Isaaya 12:1-6 LGCB2014 - Bible AI

1Ku lunaku olwo oligamba nti, “Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda; newaakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.

2 Laba Katonda bwe bulokozi bwange; nzija kumwesiga era siritya; kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era afuuse obulokozi bwange.”

3Munaasenanga nʼessanyu amazzi okuva mu nzizi ezʼobulokozi.

4 Era ku lunaku olwo mulyogera nti, “Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.

5Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze ebyʼettendo; muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.

6Leekaana nʼeddoboozi eryʼomwanguka oyimbe nʼessanyu ggwe omuntu wʼomu Sayuuni, kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.