11nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalalasi bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’ ”
12Mukama bwʼalimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi nʼalyoka abonereza kabaka wʼe Bwasuli olwʼokwewaana nʼokuduula kwe nʼentunula ye eyʼamalala.
13Kubanga yayogera nti,
13“ ‘Bino byonna mbikoze olwʼamaanyi gʼomukono gwange,era nʼolwʼamagezi gange,kubanga ndi mukalabakalaba:Najjulula ensalo zʼamawanga ne nnyaga obugagga bwabwe,ngʼowʼamaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.
14Ngʼomuntu bwʼakwata mu kisu,omukono gwange gwʼakunuukiriza ne gukwata mu bugagga bwʼamawanga;ngʼabantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo,bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna,tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro,newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’ ”
20Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,nʼabo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobonga tebakyeyinulira ku oyo[13]eyabakubanaye nga beesigama ku Mukama Katonda,omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
21Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobokirikomawo eri Katonda owʼamaanyi.
22ⓖ Kubanga wadde abantu bo bangi ngʼomusenyu gwʼennyanja,abalikomawo nga balamu baliba batono.Okuzikirira kwo kwa kubaawokubanga kusaanidde.
23Kubanga Mukama, Mukama Katonda owʼEggye alireetaenkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna.
24Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda owʼEggye kyava ayogera nti,“Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni,temutyanga Abasuli, newaakubadde nga babakuba nʼolugaera nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.
25Kubanga mu kaseera katono nnyoobusungu bwange gyʼoli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”
25
26Mukama Katonda owʼEggye alibakuba nʼakaswanyunga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lwʼe Olebu.Era aligololera oluga lwe ku nnyanjanga bwe yakola e Misiri.
27Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo,nʼekikoligo kye kive ku nsingo yo;ekikoligo kirimenyebwaolwʼobugevvu bwo.
27
28Laba eggye lyʼomulabe lituuse liwambye Yagasi,liyise mu Miguloni,era mu Mikumasi gye balireka emigugu gyabwe.
29Bayise awavvuunukirwa, e Gebane basulayo ekiro kimu,Laama akankana,Gibea wa Sawulo adduse.
30Kaaba nʼeddoboozi eryʼomwanguka ggwe omuwala wa Gallimu!Ggwe Layisa wuliriza!Ngʼolabye Anasosi!
31Madumena adduse,abantu bʼe Gebimu beekukumye.
32Olwa leero bajja kusibira Nobu,balyolekeza ekikonde kyabweeri olusozi lwa Muwala wa Sayuuni,akasozi ka Yerusaalemi.