1ⓗ Ensibuka erimera ngʼeva ku kikonge kya Yese,ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
2Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,Mwoyo owʼamagezi nʼokutegeerane Mwoyo wʼokusala ensonga, nʼowʼamaanyine Mwoyo wʼokumanya era nʼokutya Mukama Katonda.
3Era nʼessanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.Taasalenga misango ngʼasinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,oba okusalawo ngʼasinziira ku byawulira nʼamatu ge byokka,
4ⓘ Naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu abʼomu nsi;era alikuba ensi nʼomuggo ogwʼomu kamwa ke,era alitta omukozi wʼebibi nʼomukka ogwʼomu kamwa ke.
11Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri[14] okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinali ne mu Kamasi ne mu bizinga ebyʼomu nnyanja.
12Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri;aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ezʼensi.
14Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bwʼebugwanjuba;Era bombiriri balinyaga abantu bʼomu buvanjuba.Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu;nʼabaana ba Amoni balibagondera.
15ⓝ Era Mukama Katonda alikalizaomukutu gwʼennyanja yʼAbamisiri;era aliwujira omukono gwe ku mugga Fulaatine guleetawo omuyaga ogukaza,agwawulemu ebitundu musanvuabantu bye banaasomokanga ku bigere.
16Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera nʼekkubo eryʼokuyitamu eryʼeggwangaeryasigala ku Bwasulinga bwe kyali eri Isirayiri ku lunakulwe baaviirako mu Misiri.