1Oluvannyuma lwʼebintu ebyo okukolebwa,
2Bawasizza abamu ku bawala baabwe, nʼabawala ne bafumbirwa abamu ku batabani baabwe, bwe kityo eggwanga ettukuvu ne lyetabula nʼamawanga agabeetoolodde. Ku nsonga eyo abakulembeze nʼabakungu, be basinze okwonoona.”
3Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne njuza ekkanzu yange nʼomunagiro gwange,
4Bonna abatya ebigambo bya Katonda wa Isirayiri ne bakuŋŋaanira we ndi, olwʼobutali bwesigwa obwʼabaawaŋŋangusibwa. Ne ntuula wansi nga nnakuwadde okutuusa ekiseera ekyʼekiweebwayo ekyʼakawungeezi bwe kyatuuka.
5Awo mu kiseera ekyʼekiweebwayo ekyʼakawungeezi ne ngolokoka okuva we nnali ntudde, nʼekkanzu yange enjulifu nʼomunagiro gwange omuyulifu, ne nfukamira ne ngolola emikono gyange eri Mukama Katonda wange,
6ne nsaba nti;
7Okuva mu biro bya bajjajjaffe nʼokutuusa leero, omusango gugenze gweyongera; era olwʼobutali butuukirivu bwaffe, bakabaka baffe, ne bakabona baffe baweereddwayo mu mukono gwa bakabaka abʼensi, nʼeri ekitala, nʼeri obusibe, nʼeri obunyazi, nʼeri obuswavu obungi, nga bwe kiri mu nnaku zino.”
8“Naye kaakano, akaseera katono, Mukama Katonda waffe atulaze ekisa nʼatulekawo ffe abatono, nʼatuwa ekifo ekisooka era ekinywevu mu watukuvu we, Katonda waffe nʼamulisa amaaso gaffe, nʼatuwa okuweeraweerako akatono mu busibe bwaffe.
9Newaakubadde nga tuli baddu,
10“Kaakano Katonda waffe tunaayogera ki oluvannyuma lwʼebyo? Twaleka amateeka go
11ge watuwa ngʼoyita mu baddu bo bannabbi, bwe wayogera nti, ‘Ensi gye mugenda okulya, nsi ejjudde obutali bulongoofu olwʼabantu baamu, era bagijjuzizza ebikolwa ebyʼobugwagwa enjuuyi zonna.
12
13“Bino byonna bitutuuseeko olwʼebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu nʼolwʼomusango omunene gwe tulina, ate nga Katonda waffe totubonerezza ngʼebikolwa byaffe bwe biri, naye otuleseewo nga bwe tuli kaakano.
14Tunaayinza nate okumenya ebiragiro byo ne tuwasa mu mawanga ago agakola ebitasaana? Tolitunyiigira nnyo nʼokusingawo nʼotuzikiriza obutalekaawo muntu yenna?
15Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri oli mutuukirivu, era otuleseewo ffe ekitundu kino leero. Laba tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango, newaakubadde nga tewali eyandisobodde okuyimirira mu maaso go.”