunnyonnyozi wʼamateeka ga Katonda wʼeggulu: Nkulamusizza.

13Nteeka etteeka nga buli muntu owʼomu ggwanga lya Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona nʼAbaleevi, awulira okugenda e Yerusaalemi naawe, ayinza okugenda.

14Otumiddwa kabaka nʼabakungu be omusanvu abʼoku ntikko okugenda okunoonyereza ku bikwata ku Yuda ne Yerusaalemi nga mugoberera etteeka lya Katonda wammwe, lye mumanyi obulungi.

15Bwe muba nga mugenda mutwale effeeza ne zaabu kabaka nʼabakungu be bye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isirayiri, atuula mu Yerusaalemi,

16awamu nʼeffeeza ne zaabu yonna gye muliggya mu ssaza lya Babulooni, nʼebiweebwayo ebyʼobuwa abantu ne bakabona bye baliwaayo ku lwa yeekaalu ya Katonda waabwe mu Yerusaalemi.

17Ensimbi ezo mulizikozesa okugula ente ennume, nʼendiga ennume, nʼabaana bʼendiga, nʼebiweebwayo byako ebyʼobutta, nʼebiweebwayo byako ebyokunywa era munaabiweerangayo ku kyoto ekyʼomu yeekaalu ya Katonda wammwe mu Yerusaalemi.

18Ggwe ne baganda bo Abayudaaya, kye mulisiima okukolamu effeeza ne zaabu erifikkawo kiriva gye muli ngʼokusiima kwa Katonda wammwe bwe kuli.

19Ebintu byonna ebibaweereddwa okukozesa mu yeekaalu ya Katonda wammwe mubiwangayo olwʼokusinza Katonda wa Yerusaalemi.

20Nʼekintu ekirala kyonna kye muliba mwetaaze okukozesa mu yeekaalu ya Katonda wammwe, kinaggyibwanga mu ggwanika lya kabaka.

21Kaakano, nze kabaka Alutagizerugizi nteeka etteeka nga ndagira abawanika bonna abali mu ssaza eriri emitala wʼomugga Fulaati okuwanga Ezera kabona era omunnyonnyozi wʼamateeka ga Katonda wʼeggulu, byʼanaabasabanga

22nʼokutuusa ku ttani ssatu nʼekitundu eza ffeeza, oba kilo enkumi bbiri mu bibiri ezʼeŋŋaano, oba lita enkumi bbiri mu bibiri eza wayini, oba lita enkumi bbiri mu bibiri ezʼamafuta, oba nʼomunnyo gwe baliba baagala gwonna.

23Ekintu kyonna ekyʼalagirwa Katonda wʼeggulu, kiribaweebwa mu bungi, ku lwa yeekaalu ya Katonda wʼeggulu. Kale kiki ekirimuleetera okusunguwalira kabaka ne batabani be?

24Ate era mutegeere nga temusaana kuwooza musolo, oba empooza eyʼengeri yonna ku kabona yenna newaakubadde Abaleevi newaakubadde abayimbi newaakubadde abakuumi abʼoku nzigi newaakubadde abaweereza abʼomu yeekaalu newaakubadde abaddu abalala abʼomu nnyumba ya Katonda eyo.

25“Naawe, ggwe Ezera, ngʼokozesa amagezi Katonda ge yakuwa, londa abaami nʼabalamuzi, abanaalamulanga abantu bonna abʼomu ssaza eriri emitala wʼomugga Fulaati, abamanyi amateeka ga Katonda wo, era oyigirize nʼabo abatagamanyi.

26Omuntu yenna ataligondera tteeka lya Katonda wo, nʼetteeka lya Kabaka aliweebwa ekibonerezo kya kuttibwa, oba okugobebwa mu bantu, oba okuggyibwako ebibye, oba okusibibwa mu kkomera.”

27Mukama Katonda wʼabajjajjaffe atenderezebwe ayolesezza kabaka okuwa ennyumba ya Mukama mu Yerusaalemi ekitiibwa,

28era ansobozesezza okulaba omukisa mu maaso ga kabaka ne mu maaso gʼabawi bʼamagezi be abʼoku ntikko, nʼabakungu ba kabaka bonna, nʼolwʼomukono gwa Mukama Katonda wange ogubadde awamu nange, nsobole okukuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri okugenda nange.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>