Firemooni 1:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu, nʼowooluganda Timoseewo, tuwandiikira ggwe Firemooni, mukozi munnaffe omwagalwa,

2ne Apofiya mwannyinaffe, ne Alukipo mulwanyi munnaffe, nʼEkkanisa yonna ekuŋŋaanira mu nnyumba yo.

3Ekisa nʼemirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.

4Bulijjo bwe mba nga nkusabira neebaza Katonda,

5kubanga buli kiseera mpulira nga bwʼolina okwagala nʼokukkiriza eri Mukama waffe Yesu nʼeri abatukuvu bonna.

6Nsaba nti Nga bwʼogenda otegeeza abantu okukkiriza kwo, nabo kubanyweze mu bulamu bwabwe, nga bategeerera ddala ebirungi byonna ebiri mu ffe ku bwa Kristo.

7Nsanyuka nnyo era ne nziramu amaanyi olwʼokwagala kwo, kubanga emitima gyʼabatukuvu giziddwa buggya ku lulwo owooluganda.

8Noolwekyo newaakubadde era, nga nnina obuvumu mu Kristo, nga nandisobodde okukulagira okukola ekyo kyʼosaanira okukola,

9naye okwagala kwange gyʼoli kumpaliriza okukusaba obusabi, nze, Pawulo, kaakano akaddiye, era ali mu kkomera olwa Kristo Yesu;

10nkwegayirira ku bikwata ku mwana wange Onesimo gwe nayamba okukkiriza Mukama waffe nga ndi mu njegere, mu busibe,

11Onesimo oyo, gye buvuddeko ataali wa mugaso gyʼoli, naye kaakano nga wa mugaso nnyo gye tuli ffembi,

12gwe naaweereza gyʼoli nga nʼomutima gwange gujjirako,

13oyo gwe nandyagadde okwesigaliza, ampeereze nga ndi mu busibe olwʼenjiri, mu kifo kyo mwe wandibadde onnyambira,

14naye ne saagala kukikola nga tonzikirizza. Saagala okole ekyʼekisa olwokubanga oteekwa, wabula kikole lwa kweyagalira.

15Kiyinzika okuba nga Onesimo yakwawukanako okumala akaseera, oluvannyuma alyoke abeere naawe ebbanga lyonna,

16nga takyali muddu buddu, naye ngʼasingako awo, ngʼafuuse owooluganda omwagalwa ennyo, na ddala gye ndi. Kaakano ajja kubeera wa mugaso nnyo gyʼoli mu mubiri ne mu Mukama waffe.

17Obanga ddala ndi munno, mwanirize mu ngeri yʼemu nga bwe wandinnyanirizza singa nze mbadde nzize.

18Obanga waliwo ekintu ekibi kye yakukola, oba ekintu kyʼomubanja, kimbalirweko.

19Kino nkiwandiika mu mukono gwange nze, Pawulo, nti Ndikusasula. Sijja kukugamba nti Olina ebbanja lyange.

20Munnange owooluganda, nkolera ekikolwa kino ekiraga okwagala, omutima gwange guddemu amaanyi mu Kristo.

21Nkuwandiikidde ebbaluwa eno nga neesigira ddala nga kye nkusaba ojja kukikola nʼokusingawo!

22Nninayo nʼekirala kye nkusaba; nkusaba ontegekere we ndisula, kubanga nnina essuubi, nga Katonda okusaba kwammwe ajja kukuddamu anzikirize nkomewo gye muli.

23Epafula, musibe munnange olwʼokubuulira Enjiri ya Kristo Yesu, abalamusizza.

24Ne bakozi bannange bano: Makko, ne Alisutaluuko, ne Dema, ne Lukka nabo babalamusizza.

25Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nʼomwoyo gwammwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>