Isaaya 19:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1 Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo nʼajja mu Misiri. Ne bakatonda bʼe Misiri balijugumira mu maaso ge, nʼemitima gyʼAbamisiri girisaanuukira munda mu bo.

2Era ndiyimusa Abamisiri okulwana nʼAbamisiri, balwane buli muntu ne muganda we, na buli muntu ne muliraanwa we; ekibuga nʼekibuga, obwakabaka nʼobwakabaka.

3Abamisiri baliggwaamu omwoyo era entegeka zaabwe zonna ndizitta; era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, nʼabasamize, nʼabaliko emizimu nʼabalogo.

4Era ndigabula Abamisiri mu mukono gwʼomufuzi omukambwe, era kabaka owʼentiisa alibafuga,[18] bwʼayogera Mukama, Mukama Katonda owʼEggye.

5Omugga gulikalira nʼentobo yʼomugga ekale ejjemu enjatika.

6Nʼemikutu giriwunya ekivundu, nʼemyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale; ebitoogo nʼessaalu nabyo biwotoke.

7Ebimera ebiri ku Kiyira, ku lubalama lwa Kiyira kwennyini, ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira, birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.

8Era nʼabavubi balisinda ne bakungubaga, nʼabo bonna abasuula amalobo mu Kiyira balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi.

9Era nate nʼabo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa, nʼabo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe.

10Abakozi balikwatibwa ennaku, bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo.

11Abakulu abʼe Zowani basiruwalidde ddala, nʼabagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa. Mugamba mutya Falaawo nti, “Ndi mwana wʼabagezi, omwana wa bassekabaka abʼedda”?

12Kale nno abasajja bo abʼamagezi bali ludda wa? Leka bakubuulire bakutegeeze Mukama Katonda owʼEggye kyʼategese okutuusa ku Misiri.

13Abakungu abʼe Zowani basiriwadde, abakungu abʼe Noofu balimbiddwa, abo ababadde ejjinja eryʼoku nsonda eryʼebika byʼeggwanga bakyamizza Misiri.

14Mukama abataddemu omwoyo omubambaavu era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna byʼekola, ngʼomutamiivu atagalira mu bisesemye bye.

15Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa, agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako kyʼakola.

16Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ngʼabakazi. Balikankana nʼentiisa olwʼomukono gwa Mukama Katonda owʼEggye ogugoloddwa gye bali.

17Nʼensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olwʼokuteesa kwa Mukama Katonda owʼEggye kwʼateesa ku yo.

18Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi yʼe Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda owʼEggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira.

19Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi yʼe Misiri, era nʼekijjukizo kya Mukama Katonda kiteekebwe ku nsalo.

20Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda owʼEggye mu nsi yʼe Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola.

21Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, nʼAbamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, nʼebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza.

22Era Mukama alibonereza Misiri, ngʼakuba, ate ngʼawonya. Nabo balidda gyʼali, balimwegayirira era alibawonya.

23Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, nʼOmwasuli alijja mu Misiri, nʼOmumisiri nʼagenda mu Bwasuli; nʼAbamisiri balisinziza wamu nʼAbaasuli.

24Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri nʼObwasuli, baliweesa ensi omukisa.

25Kubanga Mukama Katonda owʼEggye abawadde omukisa, ngʼayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, nʼObwasuli omulimu gwʼemikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>