Isaaya 17:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1 “Laba Ddamasiko tekikyali kibuga, kifuuse matongo.

2Ebibuga bya Aloweri babidduseemu: birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga nga tewali azikanga.

3Ekigo ekyʼamaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu, nʼobwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo; naye abalisigalawo mu Busuuli, baliba nʼekitiibwa ngʼekyʼabaana ba Isirayiri,” bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye.

3

4“Awo olulituuka ku lunaku luli, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera; era akoggere ddala.

5Ne kiba ngʼomukunguzi bwʼakuŋŋaanya eŋŋaano, nʼomukono gwe ne gukungula empeke; weewaawo kiriba ngʼomuntu bwʼalonda ebinywa byʼeŋŋaano mu Kiwonvu kya Lefayimu.

6Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa ngʼomuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa, ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo, bina oba bitaano ku busongezo bwʼomuti omugimu,” bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri.

6

7Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe, nʼamaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri.

8So tebalirowooza ku byoto bya balubaale baabwe, emirimu gyʼemikono gyabwe, be beekolera, oba empagi za katonda wa Baasera oba ebyoto kwe bootereza obubaane.

9Mu biro ebyo ebibuga byabwe ebyʼamaanyi Abayisirayiri bye baabalesa, biriba ngʼebifo ebyameramu ebisaka ne kalandaluggo. Byonna birisigala matongo.

10 Weerabidde Katonda Omulokozi wo, so tojjukidde Lwazi lwa maanyi go; kyova osimbamu ebisimbe ebyʼokukusanyusa nʼosigamu omuzabbibu oguvudde ebweru.

11Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lwʼobisimbye, era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa, tolibaako kyʼokungula wabula obulumi obutawonyezeka nʼennaku eyʼekitalo.

11

12Woowe oluyoogaano olwʼamawanga amangi, bawuluguma ngʼokuwuluguma kwʼennyanja esiikuuse! Okuwuluguma kwʼabantu, bawuluguma ngʼamazzi agayiika nʼamaanyi amangi!

13Wadde amawanga galiwuuma nʼokuwulikika ne gawulikika ngʼamazzi agayiika nʼamaanyi amangi, Mukama bwʼaligagoba, galibulawo mbagirawo. Galiba ngʼebisusunku bwe bitwalibwa empewo; era ngʼenfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ngʼeneetera okutonnya.

14Entiisa eyʼamaanyi eribagwako akawungeezi. Buliba tebunnakya ngʼabalabe bonna tewakyali. Guno gwe mugabo gwʼabo abatunyaga, era yʼempeera yʼabo abatunyagako ebyaffe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>