1 ⓐ Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.
2 Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi, kubanga bwʼati Mukama bwʼayogera nti, “Nayonsa ne ndera abaana naye ne banjeemera.
3 Ente emanya nannyini yo nʼendogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo, naye Isirayiri tammanyi, abantu bange tebantegeera.”
4 Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi, abantu abajjudde obutali butuukirivu, ezzadde eryabakola ebibi, abaana aboonoonyi! Balese Mukama banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri, basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.
4
5 Lwaki mweyongera okujeema? Mwagala mwongere okubonerezebwa? Omutwe gwonna mulwadde, nʼomutima gwonna gunafuye.
6 Okuva mu mala gʼekigere okutuuka ku mutwe temuli bulamu wabula ebiwundu, nʼokuzimba, nʼamabwa agatiiriika amasira agatanyigibwanga, okusibibwa, wadde okuteekebwako eddagala.
6
7 Ensi yammwe esigadde matongo, ebibuga byammwe byokeddwa omuliro, nga nammwe bennyini mulaba. Bannamawanga[1] balidde ensi yammwe, era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.
8 Omuwala wa Sayuuni alekeddwa ngʼensiisira esigadde mu nnimiro yʼemizabbibu, ngʼekiwummulirwamu mu nnimiro yʼemyungu[2] , ngʼekibuga ekizingiziddwa.
9 ⓑ Singa Mukama owʼEggye teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo twandibadde nga Sodomu, twandifuuse nga Ggomola.
9
10 Muwulirize ekigambo kya Katonda mmwe abafuzi ba Sodomu! Musseeyo omwoyo eri okuyigiriza kwa Katonda waffe mmwe abantu bʼe Ggomola!
11 ⓒ “Ssaddaaka enkumu ze munsalira zingasa ki? Nkooye endiga ennume enjokye eziweebwayo, so sisanyukira musaayi gwa nte, newaakubadde ogwʼabaana bʼendiga, newaakubadde ogwʼembuzi ennume, bwʼayogera Mukama.
12 Bwe mujja mu maaso gange, ani aba abayise ne mujja okulinnyirira empya zange?
13 Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu; obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi. Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti nʼenkuŋŋaana zammwe zijjudde obutali butuukirivu.
14 Emyezi gyammwe Egibonese nʼembaga zammwe ezʼennaku entukuvu, emmeeme yange ebikyaye, binfuukidde omugugu, nkooye okubigumiikiriza.
15 Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe nnaabakwekanga amaaso gange, era ne bwe munaasabanga ennyo siiwulirenga kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi. Munaabe, mwetukuze
16 muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi, mulekeraawo okukola ebibi.
17 Muyige okukola obulungi, musalenga emisango nʼamazima, mudduukirirenga abajoogebwa, musalenga omusango gwʼatalina kitaawe, muwolerezenga bannamwandu.”
17
18 “Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,” bwʼayogera Mukama; “ebibi byammwe ne bwe biba ngʼolugoye olumyufu binaafuuka byeru ngʼomuzira, ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu, binaatukula ngʼebyoya byʼendiga.
19 Bwe munaagondanga ne muwulira, munaalyanga ebirungi ebyʼensi;
20 naye bwe munaagaananga ne mujeemanga ekitala kinaabalyanga,”
20 kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
21 Laba ekibuga ekyesigwa bwe kifuuse ngʼomwenzi! Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya! Obutuukirivu bwatuulanga mu ye, naye kaakano batemu bennyini nnyini!
22 Effeeza yo efuuse masengere, wayini wo afuuse wa lujjulungu.
23 Abafuzi bo bajeemu, mikwano gya babbi, bonna bawoomerwa enguzi, era banoonya kuweebwa birabo; tebayamba batalina ba kitaabwe, so nʼensonga za bannamwandu tebazifaako.
24 Noolwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama owʼEggye, owamaanyi owa Isirayiri nti, “Ndifuka obusungu ku balabe bange, era ne nesasuza abo abankyawa.
25 Era ndikukwatamu nʼomukono gwange, ne nnoongoosereza ddala amasengere go gonna ne nkuggyamu ebitali birungi byonna.
26 Era ndikomyawo abalamuzi bo ngʼolubereberye nʼabo abakuwa amagezi, nga bwe kyali okusooka. Olwo olyoke oyitibwe ekibuga ekyʼobutuukirivu, ekibuga ekyesigwa.”
26
27 Sayuuni alinunulibwa lwa bwenkanya, nʼabantu baamu abalyenenya mu butuukirivu.
28 Naye abeewaggula nʼabakozi bʼebibi balizikirizibwa wamu, nʼabo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.
28
29 “Kubanga mulikwatibwa ensonyi olwʼemivule mwe mwenyumiririzanga, nʼolwʼennimiro ze mweroboza.
30 Kubanga mulibeera ngʼomuvule oguwotoka era ngʼennimiro etaliimu mazzi.
31 Nʼomusajja owʼamaanyi alifuuka ngʼenfuuzi, nʼomulimu gwe ngʼakasasi akavudde ku lyanda, era byombi biriggiira wamu so tewaliba azikiza omuliro ogwo.”
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.