Ezera 8:1-36 LGCB2014 - Bible AI

1Bano be bakulu bʼennyumba, nʼabo abeewandiisa nʼabo abaayambuka nange okuva e Babulooni mu mulembe gwa kabaka Alutagizerugizi:

2okuva mu bazzukulu ba Finekaasi, Gerusomu; nʼokuva mu bazzukulu ba Isamali, Danyeri; nʼokuva mu bazzukulu ba Dawudi, Kattusi

3muzzukulu wa Sekaniya, nʼokuva mu bazzukulu ba Palosi, Zekkaliya,

3era wamu naye abasajja abeewandiisa kikumi mu ataano (150);

4nʼokuva mu bazzukulu ba Pakasumowaabu, Erwenayi mutabani wa Zekkaliya, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri (200);

4

5nʼokuva mu bazzukulu ba Sekaniya, mutabani wa Yakazyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bisatu (300);

5

6nʼokuva mu bazzukulu ba Adini, Ebedi mutabani wa Yonasaani, era wamu naye abasajja amakumi ataano (50);

6

7nʼokuva mu bazzukulu ba Eramu, Yesaya mutabani wa Asaliya, era wamu naye abasajja nsanvu (70);

7

8nʼokuva mu bazzukulu ba Sefatiya, Zebadiya mutabani wa Mikayiri, era wamu naye abasajja kinaana (80);

8

9nʼokuva mu bazzukulu ba Yowaabu, Obadiya mutabani wa Yekyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana (218);

9

10nʼokuva mu bazzukulu ba Seromisi, mutabani wa Yosifiya, era wamu naye abasajja kikumi mu nkaaga (160);

10

11nʼokuva mu bazzukulu ba Bebayi, Zekkaliya mutabani wa Bebayi, era wamu naye abasajja amakumi abiri mu munaana (28);

11

12nʼokuva mu bazzukulu ba Azugadi, Yokanaani mutabani wa Kakkatani, era wamu naye abasajja kikumi mu kkumi (110);

12

13nʼokuva mu bazzukulu ba Adonikamu, abajja oluvannyuma, Erifereti, ne Yeweri, ne Semaaya, era wamu nabo abasajja nkaaga (60);

13

14nʼokuva mu bazzukulu ba Biguvaayi, Usayi ne Zabudi, era wamu nabo abasajja nsanvu (70).

15Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogukulukutira e Yakava, ne tusiisira eyo okumala ennaku ssatu. Awo bwe nnali nga nneekebejja abantu ne bakabona, ne sirabamu Baleevi.

16Kyennava ntumya Eryeza ne Alyeri ne Semaaya ne Erunasani ne Yalibu ne Erunasani ne Nasani ne Zekkaliya ne Mesullamu, abaali abakulembeze ne Yoyalibu ne Erunasani, abaali abategeevu,

17ne mbatuma eri Iddo omukulu wʼekifo ekyʼe Kasifiya, ne mbategeeza bye baba bagamba Iddo ne baganda be, abaaweerezanga mu yeekaalu mu kifo ekyo ekyʼe Kasifiya, batuuweereze abaweereza abaliyamba mu nnyumba ya Katonda waffe.

18Olwʼomukono gwa Katonda ogwali awamu naffe, ne batuleetera omusajja omutegeevu, omu ku bazzukulu ba Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isirayiri, erinnya lye Serebiya, wamu ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja kkumi na munaana;

19ne Kasabiya, wamu naye Yesaya omu ku bazzukulu ba Merali, ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja amakumi abiri.

20Ate era ne baleeta nʼabaweereza ba yeekaalu Dawudi nʼabakungu be baalonda okubeeranga Abaleevi ebikumi bibiri mu abiri. Bonna baali beewandiisizza.

21Awo ku mugga Akava, ne nangirira okusiiba, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, nga tumwegayirira okubeera awamu naffe nʼabaana baffe nʼebintu byaffe byonna mu lugendo lwaffe.

22Nakwatibwa ensonyi okusaba kabaka abaserikale abakuumi abʼebigere nʼabeebagala embalaasi okutukuuma eri abalabe, kubanga twali tumutegeezeza nti, “Omukono omulungi ogwa Katonda waffe gubeera ku buli muntu amunoonya, naye obusungu bwe bubeera ku abo abamujeemera.”

23Kyetwava tusiiba ne twegayirira Katonda waffe ku nsonga eyo, era nʼaddamu okusaba kwaffe.

24Awo ne nonda Serebiya ne Kasabiya ne baganda baabwe abalala kkumi, be bantu kkumi na babiri okuva mu bakabona abakulu,

25ne mbapimira ffeeza ne zaabu nʼebintu kabaka, nʼabaami be, nʼabakungu be, ne Isirayiri yenna, bye baawaayo ku lwʼennyumba ya Katonda waffe.

26Ne mbagererera ttani amakumi abiri mu ttaano eza ffeeza, nʼebintu ebya ffeeza obuzito bwabyo ttani ssatu nʼebitundu bisatu byakuna, ne zaabu ttani ssatu nʼebitundu bisatu byakuna,

27ne kilo munaana nʼekitundu eza zaabu, nʼebitundu bibiri ebyʼekikomo ebirungi ebizigule, ebyʼomuwendo nga zaabu.

28Ne mbategeeza nti, “Muli batukuvu eri Mukama, nʼebintu bino bitukuvu eri Mukama. Effeeza ne zaabu biweebwayo kyeyagalire eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe.

29Mubikuume bulungi era mubituuse bulungi eri bakabona abakulu nʼAbaleevi, nʼabakulu bʼennyumba za Isirayiri.”

30Awo bakabona nʼAbaleevi ne baweebwa effeeza ne zaabu, nʼebintu ebyawongebwa, ebyali bipimiddwa, okubitwala mu nnyumba ya Katonda waffe e Yerusaalemi.

31Ku lunaku olwʼekkumi nʼebbiri olwʼomwezi ogwʼolubereberye ne tusitula okuva ku mugga Akava okugenda e Yerusaalemi. Omukono gwa Katonda waffe ne gubeera wamu naffe, nʼatukuuma eri abalabe nʼabanyazi mu kkubo.

32Ne tutuuka e Yerusaalemi gye twawumulira okumala ennaku ssatu.

33Awo ku lunaku olwokuna, nga tuli mu nnyumba ya Katonda waffe, ne tupima ffeeza ne zaabu nʼebintu ebyawongebwa ne tubikwasa Meremoosi kabona, mutabani wa Uliya, ne Eriyazaali mutabani wa Finekaasi eyali awamu naye, ne Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi, Abaleevi.

34Byonna ne bibalibwa ngʼomuwendo gwabyo bwe gwali nʼobuzito bwabyo bwe bwali era ne biwandiikibwa.

35Mu kiseera ekyo abaawaŋŋangusibwa, abakomawo okuva mu busibe, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isirayiri: ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Isirayiri yenna, nʼendiga ennume kyenda mu mukaaga, nʼobuliga obuto nga bulume nsanvu mu musanvu, nʼembuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olwʼekibi, ebyo byonna ne biba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.

36Ate era ne batuusa nʼebiragiro bya kabaka eri bagavana[10] nʼabaamasaza abaali emitala wʼomugga Fulaati, abafuzi abo ne bayamba abantu ne bawaayo nʼobuyambi eri ennyumba ya Katonda.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>