1“Muweereze abaana bʼendigaeri oyo afuga ensi,okuva e Seera, ngʼoyita mu ddungu,okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.
2Ngʼennyonyi ezabulwako ekisunʼezisaasaana nga zidda eno nʼeri,bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabuawasomokerwa Alunooni.[16]
3Tuwe ku magezi,tubuulire, tukole tutya?Mutusiikirize mubeere ngʼekittuluzewakati mu ttuntu,Abajja bagobebwa mubakweke,abajja badaaga temubalyamu lukwe.
4Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe.Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.”
4Omujoozi bwʼaweddewo, nʼokubetentebwa ne kuggwaawo;omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.
5Entebe eyʼobwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala,era ku yo kutuuleko omufuzi owʼomu nnyumba ya Dawudialamula mu bwesigwaera anoonya obwenkanyaera ayanguwa okukola ebyʼobutuukirivu.
6Tuwulidde amalala ga Mowaabu,nga bwʼajjudde okwemanya,nʼamalala ge nʼokuvuma;naye okwemanya kwe tekugasa.