1 Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu kyʼOkwolesebwa: Kiki ekikutawanya kaakano, nʼokulinnya nʼolinnya waggulu ku busolya,
2 ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano, ggwe ekibuga ekyʼamasanyu era ekyʼebinyumu? Abantu bo abattibwa, tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo.
3 Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu; bawambiddwa awatali kulwana. kubanga badduka.
3 Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe,
4 Kyenava njogera nti, “Munveeko, mundeke nkaabire ddala nnyo. Temugezaako kunsaasira olwʼokuzikirizibwa kwʼomuwala wʼabantu bange.”
5 Mukama, Mukama Katonda owʼEggye alina olunaku olwʼakatabanguko, olwʼokulinyirirwa nʼentiisa mu Kiwonvu kyʼOkwolesebwa; olunaku olwʼokumenya bbugwe, nʼokukaabirira ensozi.
6 Eramu ayambalidde omufuko gwʼobusaale, nʼatwala nʼabavuzi bʼamagaali ge nʼembalaasi, Kiri[19] asabuukulula engabo.
7 Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali, nʼabeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki;
8 okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo.
8 Ku lunaku olwo watunuulira ebyokulwanyisa ebyʼomu Lubiri olwʼEkibira;
9 walaba amabanga agaali mu kwerinda kwʼEkibuga kya Dawudi, wakuŋŋaanya amazzi mu Kidiba ekyʼEmmanga.
10 Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi nʼomenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe.
11 Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati wʼebisenge ebibiri, nʼokuŋŋaanya agʼekidiba ekikadde, naye tewatunuulira Oyo eyakisima, wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro ebyʼedda.
12 Ku lunaku olwo Mukama Katonda owʼEggye yalangirira okukaaba nʼokukuba ebiwoobe, nʼokwemwako enviiri nʼokwambala ebibukutu.
13 ⓘ Naye laba, ssanyu na kujaguza, okubaaga ente nʼokutta endiga, okulya ennyama nʼokunywa wayini. Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe kubanga enkya tunaafa.”
14 Mukama owʼEggye akimbikulidde nʼaŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lwʼolifa,” bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye.
15 Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda owʼEggye nti, “Genda eri omuwanika oyo, eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti,
16 Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa okwetemera entaana wano, nʼotema nʼamaanyi entaana yo waggulu mu lwazi, ne weerongoosereza eyo ekifo ekyʼokuwummuliramu?
16
17 “Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira, akuggyewo ggwe omusajja owʼamaanyi.
18 Alikuzingazingako, nʼakukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa. Eyo gyʼolifiira, era eyo amagaali go agʼekitiibwa gye galisigala, ggwe ensonyi ezʼennyumba ya Mukama wo.
19 Ndikuggya ku ntebe yo, era oliggyibwa mu kifo kyo.
20 “Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya.
21 Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza nʼolukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe wʼabo ababeera mu Yerusaalemi, nʼeri ennyumba ya Yuda.
22 ⓙ Ndimukwasa ekisumuluzo kyʼennyumba ya Dawudi; bwʼaliggulawo tewaliba aggalawo, bwʼaliggalawo tewaliba aggulawo.
23 Ndimunyweza mu kifo ngʼenkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe.
24 Ekitiibwa kyʼennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”
25 Bwʼati bwʼayogera Katonda owʼEggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo nʼenywera erisalibwa, nʼeneguka, nʼegwa, nʼomugugu gwʼekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.