1ⓓ Zikusanze, ggwe ensi eyʼebiwaawaatiro ebikwakwaya, eri emitala wʼemigga gya Kuusi,[17]
2etuma ababaka ne bagendera mu maato agʼebitoogo ku nnyanja. Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu abʼemibiri emiweweevu, eri abantu abatiibwa abeewala nʼabʼokumpi, eggwanga eryʼamaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa, ensi eyawulwamu emigga.
2
3Mmwe mwenna abantu abali mu nsi, mmwe ababeera ku nsi, bendera lweriwanikibwa ku nsozi, muligiraba, era ekkondeere bwe lirifuuyibwa, muliriwulira.
4Kubanga bwʼatyo Mukama bwʼaŋŋambye nti, “Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange, ngʼolubugumu olutemagana mu musana, ngʼekire kyʼomusulo mu lubugumu olwʼomu biro ebyʼamakungula.”
5Kubanga okukungula kuliba tekunatuuka, okumulisa nga kuwedde, nʼekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde, aliwawaagula obutabi nʼebiwabyo, nʼamatabi agalanda aligasalira.
6Gonna galirekerwa ennyonyi ezʼoku nsozi ezirya ebiramu nʼensolo ezʼensi. Era ennyonyi ezirya ebiramu zirye okwo mu biseera byʼekyeya, nʼensolo zonna ezʼomu nsiko zirye okwo mu biseera byʼobunnyogovu.