1Mu mwaka Talutani omuduumizi wʼoku ntikko mwe yajjira mu Asudodi ngʼatumiddwa Salugoni kabaka we Bwasuli nʼalwana ne Asudodi nʼakiwamba;
2
3Mukama Katonda nʼayogera nti, “Ngʼomuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero nʼekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi;
4bwʼatyo kabaka wʼe Bwasuli bwʼaliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato nʼabakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi.
5Era balitya bakwatibwe ensonyi olwa Kuusi essuubi lyabwe, nʼolwa Misiri ekitiibwa kyabwe.
6Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lwʼennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka wʼe Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’”