Isaaya 13:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1 Obubaka bwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi bwe yalaba.

2Muwanike bbendera ku lusozi olutaliiko bantu, mubakaabirire mubawenye bayingire mu miryango gyʼabakungu.

3Nze Mukama ndagidde abatukuvu bange mpise abalwanyi bange abʼamaanyi, babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi.

3

4Muwulirize oluyoogaano lwʼekibiina ku nsozi, nga luwulikika ngʼolwʼogubiina ogunene! Wuliriza, oluyoogaano lwʼobwakabaka, olwʼamawanga agʼekuŋŋaanyizza awamu! Mukama Katonda owʼEggye ateekateeka eggye lye okulwana.

5Bava wala mu nsi ezeewala ennya okuva ku nkomerero yʼeggulu. Mu busungu bwe Mukama Katonda aleese ebyokulwanyisa ebyʼokuzikiriza ensi yonna.

5

6 Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi, lulijja ngʼokuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba!

7Emikono gyonna kyegiriva giggwaamu amaanyi, na buli mutima gwa muntu gulisaanuuka;

8era bakeŋŋentererwe nʼokubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ngʼomukazi alumwa okuzaala. Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira.

8

9Laba olunaku lwa Mukama lujja, olunaku olubi ennyo olwʼekiruyi nʼobusungu obubuubuuka okufuula ensi amatongo, nʼokuzikiriza abakozi bʼebibi okubamalamu.

10 Kubanga emmunyeenye ezʼomu ggulu nʼebibiina byazo tebiryaka; enjuba nayo teryaka nga bwʼekola bulijjo, nʼomwezi nagwo tegulyaka.

11Ndibonereza ensi olwʼokwonoona kwʼayo, nʼabakozi bʼebibi olwʼebyonoono byabwe. Era ndimalawo okweyisa kwʼabʼamalala era nzikakkanya okwenyumiriza kwʼabo abakambwe.

12Abantu ndibafuula abebbula okusinga zaabu ennongoose eya ofiri.

13Noolwekyo ndikankanya eggulu, era nʼensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo, olwʼobusungu bwa Mukama Katonda owʼEggye, ku lunaku lwʼobusungu bwe obungi.

13

14Era ngʼempeewo eyiggibwa, ngʼendiga eteriiko agirunda, buli muntu aliddukira eri abantu be buli muntu aliddukira mu nsi yʼewaabwe.

15Buli anaalabwangako ngʼekitala kimuyitamu, buli gwe banaakwatangako ngʼattibwa nʼekitala.

16Nʼabaana baabwe abawere banabetenterwanga mu maaso gaabwe nga balaba; ennyumba zaabwe zinyagibwe, nʼabakazi baabwe bakwatibwe olwʼempaka.

16

17Laba, ndibayimbulira Abameedi, abatafa ku ffeeza era abateeguya zaabu.

18Emitego gyabwe girikuba abavubuka era tebaliba na kisa eri abawere. Amaaso gaabwe tegalisaasira baana bato.

19 Ne Babulooni, ekitiibwa ekyʼobwakabaka, obulungi obwʼokwemanya kwʼAbakaludaaya, kiriba nga Sodomu ne Ggomola Katonda bye yawamba.

20Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna, so tekiribeerwamu emirembe nʼemirembe, so teri Muwalabu alisimbayo weema ye, teri musumba aligalamizaayo ggana lye kuwummulirayo.

21 Naye ensolo enkambwe ezʼomu ddungu ze zinaagalamirangayo; ennyumba zijjule ebintu ebiwoowoola; bammaaya banaabeeranga eyo, nʼebikulekule bibuukire eyo.

22Nʼempisi zinaakaabiranga mu bigulumu byʼebigo byabwe, ebibe bikaabire mu mbiri zaabwe ezitemagana. Ekiseera kyakyo kinaatera okutuuka, ennaku ze teziryongerwako.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>