1 Obunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja: Ngʼembuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi eyʼobukiikaddyo, bwʼatyo alumba bwʼava mu ddungu eririraanye ensi etiisa.
2 Nfunye okwolesebwa okwʼentiisa: alyamu olukwe akola omulimu gwe, nʼomunyazi anyaga. Eramu, lumba! Obumeedi zingiza! Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta.
3 Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa, nʼobulumi bunkwata, ngʼomukazi alumwa okuzaala; nnyiize olwʼebyo bye mpulira, bye ndaba bimazeemu amaanyi.
4 Omutima gwange gutya, Entiisa endetera okukankana; Akasendabazaana ke nnali njayaanira, kanfukidde ekikankano.
5 Bateekateeka olujjuliro, bayalirira ebiwempe, ne balya, ne banywa! Mugolokoke mmwe abakulembeze, musiige engabo amafuta.
6 Kino Mukama kyʼaŋŋamba nti, “Genda ofune omukuumi akuleetere amawulire ku ebyo byʼalaba.
7 Bwʼalaba amagaali nʼebibinja byʼembalaasi, nʼabeebagazi ku ndogoyi oba abeebagazi ku ŋŋamira yeekuume, era yeegendereze.”
8 Awo omukuumi nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba nti, “Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala, buli kiro mbeera ku mulimu gwange.
9 ⓖ Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali, ngʼalina nʼekibinja kyʼembalaasi. Era ayanukula bwʼati nti, ‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde. Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ”
10 Abantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro, mbategeeza kyempulidde okuva eri Mukama Katonda owʼEggye, Katonda wa Isirayiri.
11 Obunnabbi obukwata ku Duuma: Waliwo ankowoola okuva mu Seyiri ngʼayogera nti, “Omukuumi, bunaakya ddi? Omukuumi, bunaakya ddi?”
12 Omukuumi ayanukula bwʼati nti, “Bulikya, era buliziba. Bwʼobaako ne kyʼobuuza kibuuze okomewo nate.”
13 Obunnabbi obukwata ku Buwalabu: Mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja, abasiisira mu bisaka bya Buwalabu,
14 muleetere abalumwa ennyonta amazzi; mmwe ababeera mu Teema, muleetere abanoonyi bʼobubudamu emmere.
15 Badduka ekitala, badduka ekitala ekisowole, badduka omutego ogunaanuddwa, badduka nʼakabi kʼentalo.
16 ⓗ Bwʼati Mukama bwʼaŋŋamba nti, “Mu mwaka gumu, ngʼendagaano gye bakolera omukozi bwʼeba, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kirikoma.
17 Ku bʼobusaale abaliwona, ne ku basajja abalwanyi abazira abʼe Kedali, walisigalawo batono.” Mukama Katonda wa Isirayiri ayogedde.
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.