Isaaya 14:1-32 LGCB2014 - Bible AI

1Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa, addemu alonde Isirayiri abazze ku ttaka lyabwe. Ne bannamawanga balibeegattako era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.

2Nʼamawanga mangi galibayamba okudda mu nsi yaabwe, nʼennyumba ya Isirayiri ebeere nʼabantu abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja nʼabakazi. Baliwamba abaali babawambye, bafuge abo abaabakijjanyanga.

3Awo olunaku Mukama Katonda lwʼalibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe nʼokukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa,

4oligera olugero luno ku kabaka wʼe Babulooni nʼoyogera nti:

4Omujoozi ngʼagudde nʼaggwaawo! Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!

5Mukama Katonda amenye omuggo ogwʼabakozi bʼebibi, omuggo gwʼobwakabaka ogwʼabo abafuga.

6Ogwakubanga olutata amawanga nʼobusungu, ogwafugisanga amawanga ekiruyi, ne gubayigganyanga nga tewali aguziyiza.

7Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe, era batandise okuyimba.

8Si ekyo kyokka nʼenfugo nʼemivule gya Lebanooni, nagyo gikuyeeyeereza nti, “Kasookanga ogwa tebangayo ajja kututema.”

8

9Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ngʼojja, gagolokosa emyoyo gyʼabafu ku lulwo, bonna abaali abakulembeze bʼensi; gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe, bonna abaali bakabaka baamawanga.

10Abo bonna balyogera ne bakugamba nti, “Naawe oweddemu amaanyi nga ffe! Naawe ofuuse nga ffe!”

11Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe, awamu nʼamaloboozi gʼennanga zo; bakwalidde envunyu, nʼensiriŋŋanyi zikubisseeko.

11

12 Ngʼogudde okuva mu ggulu, ggwe emunyeenye eyʼenkya, omwana wʼemambya! Ngʼotemeddwa nʼogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga!

13 Wayogera mu mutima gwo nti, “Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emunyeenye za Katonda; era nditeeka entebe yange waggulu ntuule ku lusozi olwʼokukuŋŋaanirako ku njuyi ezʼenkomerero ezʼobukiikakkono;

14ndyambuka okusinga ebire we bikoma, ndyoke nfuuke ngʼoyo ali waggulu ennyo.”

15Naye ossibbwa wansi emagombe, ku ntobo yʼobunnya.

15

16Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga bakwewuunye nga bagamba nti, “Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi, ngʼanyeenyanyeenya obwakabaka!

17Eyafuula ensi okuba eddungu nʼasuula ebibuga byayo, atakkirizanga bawambe kudda waabwe!”

17

18Bakabaka bonna abʼensi bagalamidde mu kitiibwa, buli omu mu ntaana ye,

19naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo go ngʼettabi eryʼomuzizo eryakyayibwa, ngʼoteekeddwa wamu nʼabattibwa, abaafumitibwa nʼekitala, abakka eri amayinja gʼobunnya; ngʼomulambo ogulinyiriddwa.

20Toligattibwa nʼabo mu kuziikibwa kubanga wazikiriza ensi yo nʼotta abantu bo;

20ezzadde lyʼabo abaakola ebibi teriryongerwako nʼakatono.

21Mutegeke ekifo batabani be we banattirwa olwʼobutali butuukirivu bwa bakitaabwe, baleme okugolokoka ne balya ensi, ne bajjuza ensi yonna ebibuga byabwe.

21

22“Nange ndibagolokokerako,” bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye, “ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, nʼabalifikkawo, nʼomwana nʼomuzzukulu,” bwʼayogera Mukama Katonda.

23“Era ndimufuula obutaka bwʼebiwuugulu, nʼentobazzi era mwere nʼolweyo oluzikiriza,” bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye.

24 Mukama Katonda owʼEggye alayidde nʼayogera nti, “Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo era nga bwe nateesa, bwe kirinywera bwe kityo.

25Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange, era ndimulinnyirira ku nsozi zange. Ekikoligo kye kiribavaako, nʼomugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”

25

26Eno yʼentegeka eyategekerwa ensi yonna: era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.

27Kubanga Mukama Katonda owʼEggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula? Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?

28 Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno.

29 Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna, kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese, ne ku kikolo kyʼomusota kulivaako enswera, nʼezzadde lyalyo liriba musota ogwʼobusagwa oguwalabuka.

30Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya, nʼabali mu kwetaaga balifuna ku tulo naye ekikolo kyo ndikittisa enjala ate abo abalisigalawo mbattise ekitala.

30

31Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga, osaanuuke olwʼentiisa ggwe Bufirisuuti yonna! Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka, eggye eryʼabalwanyi omutali munafu.

32Kale kiki kye banaddamu ababaka bʼeggwanga eryo? “Mukama yassaawo Sayuuni, ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>