1ⓐ Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa ne kimalibwawo. Kiiri[15] ekya Mowaabu nakyo ne kizikirizibwa mu kiro!
2Abantu bʼe Diboni bambuse ku lusozi okukaabira mu ssabo lyabwe. Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba. Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri na buli kirevu kyonna kimwereddwa.
3Beesibye ebibukutu mu nguudo; ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene ebyʼomu bibuga bakaaba. Buli muntu atema emiranga nʼabikaabira amaziga amayitirivu.
4Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi eryʼomwanguka, nʼamaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi. Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi eryʼomwanguka, emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.
4
5Omutima gwange gukaabira Mowaabu; abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali ne Yegulasuserisiya. Bambuka e Lakisi nga bwe bakaaba; bakaabira mu kkubo eryʼe Kolonayimu nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.
6Amazzi gʼe Nimulimu gakalidde, omuddo guwotose, omuddo omugonvu, guggwaawo, tewali kintu kimera.
7Abantu basomoka akagga akʼenzingu nga badduka nʼebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.
8Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu; amaloboozi gatuuse e Yegalayimu, nʼebiwoobe ne bituuka e Beererimu.
9Amazzi gʼe Diboni gajjudde omusaayi, naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni; empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu, ne ku abo abalisigalawo ku nsi.