5Ggwe ennyumba ya Yakobo,mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.
6Wayabulira abantu boabʼennyumba ya Yakobo,kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,nʼobulaguzi obuli nga obwʼomu Bafirisuuti,era basizza kimu ne bannamawanga.
18Nʼebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo.
18
19Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja,ne mu binnya mu ttaka,nga badduka entiisanʼekitiibwa kyʼobukulu bwa Mukama Katonda,bwaliyimuka okukankanya ensi nʼamaanyi.
20Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddalabakatonda baabwe abakole mu ffeeza, nʼabakole mu zaabu,be beekolera nga ba kusinzanga,ne babakanyuga eri emmese nʼeri ebinyira.
21Balidduka ne beekukuma mu mpukuezʼamayinja amaatifunga badduka entiisanʼekitiibwa kyʼobukulu bwa Mukama Katonda,bwaliyimuka okukankanya ensi.
21
22Mulekeraawo okwesiga omuntualina omukka obukka mu nnyindo ze.Kiki ennyo kyali?